bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 28
Proverbs 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
1
Ababi badduka nga tewali abagoba; naye abalungi, baba bazira ng'empologoma.
2
Eggwanga omuba obutabanguko liba n'abafuzi bangi; naye bwe lifuna omufuzi ow'amagezi era omutegeevu, litebenkera.
3
Ow'obuyinza anyigiriza abaavu, ali ng'enkuba erimu kibuyaga, ezikiriza emmere yonna.
4
Atassaamu mateeka kitiibwa, awagira ababi; naye oyo agakwata, abalwanyisa.
5
Abantu ababi, tebategeera bwenkanya; naye abassaamu Mukama ekitiibwa, babutegeera bulungi.
6
Okuba omwavu omwesimbu, kusinga okuba omugagga omukumpanya.
7
Omwana akwata amateeka, wa magezi; naye akwana bakirimululu, aswaza kitaawe.
8
Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, obugagga bwe abukuŋŋaanyiza oyo, akwatirwa ekisa abaavu.
9
Agaana okuwulira amateeka, okwegayirira kwe, Katonda akwenyinyala.
10
Akyamya omulungi n'amukozesa ekibi, yennyini aligwa mu bunnya bw'asimye; naye abatalina musango, balifuna ebirungi.
11
Omugagga alowooza nti wa magezi; naye omwavu eyeetegereza, amutegeera.
12
Omulungi bw'afuna obuyinza, wabaawo okujaguza; naye omubi bw'akuzibwa, abantu beekweka.
13
Akweka ebibi bye yakola, taliba bulungi; naye buli abyatula n'abyenenya, abisonyiyibwa.
14
Assaamu Mukama ekitiibwa bulijjo, aliba wa mukisa; naye amujeemera, aligwa mu kabi.
15
Omufuzi omubi afuga abaavu, ali ng'empologoma ewuluguma, n'eddubu eyeetala okutaagula.
16
Omufuzi atafa ku bantu, aba mukambwe; naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi.
17
Omuntu bw'azza ogw'obutemu, asaana abenga mubungeese okutuusa lw'alifa, era walemenga kubaawo amuyamba.
18
Akolera ku bwesimbu, aliba bulungi; naye atali mwenkanya, alimenyekawo mangu.
19
Omulimi omunyiikivu, aliba n'emmere nnyingi; naye ayita n'abagayaavu, anabeeranga mwavu.
20
Omuntu omwesigwa, alifuna emikisa; naye abuguutanira okugaggawala, talirema kubonerezebwa.
21
Okusosola mu bantu, kibi; naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya.
22
Omuntu eyeefaako yekka, abuguutanira okwegaggawaza, sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako.
23
Agolola munne ensobi, oluvannyuma aliganja, okusinga amuwaanawaana.
24
Buli alowooza nti si musango okubba ebintu bya kitaawe oba ebya nnyina, aba wa kinywi kimu n'omutemu.
25
Alulunkanira ebintu, aleeta ennyombo; naye eyeesiga Mukama, anaabanga n'omukisa.
26
Eyeesiga ye by'alowooza, oyo aba musiru; naye oyo agoberera ebimuyigirizibwa ab'amagezi, ye aliba obulungi.
27
Agabira abaavu, taabenga mu bwetaavu; naye omuntu abalaba n'atabafaako, alikolimirwa bangi.
28
Ababi bwe baba mu buyinza, abantu beekweka; naye bwe bawanulwa ku bufuzi, abantu abalungi beeyongera okwala.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31