bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 19
Proverbs 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
1
Omwavu akolera ku mazima, akira omulimba omusiru.
2
Si kirungi okukola nga tomaze kulowooza; n'okubuguutanira ebintu, kukuleetera okuwubwa.
3
Abamu bakola eby'obusiru, ne beereetera emitawaana, ate ne banenya Mukama.
4
Omuntu omugagga, yeeyongera kufuna mikwano; kyokka oyo omwavu, ne gy'alina gimwabulira.
5
Awa obujulizi obw'obulimba, talirema kubonerezebwa. Omulimba talibaako w'awonera.
6
Bangi abaagala okuganza omugabi, era buli muntu yeegomba okukwana agaba ebirabo.
7
Omwavu akyayibwa baganda be bonna; leero alabisa mikwano gye! Abo bamwewala. Akanda kubakoowoola, olugenda tebadda!
8
Afuna amagezi, yeegasa; anyweza by'ayize, afuna ebirungi.
9
Awa obujulizi obw'obulimba, talirema kubonerezebwa. Omulimba ddala alizikirira.
10
Omusiru tasaanira kuba mu byakwejalabya, era n'omuddu tasaanidde kufuga bakungu.
11
Omalanga kwekkaanya, n'otomala gasunguwala; era kiba kya kitiibwa, okusonyiwa abasobya.
12
Obusungu bwa kabaka butiisa, ng'okuwuluguma kw'empologoma; naye okusaasira kwe kuweweeza ng'omusulo ogunnyikiza omuddo.
13
Omwana omusiru, nnaku ya kitaawe; n'okuyomba kw'omukazi, ye nkuba etekya.
14
Ennyumba n'obugagga, obisikira ku kitaawo; naye okufuna omukazi omutegeevu, kiba kirabo kya Mukama.
15
Omuntu omugayaavu, yeebaka otulo tungi; kyokka atakola, alirumwa enjala.
16
Akuuma ebiragiro, aba mirembe; atabissaako mwoyo, afa.
17
Agabira abaavu, awola Mukama: era Mukama alimusasula ebirungi by'abakoledde.
18
Bonereza omwana wo, nga wakyaliwo essuubi ery'okumugolola, oleme kumuleka kuzikirira.
19
Omuntu ow'obusungu aliriwa: kubanga ne bw'omuwonya omulundi ogusooka, kirikwetaagisa okuddamu okumuwonya.
20
Wulirizanga ebikubuulirirwa, okkirizenga okuwabulwa, lw'olibeera omugezi gye bujja.
21
Abantu bategeka bingi eby'okukola, naye Mukama by'ayagala, bye bituukirira.
22
Ekireetera omuntu okwagalibwa, kiba kisa kye; n'omwavu, akira omulimba.
23
Okussaamu Mukama ekitiibwa, kuleeta okuwangaala; ali nakwo aba mumativu, era aba mirembe.
24
Omugayaavu akoza emmere mu nva, n'alemwa okugyeteeka mu kamwa!
25
Bonereza omunyoomi, abatalina magezi bayige. Bw'obuulirira omutegeevu, yeeyongera okutegeera.
26
Atulugunya kitaawe, oba agoba nnyina mu maka ge; aba mwana kaggwensonyi, era asaanye okuvumirirwa.
27
Mwana wange, bw'okomya okuyiga, olyerabira ne bye wali omanyi.
28
Omuntu awa obujulizi obw'obulimba, anyooma obwenkanya, n'abantu ababi, bawoomerwa okukola ekibi.
29
Abanyoomi tebalirema kusingibwa musango, n'abasiru tebalirema kubonerezebwa.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31