bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 24
Proverbs 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
1
Tokwatirwanga bakozi ba bibi buggya, era teweegombanga kubeera nabo,
2
kubanga balowooza bya bukambwe, era boogera bya kutabulatabula.
3
Kyetaagisa amagezi, okussaawo omusingi gw'ennyumba, era kyetaagisa okuyiiya n'okutetenkanya, okugizimba;
4
awali okumanya, ebisenge byayo bijjuzibwa ebyobugagga amakula, era ebirungi ebiteŋŋeenya.
5
Omuntu omugezi ye wa maanyi, ddala omuntu omutegeevu ye w'obuyinza,
6
kubanga okulwana olutalo, kyetaagisa okukola entegeka ez'ekikugu; era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe.
7
Eby'amagezi bisukkiridde nnyo omusiru era talina ky'ayinza kwogera, we basalira emisango.
8
Ateekateeka okukola akabi, balimuyita kalinkwe.
9
Omusiru buli ky'ateekateeka okukola, kiba kibi; era abantu beetamwa omunyoomi.
10
Bw'onafuyira mu kiseera mw'ofunidde ebizibu, ddala amaanyi go gaba matono.
11
Yamba abagenda okuttirwa obwemage, obawonye, baleme kutirimbulwa.
12
Oyinza okugamba nti: “Ekyo saakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma obulamu bwo akumanyi, era alikusasula, okusinziira ku by'okola.
13
Mwana wange, lyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi. Ebisenge byagwo nga bwe bikuwoomera,
14
manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo. Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja, by'osuubira birituukirira.
15
Weewale okuba ng'abantu ababi: abateegera mu maka g'omulungi, era abateesa okumunyagako amaka ge mw'abeera.
16
Omulungi ne bw'agwa emirundi emingi, ayimukawo buli mulundi; naye omuntu omubi bw'alijjirwa emitawaana, girimuzikiriza.
17
Tosanyukanga, omulabe wo bw'agwibwako akabi; tojaganyanga, ng'asirittuse n'agwa,
18
kubanga Mukama bw'alaba ng'okoze bw'otyo, anyiiga, n'alekera awo okumusunguwalira.
19
Toggweebwangako mirembe olw'abo abakola ebibi, era tobakwatirwanga buggya,
20
kubanga omubi talifuna birungi gye bujja, era alizikira ng'ettaala.
21
Mwana wange, ossangamu ekitiibwa Mukama ne kabaka; era teweetabanga n'abo abaagala okujeema,
22
kubanga emitawaana egiribajjira giribagwako bugwi, era tewali amanyi bwe giryenkana.
23
Era na bino byayogerwa abo ab'amagezi: okusosola mu bantu ng'osala emisango, si kituufu.
24
Oyo agamba eyazza omusango nti: “Ggwe mutuufu,” abantu banaamukolimiranga, era anaakyayibwanga buli omu.
25
Naye abo ababonereza omusobya, banaafunanga essanyu, era banaabeeranga n'omukisa.
26
Okuddamu ekituufu, ke kabonero k'omukwano.
27
Sooka oteeketeeke bulungi emirimu gyo egy'ebweru, otereeze bulungi ennimiro yo, olyoke weezimbire ennyumba.
28
Tolumirizanga muntu munno awatali nsonga ntuufu, era toyogeranga bya bulimba.
29
Togambanga nti: “Ky'ankoze nange ndikimukola, ndimulumya nga bw'annumizza.”
30
Nayita mu kibanja ky'omugayaavu, mu nnimiro ye ey'emizabbibu,
31
amaggwa nga gaduumuukidde omwo, ng'ebunye omuddo yonna, n'olukomera lwayo olw'amayinja nga lugudde.
32
Nagitunuulira ne ndowooza nnyo, ne mbaako kye njiga nti:
33
oba oyagala, sumagira weebakeko, zinga emikono, owummuleko!
34
Naye obwavu n'obwetaavu, birikulumba ng'omunyazi akutte ebyokulwanyisa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31