bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 13
Proverbs 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
1
Omwana ow'amagezi assaayo omwoyo ku ebyo, kitaawe by'amubuulirira; naye omunyoomi, tawuliriza kunenyezebwa.
2
Omuntu omulungi afuna ebirungi olw'ebigambo by'ayogera; naye ab'enkwe beegomba kukola bya bukambwe.
3
Eyeegendereza by'ayogera, akuuma obulamu bwe; naye enjogeziyogezi, yeereetera okuzikirira.
4
Omuntu omugayaavu, tafuna bye yeegomba; naye omunyiikivu, agaggawala.
5
Omuntu omulungi, akyawa obulimba; naye omubi mugwagwa, era akola ebiswaza.
6
Obwegendereza, bukuuma omulongoofu; naye obubambaavu, busuula omwonoonyi.
7
Waliwo abeeyisa ekigagga, naye nga tebalina kantu. Waliwo abeeyisa ng'abaavu, naye nga bagagga babifeekeera.
8
Omugagga by'alina bye bimununula; naye omwavu, tawuliriza kunenyezebwa.
9
Abantu abalungi, bali ng'ettaala ekoleezeddwa n'eyaka; naye bo ababi, bali ng'ettaala ezikidde.
10
Okwekuza kuleeta kuwakana, naye eky'amagezi, kwe kukkiriza okubuulirirwa
11
Obugagga obujja amangu, era buggwaawo mangu; naye obwo bw'okuŋŋaanya empolampola ng'okola emirimu, bulyeyongera okwala.
12
Okulwawo okufuna ky'osuubira, kirwaza ebirowoozo; naye afuna kye yeegomba, oyo addamu obulamu.
13
Anyooma okubuulirirwa, yeereetera okuzikirira; naye agondera ekiragiro, aliweebwa empeera.
14
Enjigiriza y'ab'amagezi, eba nsulo ya bulamu, eggya abantu mu kufa.
15
Okutetenkanya okulungi, kwagazisa omuntu; naye okuba ow'enkwe, kibi.
16
Abantu abategeevu, bamala kulowooza ne balyoka bakola; naye omusiru, ayolesa obutamanya bwe.
17
Omubaka ateesigwa, aleeta emitawaana; naye omutume omwesigwa, aleetawo emirembe.
18
Atayagala kubuulirirwa, ayavuwala era aswala; naye akkiriza okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa.
19
Omuntu asanyuka okufuna kye yeegomba; naye ababi tebaagalira ddala kulekayo kwonoona.
20
Otambulanga n'ab'amagezi, naawe obe wa magezi; naye bw'olikwana abasiru, oli wa kulaba nnaku.
21
Emitawaana gyesiba ku boonoonyi; naye abantu abalongoofu, baliweerwa ebirungi.
22
Omuntu omulungi afuna obugagga bw'alirekera n'abazzukulu; naye obugagga bw'aboonoonyi, bulitwalibwa abo abalungi.
23
Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi; naye abatali benkanya tebabaganya kugirya.
24
Atabonereza mwana we, aba amukyaye; naye amwagala, assaayo omwoyo okumukangavvula.
25
Omuntu omulungi, afuna by'alya n'akkuta; naye omuntu omubi alumwa enjala bulijjo.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31