bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 17
Proverbs 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
1
Akatono k'olya ng'olina emirembe, ne bwe kaba ka maluma, kakira embaga gy'oliira mu maka omuli okuyomba.
2
Omuweereza atuukiriza obulungi emirimu, alifuga omwana ow'omu nju ow'eddalu, era alifuna omugabo gw'obusika ng'omu ku booluganda.
3
Zaabu wamu ne ffeeza, bamugereza mu kabiga; naye omutima gw'omuntu, Mukama ye agugeza.
4
Abakola ebibi, be bawuliriza emboozi embi; n'omulimba, ye anyumirwa okuwuliriza eby'ettima.
5
Aduulira abaavu, avvoola Omutonzi waabwe; n'oyo asanyukira ennaku ya banne, talirema kubonerezebwa.
6
Abakadde beeyagalira mu bazzukulu baabwe, n'abaana beenyumiririza mu bakitaabwe.
7
Okwogera eby'amakulu, tekikolebwa musiru; n'omuntu oweekitiibwa, tagwanira kuba mulimba.
8
Eriyo abalowooza nti okuwanga enguzi kubasobozesa byonna, era ne beesigula nti enguzi terina ky'eremererwa.
9
Anoonya okwagalibwa, asonyiwa abasobya; naye ajjukiza ebisobyo, ayawukanya ab'omukwano.
10
Omuntu ow'amagezi anenyezebwa lumu n'ayiga, okusinga omusiru, akubwa emiggo ekikumi.
11
Omuntu omubi, buli kiseera ajeema. Kyebaliva bamutumira omubaka omukambwe, amukwate.
12
Waakiri osisinkana eddubu eggyiddwako abaana baayo, n'otosisinkana musiru ng'akola eby'obusiru bwe.
13
Bw'okolera ekibi omuntu akukoledde ekirungi, akabi tekaliva mu nnyumba yo.
14
Okutandikawo empaka, kuli nga kuggulira mazzi. Kale towakananga, waleme kubaawo kuyomba.
15
Eyejjeereza omuntu eyazza omusango, n'oyo agusala ne gusinga ataguzzanga, Mukama bombi abeenyinyala.
16
Ensimbi omusiru z'awaayo asasulire eby'okuyiga, zimufa bwereere: kuba tayinza kubitegeera.
17
Ab'omukwano baagalana ennaku zonna, n'abooluganda babaawo kuyambagana mu bizibu.
18
Buba busiru okwewaayo okweyimirira omulala, ng'omuteerawo akabega.
19
Ayagala ennyombo, ayoya mitawaana; n'oyo eyeekulumbaza, anoonya kuzikirira.
20
Alina endowooza embi, talifuna birungi; n'ow'enjogerambi, yeesombera akabi.
21
Azaala omusiru, yeereetera ennaku; era kitaawe w'omusiru, tabeera na ssanyu.
22
Okuba omusanyufu, nakwo ddagala eriwonya; naye okuba omunakuwavu, kukozza omubiri.
23
Omulamuzi omubi, akkiriza enguzi mu nkukutu, n'atasala musango mu mazima.
24
Omuntu omutegeevu, ategeka n'akola eby'amagezi; naye omusiru, amala gatandika kino na kiri.
25
Omwana omusiru, anakuwaza kitaawe, era aleetera nnyina obulumi.
26
Si kituufu okutanza atazzizza musango, era kibi okubonereza akoze ekirungi.
27
Ow'amagezi yeefuga mu by'ayogera; era omukkakkamu, mutegeevu.
28
Omusirusiru asirise, bandimuyita omugezi; bw'abunira n'atavaamu kigambo, yandibalwa okuba omutegeevu.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31