bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 9
Proverbs 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
1
Amagezi gazimbye ennyumba yaago, ne gagikolera empagi musanvu.
2
Gasse ensolo zaago, gayiisizza omwenge era gategese olujjuliro.
3
Gasindise abawala baago abaweereza, bagende mu bifo by'ekibuga, ebisinga obugulumivu balangirire nti:
4
“Buli mubuyabuya, ayingire muno!” N'atali mugezi gamugamba nti:
5
“Jjangu olye ku mmere gye nfumbye, onywe ne ku mwenge gwe njiisizza.
6
Vva mu batalina magezi, lw'oliwangaala. Tambuliranga wamu n'abategeevu.”
7
Buli anenya omwepansi, yeereetera okuvumibwa; n'oyo abuulirira omubi, yeerumya yekka.
8
Tobuuliriranga mwepansi, aleme okukukyawa. Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga.
9
Bw'oyigiriza omugezi, yeeyongera kuba wa magezi. Bw'oyigiriza omuntu omulungi, yeeyongera okuyiga.
10
Mu kutya Mukama, amagezi mwe gasookera, n'okugondera Oyo Omutuukirivu, kwe kuba omutegeevu.
11
Okuba n'amagezi kyongera ku bungi bw'emyaka omuntu gy'awangaala,
12
Kigasa ggwe okuba n'amagezi. Bw'oganyooma, weerumya wekka.
13
Omukazi omusirusiru, aleekaana. Talina magezi, era taliiko ky'amanyi
14
Atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, ku katebe mu bifo ebigulumivu eby'omu kibuga,
15
n'akoowoola abayitawo, abali ku ŋŋendo zaabwe nti:
16
“Buli omubuyabuya, ajje wano.” N'agamba n'oyo atali mutegeevu nti:
17
“Amazzi amabbe ge gawooma okunywa, n'emmere eriirwa mu nkukutu, ye esanyusa.”
18
Naye abo b'agamba tebamanyi ng'abayingira omumwe, bafiiramu; nga n'abagenyi be, bali magombe!
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31