bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 7
Proverbs 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
1
Mwana wange, kwatanga ebyo bye nkubuulirira; togezanga kwerabira bye nkulagira okukola.
2
Ebyo bw'obituukiriza, oliwangaala. Bye nkuyigiriza bikuumenga, nga bw'okuuma emmunye y'eriiso lyo.
3
Byesibenga ku mikono, obiwandiikenga mu mutima gwo munda.
4
Gambanga amagezi nti: “Ggwe mwannyinaze,” oyitenga okutegeera omuntu w'ekika kyammwe.
5
Birikukuuma bikuwonye omukazi muka bandi era na buli mukazi akusikiriza n'ebigambo ebiwoomerevu.
6
Olumu nalingiza mu ddirisa, eddirisa ery'oku nnyumba yange.
7
Ne ndaba ababuyabuya, omwali omuvubuka eyali talina magezi.
8
Yali atambula mu luguudo ng'ayita mu kakoona, awali ennyumba y'omukazi.
9
Bwali buzibye nga kiro, ekizikiza nga kikutte.
10
Omukazi n'amusisinkana ng'ayambadde eby'obwamalaaya, era ng'akoze entegeka.
11
Yayogeranga aleekaana, era nga muntu muzibu, bulijjo aba yeewuuba mu nguudo.
12
Oluusi ng'ayimirira n'ateegera mu kasonda, oluusi mu bifo ebyalukale.
13
Awo n'awambaatira omuvubuka, n'amunywegera, n'amusimba amaaso, n'amugamba nti:
14
“Mpaddeyo olwaleero ebiweebwayo olw'okutabagana, ne ntuukiriza obweyamo bwange, era nninawo ennyama nnyingi;
15
kyenvudde nzija nkusisinkane. Nfubye okukunoonya era nkulabye.
16
Obuliri bwange mbwazeeko essuuka ennungi ez'ebikuubo, eza ppamba omulungi ava e Misiri.
17
Mu buliri ntaddemu ebyakawoowo, eby'obubaane n'omugavu, n'ebyobuwoowo ebirala.
18
Jjangu tusanyuke, ekiro kyonna tukimale mu kusinda mukwano,
19
kubanga baze taliiyo eka, yagenda lugendo, ali wala.
20
Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo. Kale ajja kumalayo wiiki bbiri, alyoke akomewo.”
21
Omukazi n'akanya akalimi, n'akkirizisa evvubuka eryo, ne limugondera olw'ebigambo ebisikiriza.
22
Ne limugoberera amangwago, ng'ente gye batwala okutta, oba ng'ensolo egwa mu mutego,
23
mw'eneefumitirwa akasaale efe. Yali ng'ekinyonyi ekyanguwa okugwa mu kitimba. Yali tamanyi nti afa, nti obulamu bwe buggwaawo!
24
Kale baana bange, muwulire bye ŋŋamba, mubisseeko omwoyo.
25
Tokkirizanga mukazi ng'oyo kuwugula mutima gwo, n'ogoberera enkola ye,
26
kubanga abasajja yazikiriza bangi. Abaafumitibwa ne bafa, abo tobabala n'omalayo.
27
Okugenda ku nnyumba ye, kuba kusemberera magombe, kuba kusemberera kufa!
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31