bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 25
Proverbs 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
1
Era na zino ngero za Solomooni, basajja ba Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya, ze baakoppolola.
2
Tussaamu Katonda ekitiibwa, olw'ebyo bye yakisa. Naye Kabaka, ekitiibwa tukimussaamu olw'ebyo by'annyonnyola.
3
Kabaka by'alowooza, bizibu okumanya; bitwesudde ng'eggulu mu bbanga, era ng'okukka kw'entobo y'ennyanja.
4
Bw'oyokya n'oggyamu obucaafu mu ffeeza, omuweesi amukuweesezaamu ky'oyagala.
5
Ggyawo mu maaso ga kabaka abawi b'amagezi ababi, olabe obufuzi bwe bwe bujjula obwenkanya.
6
Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, era teweeteekanga mu kifo kya bakulu.
7
Kiba kirungi okukuyita nti: “Sembera eno”, okusinga lwe bakutoowaza mu maaso g'omukungu. By'oba olabye
8
toyanguwanga kubiraalaasa, balemenga kubikutuuzaamu n'obulwa eky'okukola!
9
Bw'obangako ensonga ne munno, muginnyonnyolaganenga mwembi. Ebadde ey'ekyama, togimanyisanga balala,
10
awulira ekyama ekyo alemenga kukusunga, n'osigala ng'oswadde.
11
Ekigambo ekirungi ekyogerwa mu kaseera akatuufu, kiri ng'ebibala ebyengedde ebifaanana zaabu, era ebiteekeddwa ku ssowaani eya ffeeza.
12
Ow'amagezi by'abuulirira omuntu eyeetegese okuwuliriza, biri ng'empeta y'omu kutu eya zaabu, oba eby'obuyonjo ebirala ebya zaabu.
13
Omubaka omwesigwa, azzaamu amaanyi abaamutuma, ng'amazzi ag'okunywa agannyogoga, bwe gaweweeza abaganywa mu budde obw'ebbugumu.
14
Oyo asuubiza ebirabo by'atagaba, ali ng'ebire n'empewo ebitavaamu nkuba.
15
Okugumiikiriza, kuwooyawooya omufuzi; n'olulimi olugonvu, lugonza ow'obuyinza.
16
Bw'osanga omubisi gw'enjuki, lyangako ogukumala obumazi, oleme kugukkuta kiyitiridde n'ogusesema.
17
Tokyaliranga munno mirundi mingi, alemenga okukwetamwa n'akukyawa.
18
Omuntu awaayiriza munne wa kabi ng'ennyondo n'ekitala, oba ng'akasaale akoogi.
19
Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biseera eby'obuyinike, kuli ng'erinnyo erirwadde, n'okugulu okunuuse.
20
Okuyimbira omuntu ali mu nnaku, kuba ng'okweyambulamu engoye, mu budde obw'empewo, oba okusiiga omunnyo mu kiwundu.
21
Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere n'alya; era bw'alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi n'anywa.
22
Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi; era Mukama alikuwa empeera.
23
Okugeya kuleeta obusungu, ng'embuyaga ez'obukiikakkono, bwe zireeta enkuba.
24
Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, n'otaba na mukazi muyombi, mu nnyumba awagazi.
25
Okuwulira amawulire amalungi agava mu nsi ey'ewala, kuli ng'okunywa amazzi amannyogovu ng'obadde olumwa ennyonta.
26
Omuntu omulungi eyekkiriranya n'omubi, aba ng'oluzzi olusiikuuse, n'ensulo y'amazzi etabanguse.
27
Nga bwe kitali kirungi okulya omubisi gw'enjuki omungi, era bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya okuwaanibwa.
28
Atamanyi kwetangira, ali ng'ekibuga ekirumbiddwa nga tekiriiko kigo.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31