bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Acts 7
Acts 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
1
Awo Ssaabakabona n'abuuza Siteefano nti: “Ebyo bwe biri bwe bityo?”
2
Siteefano n'agamba nti: “Abasajja abooluganda ne bassebo, muwulire: Katonda oweekitiibwa yalabikira jjajjaffe Aburahamu ng'ali e Mesopotaamiya, nga tannabeera mu Karani,
3
n'amugamba nti: ‘Va mu nsi yammwe ne mu bantu bo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’
4
Awo n'aleka ensi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Karani. Kitaawe bwe yamala okufa, Katonda n'aggyayo Aburahamu, n'amuleeta mu nsi eno mwe muli kati.
5
N'atagimuwaamu ttaka, wadde akatundu akaweza ekigere ekimu. Kyokka n'amusuubiza okugimuwa ebe yiye ne bazzukulu be abaliddawo, sso nga yali talina mwana.
6
“Katonda yagamba Aburahamu nti: ‘Ab'ezzadde lyo balibeera mu nsi ey'eggwanga eddala, eriribafuga obuddu. Balibayisa bubi okumala ebbanga lya myaka ebikumi bina.
7
Naye nze ndisala omusango ne gusinga eggwanga eriribafuula abaddu, era oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’
8
Awo n'akola endagaano eyakakasibwa n'okukomola. Bw'atyo Aburahamu bwe yazaala Yisaaka, n'amukomola ku lunaku olw'omunaana. Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala bajjajjaffe abakulu ekkumi n'ababiri, era bonna baakomolebwa.
9
“Bajjajjaffe abakulu baakwatirwa Yosefu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Kyokka Katonda yali naye,
10
n'amuwonya mu kubonaabona kwe kwonna, n'amuwa amagezi n'okuganja eri Faraawo kabaka w'e Misiri, eyamufuula omufuzi mu Misiri ne mu lubiri lwe lwonna.
11
Awo enjala nnyingi n'egwa mu Misiri yonna ne mu Kanaani, okubonaabona ne kuba kungi. Bajjajjaffe ne balumwa enjala.
12
Kyokka Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo emmere, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogwasooka.
13
Ku mulundi ogwokubiri, Yosefu n'amanyibwa baganda be, n'olulyo lwe ne lumanyibwa Faraawo.
14
Awo Yosefu n'atuma, n'ayita baganda be bonna ne kitaawe, Yakobo. Bonna awamu baali abantu nsanvu.
15
Yakobo n'aserengeta e Misiri. Ye ne bajjajjaffe gye baafiira.
16
Emirambo gyabwe ne gitwalibwa e Sekemu ne gigalamizibwa mu ntaana Aburahamu gye yagula ku bazzukulu ba Hamori mu Sekemu.
17
“Naye ekiseera Katonda kye yasuubiza Aburahamu bwe kyali kisembedde, bajjajjaffe ne baala, ne babeera bangi mu Misiri,
18
okutuusa lwe waabaawo kabaka omulala ataamanya Yosefu.
19
Oyo n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'abonyaabonya nnyo bajjajjaffe, n'abasuuzanga abaana baabwe abawere, bafe.
20
Mu kiseera ekyo Musa n'azaalibwa, nga mwana mulungi nnyo. Ne bamuyonseza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
21
Bwe yasuulibwa, muwala wa Faraawo n'amutwala, n'amukuza ng'omwana we.
22
Musa n'ayigirizibwa amagezi gonna ag'Abamisiri, n'aba wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.
23
“Musa bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'ajjirwa ekirowoozo eky'okukyalira baganda be Abayisirayeli.
24
Bwe yalaba omu ku bo ng'ayisibwa bubi, n'amulwanirira n'amutaasa, n'atta Omumisiri.
25
Ye yalowooza nti baganda be bategedde nga Katonda agenda kuyita mu ye okubanunula, kyokka bo tebaakitegeera.
26
Olunaku olwaddirira, n'asanga Abayisirayeli babiri nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja mmwe, muli baaluganda, lwaki mulwanagana?’
27
Naye oli eyali akuba munne, n'asindika eri Musa, ng'agamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?
28
Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’
29
“Musa bwe yawulira ebyo n'adduka, n'awaŋŋangukira mu nsi y'e Midiyaani, n'azaalirayo abaana ab'obulenzi babiri.
30
Bwe waayitawo emyaka amakumi ana, malayika wa Mukama n'alabikira Musa mu nnimi ez'omuliro ogwali gwakira mu kisaka mu ddungu, okumpi n'olusozi Sinaayi.
31
Musa bwe yakiraba, ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yali ng'asembera okwetegereza, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti:
32
‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo.’ Musa n'akankana, n'atya okutunuulira nate.
33
Mukama n'amugamba nti: ‘Ggyamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.
34
Ntunudde ne ndaba abantu bange abali mu Misiri bwe babonyaabonyezebwa, mpulidde okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale jjangu nkutume e Misiri.’
35
“Musa oyo gwe baagaana nga bagamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka, abe omufuzi era omununuzi.
36
Ye yabakulembera ng'akola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, ne mu nnyanja emmyufu ne mu ddungu, emyaka amakumi ana.
37
Era Musa oyo ye yagamba Abayisirayeli nti: ‘Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze.’
38
Musa ye wuuyo eyaliwo Abayisirayeli bonna bwe baakuŋŋaanira mu ddungu. Yali ne malayika eyayogera naye ku Lusozi Sinaayi, era eyali ne bajjajjaffe. Ye wuuyo eyaweebwa ebigambo by'obulamu okubituwa.
39
“Bajjajjaffe baagaana okumuwulira ne bamwesammulako, emitima gyabwe ne giddayo e Misiri.
40
Ne bagamba Arooni nti: ‘Tukolere balubaale abanaatukulembera, kubanga Musa oyo eyatuggya mu nsi y'e Misiri tetumanyi ky'abadde.’
41
Awo ne bakola ekifaananyi ky'ennyana, ne bawaayo ebitambiro eri ekifaananyi ekyo, ne basanyukira ekintu ekyo kye beekoledde.
42
Kyokka Katonda n'abavaako, n'abawaayo okusinzanga emmunyeenye ez'oku ggulu, nga bwe kisangibwa mu byawandiikibwa abalanzi nti: ‘Mmwe Abayisirayeli, ensolo ezattibwanga era n'ebitambiro mwabiwanga nze mu myaka amakumi ana gye mwamala mu ddungu?
43
Nedda, mwasitula weema ya lubaale Moleki, n'emmunyeenye ya lubaale Refani. Ebyo bye bifaananyi bye mwakola, mulyoke mubisinze. N'olwekyo ndibawaŋŋangusiza emitala wa Babilooni.’
44
“Bajjajjaffe bwe baali mu ddungu, baalina eweema eraga nti Katonda ali nabo. Eweema eyo yakolebwa nga Katonda bwe yagamba Musa okugikola, n'agikola mu ngeri Katonda gye yagimulagamu.
45
Bajjajjaffe nabo ne bagifuna, ne bajja nayo. Bwe baayingira mu nsi muno nga bali ne Yoswa, ne beefuga ensi y'ab'amawanga amalala, Katonda be yagobamu nga bajjajjaffe balaba. Eweema eyo yabeera mu nsi muno okutuusiza ddala mu biseera bya Dawudi
46
eyasiimibwa Katonda, era eyasaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba.
47
Wabula Solomooni ye yagimuzimbira.
48
Kyokka Katonda Atenkanika tasula mu nnyumba zizimbibwa bantu, ng'omulanzi bw'agamba nti Mukama Katonda agamba nti:
49
‘Eggulu y'entebe yange, n'ensi kwe nzisa ebigere byange. Mulinzimbira nnyumba ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50
Si nze nakola ebyo byonna?’
51
“Mmwe abajeemu, ab'emitima emikakanyavu, era abagaana okuwulira ebigambo bya Katonda! Muli nga bajjajjammwe, kubanga bulijjo mulwanyisa Mwoyo Mutuukirivu!
52
Mulanzi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta ababaka ba Katonda abaalanga okujja kw'Omutuukirivu, mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutta.
53
Mmwe abaafuna amateeka nga bwe gaalangirirwa bamalayika, mwagaana okugakwata.”
54
Bwe baawulira ebyo, ne bajjula obusungu, ne bamulumira obujiji.
55
Naye Siteefano ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo.
56
Siteefano n'agamba nti: “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo.”
57
Naye bo ne baleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka, nga baggadde amatu gaabwe, ne bamufubutukira bonna wamu.
58
Ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abo abaamukuba amayinja, engoye zaabwe ne baziteresa omuvubuka erinnya lye Sawulo, azikuume.
59
Bwe baali bamukuba, ye n'akoowoola ng'agamba nti: “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.”
60
N'afukamira, n'akoowola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ayi Mukama, basonyiwe ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo n'afa.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28