bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 8
Acts 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
1
Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ku lunaku olwo ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali e Yerusaalemu ne kitandika okuyigganyizibwa ennyo. Bonna okuggyako abatume, ne basaasaanira mu kitundu ky'e Buyudaaya ne Samariya.
2
Abasajja abajjumbizi b'eddiini ne baziika Siteefano, era ne bamukungubagira nnyo.
3
Kyokka Sawulo n'agezaako okuzikiriza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ng'ayingira mu buli nnyumba, n'akwata abasajja n'abakazi, n'abateeka mu kkomera.
4
Awo abo abaasaasaana, ne bagenda nga bategeeza abantu ekigambo kya Katonda.
5
Filipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samariya, n'ategeeza abantu baayo ku Kristo.
6
Abantu bwe baawulira Filipo by'ayogera, ne balaba n'ebyewuunyo by'akola, bonna ne bassa nnyo omwoyo ku ebyo by'ayigiriza.
7
Emyoyo emibi gyavanga ku bantu nga gikaaba n'eddoboozi ery'omwanguka. Era bangi abakoozimbye n'abalema, ne bawonyezebwa.
8
Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo.
9
Naye waaliwo omusajja erinnya lye Simooni, eyakolanga eby'obulogo mu kibuga ekyo, n'asamaaliriza Abasamariya. Yagambanga nti ye, muntu wa kitalo.
10
Bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu baamuwuliranga, ne bagamba nti: “Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa ‘Amangi.’ ”
11
Baamuwuliranga, kubanga okumala ebbanga ddene, yabeewuunyisanga n'eby'obulogo bye.
12
Kyokka Filipo bwe yategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yesu Kristo, abasajja n'abakazi ne bakkiriza, ne babatizibwa.
13
Ne Simooni yennyini n'akkiriza. Era bwe yamala okubatizibwa, n'abeera wamu ne Filipo. Bwe yalaba ebyamagero ebisuffu Filipo bye yakola, n'awuniikirira.
14
Awo abatume abaali mu Yerusaalemu bwe baawulira nga mu Samariya abaayo bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yowanne.
15
Bano bwe baatuukayo, ne basabira abakkiriza bafune Mwoyo Mutuukirivu,
16
kubanga mu bo temwali wadde omu eyali amufunye. Baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yesu.
17
Awo Peetero ne Yowanne bwe baabassaako emikono, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu.
18
Naye Simooni bwe yalaba ng'abatume bassa emikono ku bantu, abantu abo ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu, n'aleetera abatume ensimbi,
19
n'agamba nti: “Nange mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono, afune Mwoyo Mutuukirivu.”
20
Kyokka Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi zo zizikirire wamu naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda ng'okiguza ensimbi!
21
Ekyo tokirinaamu mugabo, era toli wa kukigabanako, kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda.
22
Kale weenenye ekibi kyo, weegayirire Katonda, akyayinza okukusonyiwa ekirowoozo ekyo ekiri mu mutima gwo,
23
kubanga ndaba ng'ojjudde obuggya, era ng'oli mu nvuba ya kibi.”
24
Simooni n'addamu Peetero nti: “Munsabire eri Mukama, ebigambo ebyo bye mwogedde waleme kubaawo na kimu ekintuukako.”
25
Awo Peetero ne Yowanne bwe baamala okwogera ekigambo kya Katonda n'okukinyweza mu bantu, ne baddayo e Yerusaalemu, nga bagenda bategeeza abantu ab'omu byalo by'e Samariya Amawulire Amalungi.
26
Awo malayika wa Mukama n'agamba Filipo nti: “Golokoka ogende mu bukiikaddyo, okwate ekkubo eriyita mu ddungu, era eriva e Yerusaalemu okulaga e Gaaza.”
27
N'agolokoka n'agenda. Mu kiseera ekyo, waaliwo omusajja Omwetiyopiya, omulaawe, omukungu wa kabaka omukazi Kandake owa Etiyopiya, era omuwanika we omukulu. Yali azze e Yerusaalemu okusinza Katonda.
28
Bwe yali ng'addayo, ng'atudde mu ggaali ye, era ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya,
29
Mwoyo Mutuukirivu n'agamba Filipo nti: “Genda otuuke ku gaali eyo.”
30
Awo Filipo bwe yadduka n'agituukako, n'amuwulira ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, n'amubuuza nti: “By'osoma obitegeera?”
31
Ye n'amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera nga tewali abinnyinyonnyola?” Awo n'ayita Filipo alinnye, atuule wamu naye.
32
Ekitundu ky'ebyawandiikibwa kye yali asoma kigamba nti: “Yali ng'endiga etwalibwa okuttibwa; yali ng'omwana gw'endiga ogutakaaba nga bagusalako ebyoya; teyayogera kigambo na kimu.
33
Yafeebezebwa, n'omusango gwe ne gusalirizibwa. Tewali alinnyonnyola lulyo lwe, kubanga obulamu bwe buggyiddwa mu nsi.”
34
Omulaawe n'agamba Filipo nti: “Mbuulira, Omulanzi ayogera ku ani? Yeeyogerako yennyini oba ayogera ku mulala?”
35
Filipo n'atandikira ku kyawandiikibwa ekyo, n'amutegeeza Amawulire Amalungi aga Yesu.
36
Bwe beeyongera mu maaso, ne batuuka awali amazzi, omulaawe n'agamba Filipo nti: “Laba amazzi gaagano! Ekiŋŋaana okubatizibwa kiki? [
37
Filipo n'agamba nti: ‘Oba ng'okkiriza n'omutima gwo gwonna, oyinza okubatizibwa.’ Ye n'addamu nti: ‘Nzikiriza nga Yesu Kristo ye Mwana wa Katonda.’ ”]
38
Awo n'alagira eggaali okuyimirira. Bombi, Filipo n'omulaawe, ne bakka mu mazzi, Filipo n'amubatiza.
39
Bwe baava mu mazzi, Mwoyo wa Mukama n'atwala Filipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba, kyokka n'akwata ekkubo lye ng'ajjudde essanyu.
40
Awo Filipo n'atuuka mu Azooto, n'ayitaayita mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaariya, ng'agenda ategeeza abantu Amawulire Amalungi.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28