bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 29
Proverbs 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
1
Omuntu anenyezebwa emirundi emingi n'akakanyalira mu nsobi, alimenyeka nga tamanyiridde, n'atasobola kuwonyezebwa.
2
Ng'abantu abalungi be bafuga, abantu basanyuka; naye ababi bwe baba mu buyinza, abantu basinda.
3
Ayagala amagezi, asanyusa kitaawe; naye abeera ne bamalaaya, amalawo ebintu bye.
4
Kabaka bw'alumirwa obwenkanya, ensi ye etereera; naye bw'aba asaba enguzi, ensi agittattana.
5
Omuntu awaanawaana munne, aba amutega kitimba.
6
Omuntu omubi, akwatirwa mu nsobi ze; naye omulungi, asanyuka n'ayimba.
7
Omulungi amanya ebyo, abaavu bye bagwanira okuweebwa; naye omubi, tabirowoozanako.
8
Abantu abatalumirwa balala basasamaza ekibuga; naye abantu abategeevu, bakkakkanya obusungu.
9
Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, omusiru asunguwala, oba asekereza, n'aleetawo okucankalana.
10
Abaagala okutemula, bakyawa atalina musango; naye abantu abalungi, bafuba okutaasa obulamu bwe.
11
Omusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya.
12
Omufuzi bw'awuliriza eby'obulimba, abakungu be bonna baba babi.
13
Omwavu, n'oyo amunyigiriza, balina ekibagatta: bombi Mukama ye abawa ekitangaala ne balaba.
14
Kabaka asala emisango gy'abaavu mu bwenkanya, obwakabaka bwe bunaanyweranga ennaku zonna.
15
Okugolola n'okukangavvula, biyigiriza; naye omwana alekerwa awo, aswaza nnyina.
16
Ababi bwe baba mu buyinza, okuzza emisango kweyongera; naye abalungi baliraba okugwa kw'ababi abo.
17
Kangavvulanga omwana wo, anaakweyagazanga, era anaakuleeteranga okuwulira essanyu.
18
Awatali kuluŋŋamizibwa Katonda, abantu bacankalana; naye akwata Amateeka, wa mukisa.
19
Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, kubanga ne bw'ategeera, tassaayo mwoyo.
20
Omusiru wandibaako k'omusuubiramu, okusinga oyo afubutukira ebigambo.
21
Aginya omuweereza we okuva nga muto, oluvannyuma alimukikinalako.
22
Omuntu ow'akasunguyira, awakula ennyombo; n'ow'ekiruyi, agwa mu nsobi nnyingi.
23
Okwekuza kw'omuntu, kumutoowaza; naye omwetoowaze mu mutima, aweebwa ekitiibwa.
24
Assa ekimu n'omubbi, akyawa bulamu bwe; ne bwe bamulayiza, takwekula mazima.
25
Oyo atya obutyi abantu, yeesuula mu kabi; naye eyeesiga Mukama, aba n'emirembe.
26
Bangi abaagala okuganja mu bakulu; naye Mukama ye atufuula abenkanya.
27
Omuntu omubi, akyawa ow'empisa ennungi, n'ow'empisa ennungi, akyawa omuntu omubi.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31