bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 20
Proverbs 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Omwenge gukudaalira abagunywa, n'ebitamiiza bibaleekaanya; n'ababyettanira, si ba magezi.
2
Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma; kale okumusunguwaza, kuba kwetta wekka.
3
Kya kitiibwa okwewala ennyombo, era abasiru be baagala okuyombanga.
4
Omugayaavu atalima ng'enkuba etonnye alinoonya ky'akungula, nga takiraba.
5
Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi agali mu luzzi oluwanvu; omutetenkanya, ye agasenayo.
6
Abantu bangi abeeyita ab'ekisa; naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumuzuula?
7
Abaana ba mukisa abalisikira kitaabwe omulungi era omwesigwa.
8
Kabaka bw'atuula okusala emisango, apima n'azuula ekirungi n'ekibi.
9
Ani ayinza okugamba nti: “Ntukuzizza omutima gwange, kati ndi mulongoofu, sirina kibi na kimu?”
10
Mukama akyayira ddala abakozesa minzaani n'ebipimo ebirala ebikyamu.
11
N'omwana omuto by'akola, biraga bw'ali: oba nga mulongoofu, era nga mwesimbu.
12
Amatu ge tuwuliza, n'amaaso ge tulabisa, byonna Mukama ye yabitonda.
13
Tomalanga biseera byo mu tulo, sikulwa ng'ojjirwa obwavu. Beeranga mulabufu, ofunenga emmere gy'olya.
14
Omuguzi, ajerega ky'alamuza, naye bw'amala okugula, agenda yewaana bw'akisuuzizza obusuuza.
15
Eriyo zaabu, era eriyo amayinja ag'omuwendo mangi, naye eky'omuwendo ekitasangikasangika, ye muntu ayogera eby'amagezi.
16
Omuntu eyeeyimirira gw'atamanyi, asaana aggyibweko ky'asinzeewo.
17
Oyo awoomerwa by'afunye mu butali bwenkanya, oluvannyuma bimufuukira ng'alya omusenyu.
18
Kyagala okubuulirirwa mu by'oteekateeka okukola; n'okulwana olutalo, kyetaaga abawi b'amagezi.
19
Abunza eŋŋambo, takuuma byama; n'oyo enjogeziyogezi, tomwesemberezanga.
20
Akolimira kitaawe oba nnyina, obulamu bwe buliba ng'ettaala, ezikizibwa mu kizikiza ekikutte ennyo.
21
Bw'ofuna by'otosoose kuteganira, mu nkomerero, tebiba bya mukisa.
22
Teweewereranga kuwoolera ggwanga; olekeranga Mukama, n'akulwanirira.
23
Mukama akyawa abakozesa ebipimo ebitali bituufu. Minzaani epima ebikyamu, mbi.
24
Mukama ye afuga entambula yaffe. Kale omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo mu bulamu bwe ly'akwata?
25
Kuba kwesuula mu mutego, okwanguwa okusuubiza Mukama ekintu, n'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama.
26
Kabaka ow'amagezi azuula abasobya, n'ababonereza n'obukambwe.
27
Omwoyo gw'omuntu, ye ttaala Mukama gye yamussaamu, emulisa ne munda.
28
Ekisa n'obwesigwa, bye biwanirira kabaka; era obusaasizi, bwe bunyweza entebe ye.
29
Ekyenyumirizisa abavubuka, maanyi gaabwe; n'omutwe ogw'envi, gwe gulungiya abakadde.
30
Emiggo egibalagala, gigolola empisa embi; n'okuswanyuulwa, kuggyamu emize.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31