bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 21
Acts 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
1
Bwe twamala okwawukana nabo, ne tusaabala, ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Roodesi. Bwe twava eyo, ne tutuuka e Patara.
2
Eyo gye twasanga eryato eryali liraga e Foyinikiya, ne tulisaabala ne tugenda.
3
Bwe twalengera Kipuro, ne tukireka ku luuyi olwa kkono, ne tulaga e Siriya, ne tugoba e Tiiro, kubanga eyo gye baali baagala okutikkulira ebintu.
4
Eyo twasangayo abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abo ne bagamba Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu.
5
Ennaku ezo bwe zaggwaako, ne tuvaayo. Bonna awamu n'abakazi n'abaana ne batuwerekerako okututuusa ebweru w'ekibuga. Ffenna ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja ne twegayirira Katonda.
6
Ne tusiibulagana, ffe ne tusaabala mu lyato, bo ne baddayo ewaabwe.
7
Bwe twamaliriza olugendo olw'oku nnyanja lwe twatandikira e Tiiro, ne tutuuka e Putolemaayi, ne tulamusa abooluganda, ne tumala nabo olunaku lumu.
8
Ku lunaku olwaddirira ne tuvaayo, ne tutuuka e Kayisaariya. Ne tuyingira mu nnyumba ya Filipo, eyategeezanga abantu Amawulire Amalungi, ne tubeera naye. Yali omu ku abo omusanvu abaalonderwa mu Yerusaalemu.
9
Yalina bawala be bana embeerera abaalanganga.
10
Bwe twamalayo ennaku eziwerako, Agabo omulanzi n'atuuka ng'ava e Buyudaaya.
11
N'ajja gye tuli, n'akwata olukoba lwa Pawulo, n'alwesiba amagulu n'emikono, n'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: ‘Bwe batyo Abayudaaya abali e Yerusaalemu bwe balisiba nnannyini lukoba luno, era balimuwaayo eri ab'amawanga amalala.’ ”
12
Bwe twawulira ekyo, ffe n'abalala bonna abaaliwo, ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu.
13
Kyokka ye n'addamu nti: “Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze neetegese si kusibibwa kwokka, wabula n'okufiira mu Yerusaalemu, olw'erinnya lya Mukama Yesu.”
14
Bwe twalemwa okumukkirizisa, ne tumuleka ne tugamba nti: “Mukama ky'ayagala kikolebwe.”
15
Bwe waayitawo ennaku, ne twetegeka ne twambuka e Yerusaalemu.
16
Abamu ku bayigirizwa ab'omu Kayisaariya ne batuwerekera, ne batutuusa ew'omusajja ayitibwa Munasoni, ow'e Kipuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, eyali ow'okutusuza.
17
Bwe twatuuka e Yerusaalemu, abayigirizwa ne batwaniriza n'essanyu.
18
Olunaku olwaddirira, Pawulo n'agenda wamu naffe ewa Yakobo. Abakulu bonna ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo baali bakuŋŋaanye.
19
Pawulo bwe yamala okubalamusa, n'abategeeza byonna Katonda bye yamukozesa mu b'amawanga amalala.
20
Bo bwe baabiwulira, ne bagulumiza Katonda. Kyokka ne bagamba Pawulo nti: “Owooluganda, naawe olaba nti waliwo Abayudaaya nkumi na nkumi abaakyuka ne bakkiriza era nga bonna bakyakuuma butiribiri amateeka ga Musa.
21
Bawulidde nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu mawanga amalala okuleka amateeka ga Musa, era nti obagamba baleme okukomola abaana baabwe, wadde okugoberera empisa z'Ekiyudaaya.
22
Kale bibe bitya? Tebaaleme kuwulira ng'ozze.
23
N'olwekyo kola kino kye tukugamba. Tulina wano abasajja bana abeeyama obweyamo.
24
Batwale weetabe wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa, era obasasulire, balyoke bamwebwe enviiri. Olwo abantu bonna banaamanya nti bye baawulira ku ggwe si bituufu, wabula nti okwata amateeka ga Musa.
25
Naye ab'amawanga amalala abakkiriza, twabawandiikira ne tubategeeza kye twasalawo nti baleme kulyanga biweereddwayo eri balubaale, wadde okulya omusaayi, oba ensolo etugiddwa, era beewale obwenzi.”
26
Awo Pawulo n'atwala abasajja abo. Ku lunaku olwaddirira ne yeetaba wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa. N'ayingira mu Ssinzizo okumanyisa ennaku ze banaamala mu kutukuzibwa, era n'ekiseera we banaaweerayo ekirabo ku lwa buli omu ku bo.
27
Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya abamu abaava mu Asiya, ne balaba Pawulo ng'ali mu Ssinzizo. Ne basasamaza abantu bonna, ne bakwata Pawulo
28
nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe! Ono ye muntu agenda ng'ayigiriza abantu mu buli kifo, banyoomoole eggwanga lyaffe, n'amateeka ga Musa, era n'ekifo kino. Ate kaakano aleese n'Abayonaani mu Ssinzizo, n'ayonoona ekifo kino ekitukuvu.”
29
Ekyo baakyogera kubanga baali balabye Turofimo ow'e Efeso ng'ali ne Pawulo mu kibuga, ne bateerera nti Pawulo amuyingizizza mu Ssinzizo.
30
Ekibuga kyonna ne kitabanguka, abantu ne bagugumuka ne bakwata Pawulo ne bamuwalaawala, ne bamufulumya ebweru w'Essinzizo. Amangwago enzigi ne ziggalwawo.
31
Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka eri omukulu w'abaserikale nti Yerusaalemu kyonna kijagaladde.
32
Teyalwa, n'atwala abaserikale n'abakulu baabwe, n'aserengeta eri ekibiina ky'abantu. Bo bwe baamulaba ng'ali n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo.
33
Omukulu w'abaserikale n'agenda eri Pawulo n'amukwata, n'alagira asibibwe n'enjegere bbiri. N'abuuza nti: “Ono ye ani, era akoze ki?”
34
Abamu mu kibiina ky'abantu ne baleekaana nga bagamba kino, abalala nga bagamba kirala. Olw'okuleekaana okwo, n'atasobola kumanya kituufu. N'alagira okutwala Pawulo mu kigo.
35
Pawulo bwe yatuusibwa ku madaala, abaserikale ne bamusitula, kubanga abantu baali beetabangudde.
36
Bonna baali bamugoberera nga bwe baleekaana nti: “Mutte!”
37
Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omukulu w'abaserikale nti: “Onzikiriza mbeeko kye nkutegeeza?” Omukulu w'abaserikale n'amubuuza nti: “Omanyi Oluyonaani?
38
Si ggwe Mumisiri oli eyaleeta akajagalalo mu nnaku ezo, n'atwala abantu abatemu enkumi ennya mu ddungu?”
39
Pawulo n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya, ekimanyiddwa obulungi. Nkwegayiridde, nzikiriza mbeeko kye ŋŋamba abantu.”
40
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, n'abawenya n'omukono. Bwe baasiriikirira, n'ayogera nabo mu lulimi Olwebureeyi, n'agamba nti:
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28