bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 22
Proverbs 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
1
Bw'oba wa kulondawo, londawo erinnya eddungi, okusinga okulondawo obugagga. Era okuganja n'okwagalibwa, kusinga okuba ne zaabu ne ffeeza.
2
Omugagga n'omwavu, balina ekibagatta: Ye Mukama, bonna eyabatonda.
3
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; naye abatalina magezi, bagenda bugenzi ne bakagwamu.
4
Abantu abeetoowaza n'abassaamu Mukama ekitiibwa, bafuna obugagga n'ekitiibwa, era n'obuwangaazi.
5
Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ly'ababi. Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala.
6
Yigiriza omwana wo, nga bw'asaanye okweyisa mu bulamu bwe; ekyo talikivaako ne mu bukadde bwe.
7
Omuntu omugagga, ye afuga omwavu; n'oyo eyeewola, aba muddu w'oyo amuwola.
8
Asiga obutali bwenkanya, alikungula mitawaana, n'okukambuwalira banne, kuliggwaawo.
9
Wa mukisa oyo ow'ekisa, kubanga abaavu abagabira ku mmere ye.
10
Bw'ogobawo omunyoomi, n'entalo ziggwaawo; era empaka n'okuswala bikoma.
11
Ayagala omutima omulongoofu n'okwogera ebigambo eby'ekisa, afuuka mukwano gwa kabaka.
12
Mukama yeekaliriza okulaba ng'amazima gakuumibwa; era azikiriza enkwe z'abalimba.
13
Omugayaavu agamba nti: “Ebweru eriyo empologoma, ejja kunzitira mu nguudo.”
14
Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu: abo Mukama b'asunguwalidde, babugwamu.
15
Kya butonde omwana omuto okukola ebitali bya magezi; naye okubonerezebwa, kubimuggyamu.
16
Anyigiriza omwavu, ye yeegaggawaze, n'oyo agabira abagagga ebirabo, tebalirema kwavuwala.
17
Wuliriza ebigambo, ab'amagezi bye baayogera; ssaayo omwoyo, oyige bye nkuyigiriza.
18
Kiba kirungi, singa osobola okubijjukira, nga tosikattira na mu kubijuliza.
19
Ŋŋenda okubikuyigiriza kaakano olyoke oyige okwesiganga Mukama.
20
Nkuwandiikidde emboozi amakumi asatu, ezijjudde eby'okuyiga n'ebibuulirira.
21
Zijja kukuyigiriza, omanye amazima g'otobuusabuusaamu, olwo abakutumye okuganoonya, onoobakomezangawo g'ozudde.
22
Toyiikirizanga mwavu, olw'okuba nga ye teyeesobola; wadde okunyigiriza omunaku awasalirwa omusango;
23
kubanga Mukama ye ajja okubalwanirira, era ajja kwesimba mu buli abatiisatiisa.
24
Tokwananga bantu ba kasunguyira, abasunguwala ne basuukira;
25
sikulwa ng'oyiga emize gyabwe ate n'olemwa okugivaamu.
26
Tobanga omu ku abo abeeyama, okusasula amabanja g'abalala.
27
Bw'olemwa okugasasula, batwala n'ekitanda ky'osulako.
28
Tojjululanga kabonero ka nsalo ez'edda, bajjajjaabo ke baasimba.
29
Omuntu anyiikira okukola, aba takyali mu bantu ba bulijjo; asaanira kubeeranga mu maaso ga bakabaka.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31