bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 27
Proverbs 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
1
Teweenyumirizanga lwa binaabaawo nkya, kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
2
Lekanga abalaba, wadde bagwira, bakutendereze, naye sso si ggwe kwetendereza.
3
Ejjinja n'omusenyu weewaawo bizitowa, naye emitawaana egireetebwa omusiru, gibisinga byombi obuzito.
4
Obusungu n'ekiruyi bikambwe, era bizikiriza ebintu; naye tebyenkana buggya.
5
Akubuulira ensobi yo n'atagikukisa akira agikukweka ng'ayagala okukulaga nti akwagala.
6
Weesige mukwano gwo akunenya, naye sso si mulabe wo akuwaana.
7
Wadde ebisenge by'omubisi gw'enjuki, omukkufu tabyetaaga; naye omuyala, n'ebyokulya ebikaayirira, abiyita biwoomerevu.
8
Omuntu abuze n'ava awaka waabwe ali ng'ennyonyi ebuze n'eva mu kisu kyayo.
9
Okubuulirirwa ow'omukwano akulumirwa, kusanyusa ng'omuzigo, n'ebyakawoowo ebyesiigibwa.
10
Toyabuliranga mukwano gwo, wadde mukwano gwa kitaawo. Togendanga wa muganda wo ng'ofunye ekizibu. Muliraanwa akuli okumpi, akira owooluganda ali ewala.
11
Mwana wange, beeranga wa magezi, onsanyusenga; olwo buli ananvumanga, ndyokenga nfune kye mmuddamu.
12
Omuntu omwegendereza, alaba akabi nga kajja n'akeewala; naye oyo atalowooza, akatambaala, ne yejjusa luvannyuma.
13
Kituufu otwale ekyambalo ky'oyo akiwaayo ng'omusingo, okweyimirira gw'atamanyi.
14
Azuukuka ku makya ennyo n'aleekaana okulamusa munne, abalwa ng'amukolimira.
15
Omukazi omuyombi, ali nga nkuba nnyingi, etonnya nga tekya,
16
kizibu nnyo okumusirisa; kiba nga kuziyiza mpewo ekunta, oba okunyweza ekintu mu mukono, nga kiseerera amafuta.
17
Kale ng'ekyuma bwe kiwagala kinnaakyo, n'omuntu bw'atyo bw'ayigiriza muntu munne.
18
Alabirira omuti ogw'ebibala, anaalyanga ku bibala byagwo; n'oyo aweereza mukama we, anassibwangamu ekitiibwa.
19
Ng'omuntu bwe yeeraba ng'atunudde mu mazzi, bwe gutyo n'omutima gwe bwe gumwoleka bw'ali.
20
Era ng'emagombe bwe watajjula baafa, n'amaaso g'abantu, bwe gatakkuta kulaba.
21
Nga ffeeza ne zaabu bwe bitukuzibwa akabiga k'omuliro, n'omuntu gwe batendereza, bw'atyo bw'amala okugezebwa.
22
Omusiru ne bw'omukuba okujula okumutta obussi, era obusiru bwe tebumuvaako.
23
Beera munyiikivu okulabirira embuzi zo, n'endiga zo n'ente zo,
24
kubanga obugagga tebubeerera, n'engule y'obwakabaka, tesikirwa mirembe gyonna.
25
Omuddo bwe gukala n'omulala ne gumera, n'ogw'oku nsozi ne gukuŋŋaanyizibwa,
26
lw'olyekolera ebyokwambala, mu byoya by'endiga zo; n'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja.
27
Onoofunanga amata agakumala ggwe n'ab'omu maka go, ne ganywebwako n'abakozi bo.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31