bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 15
Proverbs 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
1
Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi; naye ebigambo eby'ekkabyo, bisaanuula obusungu.
2
Ab'amagezi boogera ebisaanidde; naye abasiru bamokkola buli kye basanga.
3
Mukama alaba buli wantu, ng'alabirira abalungi n'ababi.
4
Okwogera eby'ekisa, kiwa obulamu; naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima.
5
Omusiru anyooma ebyo kitaawe by'amubuulirira; naye omutegeevu, akkiriza okunenyezebwa.
6
Amaka g'abantu abalungi, gabaamu ebyobugagga bingi; naye amagoba g'omubi, tagafunamu mirembe.
7
Ab'amagezi bye boogera, bibunyisa okumanya; naye ebirowoozo by'abasiru, si bwe bikola.
8
Mukama yeenyinyala ebitambiro by'aboonoonyi; wabula asanyukira okwegayirira kw'abantu abalungi.
9
Mukama akyawa enneeyisa y'abantu ababi; naye ayagala abafuba okukola ebituufu.
10
Ava mu kkubo ettuufu, wa kukangavvulwa nnyo. Akyawa okunenyezebwa, afa.
11
Oba ng'ebiri emagombe awali okuzikirira, Mukama nabyo abimanya, kale kiki ekimwekweka mu mitima gy'abantu?
12
Omunyoomi tayagala kunenyezebwa, era tayagala kwebuuza ku bamusingako okuba abagezi.
13
Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya; naye ali mu buyinike, atunuza bwennyamivu.
14
Ab'amagezi baagala okuyiga; naye abo abasiru, basanyukira mu butamanya.
15
Ennaku zonna ez'ababonyaabonyezebwa, ziba mbi; naye omusanyufu, aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera.
16
Okuba omwavu naye ng'otya Mukama, kisinga okuba omugagga naye nga tolina mirembe.
17
Waakiri okulya amaluma, ne mulya nga mwagalana; okusinga okulya ebisava, awali okukyawagana.
18
Omuntu w'akasunguyira, asaanuula ennyombo; naye omukwatampola, akkakkanya empaka.
19
Ekkubo ly'omugayaavu, lukomera lwa maggwa; naye oluwenda lw'abagolokofu, lwe luguudo oluyooyoote.
20
Omwana omugezi, ssanyu lya kitaawe; naye omuntu omusiru, ye anyooma nnyina.
21
Atalina magezi, asanyukira obubuyabuya; naye omuntu omutegeevu, ayagala okukola ekituufu.
22
Awatali muwi wa magezi, bye muteesa tebirama; naye bitereera, awali abawabuzi abangi.
23
Okuddamu ekituufu mu kaseera akatuufu, kisanyusa omuntu.
24
Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, ne beewala eriserengeta mu kufa.
25
Mukama azikiriza amaka g'abeekulumbaza; naye akuuma n'anyweza ebintu bya bannamwandu.
26
Mukama yeenyinyala buli kirowoozo ekibi; naye ebigambo ebirungi, ebyo abisanyukira.
27
Alulunkanira amagoba g'afuna mu bukumpanya, amaka ge agaleetera mitawaana; naye atalya nguzi, ye aliba omuwangaazi.
28
Abantu abalungi bamala kulowooza nga tebannaba kwanukula; naye abo ababi boogera ebitasaana.
29
Abantu abalungi bwe basaba, Mukama abawuliriza; naye ababi, abeesamba.
30
Atunuza essanyu, asanyusa; n'amawulire amalungi, tegalema kweyagaza.
31
Omuntu akkiriza okubuulirirwa ebimuzimba, abalirwa mu b'amagezi.
32
Agaana okubuulirirwa, yeefiiriza yekka. Akkiriza okunenyezebwa, yeeyongera okugeziwala.
33
Okutya Mukama, kwe kuyigiriza omuntu amagezi; n'okwetoowaza, kwe kukulembera okukuzibwa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31