bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 8
Proverbs 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
1
Amagezi gakoowoolera, n'okutegeera kuleekaanira
2
ku butunnumba okumpi n'ekkubo, mu masaŋŋanzira g'enguudo.
3
Galeekaanira ku miryango awayingirirwa mu kibuga nti:
4
“Mmwe abantu, mbakoowoola, buli ali ku nsi mmuyita.
5
Mmwe ababuyabuya, muyige okwegendereza. Nammwe abasirusiru, mufube okuba abategeevu.
6
Muwulire bye njogera ebirungi ebiyitirivu. Byonna bye mbabuulira nze, bituufu.
7
Byenjogera bya mazima, era sikolagana na bulimba.
8
Njogera bituufu byereere, temuli kikyamu wadde ekikyukakyuka.
9
Byanguyira omutegeevu, era bitangaavu ku alina obumanyirivu.
10
Mwagale bye njigiriza okusinga ffeeza, era mwagale okumanya okusinga zaabu omuyooyoote,
11
kubanga amagezi gasinga nnyo amayinja ag'omuwendo. Tewali na kye weegomba ekyo, ky'oyinza kugeraageranya nago.
12
“Ayogera ye nze Amagezi. Nsangibwa mu bwegendereza. Mu kusala obulungi ensonga, mwe njoleseza okutegeera.
13
Okutya Mukama, kwe kukyawa ebibi. Nkyawa okwekuza n'okwepanka, n'empisa embi, n'eby'obulimba.
14
Mbuulirira bulungi ne mpa amagezi amatuufu. Ntegeera, era nnina amaanyi.
15
Nnyamba bakabaka okufuga, n'abafuzi okuteeka amateeka amalungi.
16
Buli mufuzi ku nsi, nze mmuyamba okufuga, k'abe mukungu, k'abe mulamuzi.
17
Abanjagala nange be njagala, era nzuulibwa abo, abanyiikira okunnoonya.
18
Nnina obugagga n'ekitiibwa, obugagga obutuufu era obwenkalakkalira.
19
Kye ngaba kisinga zaabu asingira ddala obulungi, kisinga ffeeza omuyooyoote.
20
Amazima lye kkubo lyange, nkolera ku bwenkanya bwereere.
21
Abanjagala mbawa obugagga, ne nzijuza amawanika gaabwe.
22
“Mukama ng'atonda, yasookera ku nze. Ndi mulimu gwe ogw'edda, ogw'olubereberye.
23
Nateekebwawo kuva dda. Naliwo okuva olubereberye, ng'ensi tennaba na kubaawo.
24
Najja tewannabaawo nnyanja, wadde ensulo ezireeta amazzi;
25
ensozi zaali tezinnassibwawo, n'obusozi nabusookawo.
26
Katonda yali tannatonda nsi, na kuteekawo nnimiro, wadde enfuufu embereberye.
27
Bwe yali abamba eggulu, naliwo, era ng'assaawo enkulungo ku nnyanja.
28
Bwe yawanika ebire mu bbanga, n'aggulira ensulo eziri mu nnyanja,
29
bwe yakugira ennyanja, amayengo galemenga okubuuka ensalo zaayo, n'assaawo emisingi gy'ensi,
30
namuli ku lusegere ng'akaana ke akato, nga nze ndabirira omulimu. Era yansanyukiranga bulijjo, nga ndigitira w'ali,
31
nga nsanyukira mu nsi ye n'ebigirimu, ng'essanyu lyange kwe kubeera wamu n'abantu.
32
“Kale nno baana bange, muwulirize bye ŋŋamba, kubanga balina omukisa abakwata bye mbabuulirira.
33
Muwulirizenga ebibayigirizibwa, mubenga n'amagezi; era amagezi, temugagayaaliriranga.
34
Wa mukisa oyo awuliriza bye ŋŋamba, abeera ku luggi lwange bulijjo, ng'alindira ku mulyango gw'enju yange,
35
kubanga buli anzuula aba azudde bulamu, era alyagalibwa Mukama.
36
Naye oyo akola ekibi n'annyiiza, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba booya kufa.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31