bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 21
Proverbs 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
1
Omutima gwa kabaka, guba mu buyinza bwa Mukama: agukyusa n'aguzza buli gy'ayagala, nga bwe bakyusa amazzi agafukirira ennimiro.
2
Omuntu ayinza okulowooza nti buli ky'akola kituufu; naye Mukama ye apima ekigendererwa ky'omutima.
3
Okukola ekituufu era eky'obwenkanya, kusiimibwa Mukama, okusinga okumuwa ebitambiro.
4
Ababi bafugibwa kwekulumbaza, na kwegomba okubi; era ebyo byonna, bibi.
5
Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; naye oyo abuguutanira ebintu, yeereetako obwavu.
6
Obugagga obufunibwa mu bulimba, buyita nga mpewo, tebusimba; abwagala, anoonya kufa.
7
Ababi bamalibwawo obukambwe bwabwe, kubanga bagaana okukola eby'obwenkanya.
8
Obulamu bw'ababi, tebubaamu bwesimbu; naye omulongoofu, akola ebituufu.
9
Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, n'otaba na mukazi muyombi, mu nnyumba awagazi.
10
Omubi, yeegomba okukola ebibi; tabaako n'omu gw'alumirwa.
11
Omunyoomi bw'abonerezebwa, n'atabadde mulabufu ayiga; era ow'amagezi bw'ayigirizibwa, yeeyongera okumanya.
12
Katonda Omutuukirivu, amanyi ebiri mu maka g'ababi; era alibamegga ne bazikirira.
13
Agaana okuwuliriza omwavu ng'akaaba, naye yennyini alikaaba n'atawulirwa.
14
Ekirabo ekiweere mu kyama, kikkakkanya obusungu; n'okuwa omuntu ekiyiiyize, kimumalako ekiruyi.
15
Abantu abalungi, basanyukira obwenkanya; naye abo ababi, bubazikiriza.
16
Omuntu awaba, n'aggwaamu okutegeera, alyesanga ali mu bafu.
17
Ayagala eby'amasanyu, wa kwavuwala; awoomerwa omwenge n'ebyokulya ebisava, si wa kugaggawala.
18
Abantu ababi, batuukibwako emitawaana gye baba baagadde okutuusa ku balungi.
19
Waakiri okubeera mu nsi ey'eddungu, n'otobeera na mukazi muyombi, era anyiiganyiiga.
20
Omuzigo n'ebyobugagga ebirala, bibeera mu maka g'ow'amagezi; naye omusiru, abimalawo byonna.
21
Afuba okukola ebirungi, n'okuba ow'ekisa, awangaala; assibwamu ekitiibwa, era ayisibwa bulungi.
22
Omutabaazi ow'amagezi, awangula ekibuga ky'ab'amaanyi, n'amenya ebisenge byakyo bye beesiga.
23
Buli eyeegendereza mu by'ayogera, yeewonya emitawaana.
24
Eyeekuza ne yeegulumiza, ayitibwa munyoomi; aba yeepanka, era talina gw'alumirwa.
25
Omuntu omugayaavu, attibwa okwegomba kwe, kubanga tayagala kukola.
26
Olunaku lwonna, omubi yeegomba kubaako by'afuna; naye omulungi agaba, era takodowala.
27
Mukama yeenyinyala ekitambiro ky'ababi, naddala bwe bakireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi.
28
Omuntu awa obujulizi obw'obulimba, alibonerezebwa; naye oyo awuliriza ensonga, by'ayogera bikkirizibwa.
29
Omuntu omubi, yeekazaakaza ku maaso; naye omulungi, teyeetya.
30
Tewali magezi na kutegeera, wadde okuteesa kw'omuntu, ebiyinza okuwakanya ne biwangula Mukama.
31
Oyinza okutegeka embalaasi olw'okulwana olutalo, naye Mukama ye agaba obuwanguzi.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31