bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 10
Proverbs 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
1
Omwana ow'amagezi, asanyusa kitaawe; naye omwana omusiru, anakuwaza nnyina.
2
Obugagga obufunibwa mu bukumpanya, tebuliiko kye bugasa; naye okuba omwesimbu, kutaasa obulamu bwo.
3
Mukama taalekenga muntu mulungi kufa njala; naye ababi, abaziyiza okufuna bye beegomba.
4
Emikono eminafu gissa nnyinigyo obwavu; naye emikono gy'omunyiikivu, gimuwa endulundu y'ebintu.
5
Omuntu ow'amagezi akungula mu budde obw'ekyeya; naye eyeebaka mu bw'amakungula, akwasa abantu ensonyi.
6
Omuntu omulungi, afuna emikisa; naye ababi, boogera bya bukambwe.
7
Omuntu omulungi, anajjukirwanga nti wa mukisa; naye omubi, alyerabirwa.
8
Omuntu omutegeevu, ayaniriza ebimulagirwa; naye omubuyabuya, alizikirira.
9
Omuntu akolera ku mazima, aba bulungi, era aba mirembe; naye omukumpanya, alimanyibwa.
10
Oyo abikkirira amazima ng'atemya ku liiso, aleeta okunakuwala; n'oyo ayogera eby'obusiru, alizikirira.
11
Ebigambo by'omuntu omulungi, biba nsulo ya bulamu; naye eby'omubi, bikweka bukambwe.
12
Obukyayi buleeta ennyombo; naye okwagala, kusonyiwa ebisobyo byonna.
13
Mu bigambo by'omutegeevu, mubaamu amagezi; naye omugongo gw'omusiru, gusaanira kukubwa miggo.
14
Abantu ab'amagezi, tebasamwassamwa na bigambo; naye omusiru by'ayogera, bimuleetera okuzikirira.
15
Omugagga, by'alina bimukuuma; naye obwavu, buzikiriza oyo abulina.
16
Omuntu ow'empisa ennungi, by'akola bimuleetera kuba mulamu; naye omwonoonyi, yeeyongera kukola bibi.
17
Oyo akkiriza okubuulirirwa, akuuma obulamu bwe; naye oyo agaana okunenyezebwa, talema kuwaba.
18
Omuntu akweka obukyayi, aba mulimba; n'oyo awaayiriza munne, aba musirusiru.
19
Mu kwogera ebigambo ebingi, temubulamu bisoba; naye asirika, ye aba omwegendereza.
20
Omuntu omulungi by'ayogera, biba nga ffeeza omuyooyoote; naye ebirowoozo by'ababi, tebiriiko kye bigasa.
21
Ebigambo by'omuntu omulungi, bigasa bangi; naye abasiru bafa, olw'okubulwa okutegeera.
22
Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, era tegujjirako buyinike.
23
Okukola ebibi, gwe muzannyo gw'abasiru; naye okukola eby'amagezi, kye kisanyusa abategeevu.
24
Omuntu omubi, alituukibwako ekyo ky'atya; naye abalungi, baliweebwa bye beegomba.
25
Kibuyaga bw'akunta, ababi bamenyebwawo; naye abalungi, musingi mugumu ogw'olubeerera.
26
Bw'otuma omugayaavu, akulumya ng'omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo, era ng'omukka, bwe gubalagala mu maaso.
27
Okutya Mukama kuwangaaza omuntu; naye emyaka gy'ababi, girisalibwako.
28
Abalungi basuubira okusanyuka gye bujja; naye ababi, tebalina kalungi ke basuubirayo.
29
Mukama akuuma abalungi; naye ababi, abazikiriza.
30
Abantu abalungi, tebalisengulwa ennaku zonna; naye ababi, tebalikkalira mu nsi.
31
Abantu abalungi, boogera eby'amagezi; naye abalimba, balisirisibwa.
32
Abantu abalungi bamanya ebisaanye okwogerwa; naye ababi, boogera ebitabula abantu.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31