bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 6
Proverbs 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
1
Mwana wange, bwe weeyimirira munno, n'omuteerawo akabega,
2
weesiba mu by'oyogera, ng'akamwa ko lye kkomera.
3
Kale nno mwana wange, kola kino weewonye, kubanga oli mu buyinza bwa mulala: genda gy'ali weetoowaze, omwegayirire akuddiremu.
4
Tomalanga kwebaka ku tulo, na kudda ku bbali owummuleko.
5
Weewonye ng'empeewo edduka omuyizzi, era ng'ekinyonyi ekyetakkuluza mu mikono gy'omutezi.
6
Kale ggwe omugayaavu, genda olabe enkuyege, weetegereze enkola yaazo, oziyigireko amagezi.
7
Tezirina mukulembeze, newaakubadde omulabirizi, wadde omufuzi,
8
naye zeeterekera akamere nga bakungula ebirimwa.
9
Kale ggwe omugayaavu, olyebakanga kutuusa ddi? Olizuukuka ddi mu tulo two?
10
Owoza: “Ka ngira neebakamu, nfunye ku mikono, ngalamiremu katono!”
11
Naye ng'oli mu kubongoota, obwavu bulikwesibako, n'ebyetaago bikuzinde ggwe, ng'omutemu azze n'ebissi.
12
Omuntu omubi entagasa, agenda abungeesa obulimba.
13
Atemya ku maaso, aseesa ebigere, n'awenya n'emikono gye.
14
Mu ndowooza ye enkyamu, ateesa kukola bya ffujjo! Asiga bya bukyayi mu balala.
15
Kyaliva agwa ku kibabu ky'aliba talindiridde. Alimenyekawo mangu, nga tewali w'awonera.
16
Waliwo ebintu mukaaga, oba nga musanvu Mukama by'akyawa, mazima bye yeenyinyala:
17
entunula ey'amalala, olulimi olulimba, emikono egitta abatalina musango;
18
omutima oguteesa eby'enkwe, ebigere ebiwenyuka okukola ebitajja nsa;
19
omujulizi awa obujulizi obw'obulimba, n'omuntu asiga mu banne ebireeta okuyombagana.
20
Mwana wange, kwatanga ebyo kitaawo by'akulagira, era okolenga ebyo nnyoko by'akuyigiriza.
21
Bikuumenga bulijjo mu mutima gwo, era obyesibenga mu bulago.
22
Binaakuluŋŋamyanga ng'otambula. Binaakukuumanga nga weebase, byogerenga naawe ng'ozuukuse,
23
kubanga ekiragiro, ttaala, okuyigiriza, kitangaala, n'amateeka agakangavvula, lye kkubo erituusa mu bulamu.
24
Obikuumanga, olyoke owonenga omukazi ow'empisa embi, n'akalimi ka muk'omusajja akasikiriza.
25
Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, n'ebisige by'amaaso ge biremenga kukusikiriza.
26
Omukazi malaaya akunoonyaako nsimbi egula kaakulya; naye omukazi muk'omusajja, aleetera bulamu bwo bwennyini okuzikirira.
27
Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, ebyambalo bye ne bitaggya?
28
Oba omuntu ayinza okulinnya ku manda agookya, ebigere bye ne bitababuka?
29
Bwe kityo bwe kiri ne ku muntu eyeebaka ne muka munne: mazima buli akikola, talirema kubonerezebwa.
30
Abantu tebanyooma omubbi abbye emmere ng'alumwa enjala?
31
Era bwe baba bamukutte, aliwa emirundi musanvu, awaayo buli ky'alina mu maka ge.
32
Kyokka ayenda ku muka bandi, aba talina magezi. Oyo akikola, azikiriza bulamu bwe bwennyini.
33
Alinyoomebwa n'akubibwa, n'okuswala kwe tekulikoma,
34
kubanga obuggya butaamuusa omusajja nnyini mukazi, n'atabaako gw'addiramu mu kuwoolera eggwanga.
35
Talibaako ky'akkiriza nti okiwaayo weenunule. N'ebirabo byo ebingi, tebirimunyiigulula.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31