bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 23
Proverbs 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
1
Bw'otuulanga okuliira awamu n'omukungu, gendereranga nnyo ebiteekeddwa mu maaso go.
2
Weefugenga bw'oba nga oli muyala nnyo.
3
Tolulunkaniranga byassava by'agabula ayinza okuba ng'ayagala kukugeza alabe bw'ofaanana.
4
Mu kukolereranga obugagga, beeranga mugezi olemenga kwetawaanya ekiyitiridde.
5
Osimbira ki amaaso ku binaayita obuyisi? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro ng'empungu, ne bubuuka mu bbanga.
6
Tolyanga mmere ya muntu eyeefaako yekka, wadde okululunkanira ebyassava by'agabula!
7
Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, era ne kungulu bw'ali! Akugamba nti: “Lya, nywa,” naye mu mutima gwe, nga tali wamu naawe.
8
Ojja kusesema by'olidde; n'ebigambo ebirungi by'oyogedde, bijja kukufa bwereere.
9
Tobangako ky'obuulira omusiru, kubanga eby'amagezi by'oyogera ajja kubinyooma.
10
Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, era toyingiriranga kibanja kya bamulekwa;
11
kubanga Omulwanirizi waabwe, wa maanyi; omusango gwabwe, ye aliguwoza naawe.
12
Ossangayo omwoyo ku bikuyigirizibwa, era obiwulirizanga.
13
Tolekangayo kugolola mwana wo; okumukubako n'omuggo, tekijja kumutta,
14
ate era okumukuba, kye kijja okuwonya obulamu bwe.
15
Mwana wange, bw'obeera ow'amagezi, nange nsanyuka.
16
Ddala nja kusanyukanga, bw'onooyogeranga eby'amagezi.
17
Aboonoonyi tobakwatirwanga buggya, naye lumirwanga kussaamu Mukama kitiibwa ebbanga lyonna;
18
kubanga ddala empeera weeri, n'essuubi lyo teririkufa bwereere.
19
Mwana wange, teganga okutu kwo, obeerenga wa magezi; ofubenga okuluŋŋamya obulamu bwo.
20
Tobanga mu abo abeekamirira omwenge, wadde mu abo abalulunkanira ennyama,
21
kubanga omutamiivu n'omuluvu, balifuuka baavu, ne batuuka n'okwambala enziina.
22
Wuliranga kitaawo eyakuzaala; era tonyoomanga nnyoko wadde ng'akaddiye.
23
Owangayo ensimbi, okugula amazima n'amagezi, obuyigirize n'obugunjufu, naye tobitundanga.
24
Kitaawe w'omuntu omulungi, anaasanyukanga nnyo; n'oyo azaala ow'amagezi, anaamwenyumiririzangamu.
25
Osaanye osanyuse kitaawo ne nnyoko, omukazi eyakuzaala ajaganye.
26
Mwana wange, ssaayo nnyo omwoyo ku bye nkugamba, era weetegereze empisa zange.
27
Omukazi malaaya, lukonko oluwanvu; n'abakazi abenzi, bunnya bwa kanyigo.
28
Bakuteega ng'abanyazi, era baleetera abasajja bangi okusuula obwesigwa.
29
Ennaku n'obuyinike bigwira ani? Baani ababeera n'ennyombo? Abeemulugunya be baani, n'abakubirwa obwereere embale? Bantu ki abamyuka amaaso?
30
Be bantu abateekuula ku mwenge; abanoonya okunywa omuka ogw'ekika kino na kiri.
31
Tokemebwa ng'otunuulira omwenge ogumyuse obulungi, ogunyirira mu giraasi, ogukka omumiro n'obuseeneekerevu.
32
Oluvannyuma ofuna kubalagalwa, ng'ava okubojjebwa omusota; owulira kusonsomolwa, ng'alumiddwa embalasaasa.
33
Olwo ojja kulaba ebintuntu ebitategeerekeka, otandike okwogera ebitakwatagana.
34
Owulire ng'oli ng'agalamidde wakati mu nnyanja, era ng'oli ng'eyeewuubira waggulu, ku mulongooti.
35
Ojja kugamba nti: “Bankubye ne sirumwa. Bankubye ne siwulira kantu. Nnaazuukuka ddi, nzireyo ngunoonye nate?”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31