bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 30
Proverbs 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Bino bye bigambo bya Aguri, mutabani wa Yaake ow'e Messa, bye yagamba Yitiyeeli, Yitiyeeli oyo ne Wukali, nti:
2
“Mazima nze muntu asingayo obusiru era siriimu magezi ga muntu.
3
Siyiganga magezi, wadde okumanya ebifa ku Katonda.
4
Ani yali alinnye mu ggulu, ate n'awanukayo n'akka? Ani yali awumbidde empewo mu bikonde bye? Ani yali akuumidde amazzi mu kyambalo kye? Ani yateekawo ensalo zonna ez'ensi? Erinnya lye ye ani, ne mutabani we ye ani, oba ng'omanyi?
5
Katonda atuukiriza buli ky'asuubiza; era Ye, ye ngabo, ekuuma abamwesiga.
6
Era ebigambo bye, tobikookerangako bibyo, aleme okukunenyanga n'ayoleka obulimba bwo.”
7
Nkusaba ebintu bibiri, ayi Katonda, obimpe nga sinnafa:
8
mponya ebikyamu n'obulimba, tompanga bwavu, wadde obugagga, naye ompenga ebyokulya bye neetaaga;
9
nnemenga okukkuta ekiyitiridde, ne nkwegaana ng'aŋŋamba nti: “Mukama ye ani? Simwetaaga”; era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange.
10
Towaayirizanga muweereza eri mukama we, alemenga okukukolimira, n'ovunaanibwa omusango.
11
Waliwo abakolimira bakitaabwe, era ne batasabira bannyaabwe mikisa.
12
Waliwo abalowooza nti balongoofu, sso nga balina ebibi, bye basaanye okwenenya, bibasonyiyibwe.
13
Waliwo abantu abalaba nti bo ba waggulu nnyo, era ne balowooza nti be basinga abalala bonna.
14
Waliwo abakozesa obukambwe okunyuunyunta abaavu n'abateeyamba, bo beefunire ebibayimirizaawo.
15
Okwegomba kumanyi ebigambo bibiri byokka: ekisooka, “Mpa” n'ekyokubiri, “Mpa.” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, ddala biri bina ebitamatira:
16
Ebyo ge magombe, n'enda y'omukazi omugumba, ensi enkalu erakasidde, n'omuliro mutakkutanku.
17
Amaaso g'oyo anyooma kitaawe, oba ag'oyo agaana okuwulira nnyina, gasaanye gaggyibwemu binnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu, era gabojjogolwe ensega.
18
Ebintu bisatu ebyannema okutegeera, ddala biri bina bye simanyi:
19
engeri bino gye bimanyaamu ekkubo lye binaayitamu: empungu ebuukira mu bbanga, omusota ogwewalulira ku lwazi, eryato eriseeyeeya mu buziba bw'ennyanja, n'engeri omukwano gye gujja wakati w'omusajja n'omukazi!
20
Eno ye nkola y'omukazi omwenzi: olumala okwenda, anaaba ne yeesaanya, olwo n'agamba nti: “Siriiko kibi kye nkoze.”
21
Waliwo ebintu bisatu ebikankanya ensi, biri bina by'eteyinza kugumiikiriza:
22
omuddu okufuuka kabaka, n'omusiru okuba na buli kye yeetaaga;
23
omukazi kibijjigiri okufumbirwa, n'omuzaana okusikira mugole we.
24
Ku nsi kuliko ebintu bina ebitono, naye ebirina amagezi amangi ennyo:
25
enkuyege, kale buntu obutalina maanyi, naye bweterekera bye bunaalya mu kyeya.
26
Obumyu nabwo si bwa maanyi, naye bwezimbira amaka mu mayinja.
27
Enzige tezirina kabaka, naye zikumbira mu bibinja.
28
Omunya mwangu okukwata, n'oguteeka mu kibatu; naye gubeera ne mu mbiri za bakabaka.
29
Waliwo ebintu bisatu ebikumba n'oyagala, ddala biri bina ebitambuza essimbo:
30
empologoma ekira amaanyi mu nsolo endala zonna, tewali ndala gy'etya;
31
embwa enjizzi, ennyonyi muzinge, sekkokko empanga, n'embuzi ennume, ne kabaka ali n'eggye lye.
32
Bw'obanga okoze eky'obusiru ne weekuluntaza, oba n'oteesa okukola ekibi, osirikanga n'olowooza;
33
kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo, n'okunyigiriza ennyindo nga bwe kugireeta omusaayi, bwe kutyo n'okusitula obusungu, bwe kuvaamu ennyombo.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31