bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 4
Proverbs 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
1
Abaana, muwulirize kitammwe by'abayigiriza. Mubisseeko omwoyo, mulyoke mube n'okutegeera,
2
kubanga bye mbawa birungi. Temuvanga ku bye mbayigiriza.
3
Bwe nali nkyali mulenzi muto, nali muganzi ewa kitange ne mmange.
4
Era kitange yanjigirizanga n'aŋŋamba nti: “Jjukiranga bye ŋŋamba, tobyerabiranga. Kolanga bye nkulagira, oliwangaala.
5
Funa amagezi n'okutegeera. Teweerabiranga wadde okulagajjalira bye ŋŋamba.
6
Tovanga ku magezi, ganaakukuumanga; ogaagalanga, ganaakubeezangawo mirembe.
7
Amagezi, kye kintu ekisinga obukulu. Kale funanga amagezi; era mu byobugagga bwo byonna, beeranga n'okutegeera.
8
Yagalanga amagezi, galikufuula mukulu. Gawambaatirenga, galikuweesa ekitiibwa.
9
Galikutikkira engule ey'ebimuli, engule erikuweesa ekitiibwa.”
10
Wulira mwana wange era okkirize bye ŋŋamba, lw'oliwangaala emyaka emingi.
11
Nkuyigirizza eby'amagezi, nkulaze ekkubo ettuufu.
12
Tewali kineekiikanga mu kkubo mw'otambulira, era teweekoonenga ng'odduka.
13
By'oyize tobirekanga, bikuumenga. Bikwatenga, kubanga bwe bulamu bwo.
14
Ekkubo ly'ababi tolikwatanga, era toyitanga na boonoonyi.
15
Ekkubo lyabwe lyesambenga. Lyewalenga, okwatenga liryo ogende,
16
kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola bya ffujjo. Otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kibi.
17
Bawoomerwa kukola bibi na kwonoona, nga bwe bawoomerwa emmere n'omwenge.
18
Naye ekkubo abalungi mwe bayita, lyaka ng'enjuba etandiikiriza okuvaayo, egenda nga yeeyongera okwaka okutuuka mu ttuntu.
19
Ekkubo ly'ababi liri nga kazigizigi wa nzikiza. Beesittala ne bagwa, nga tebamanyi kye beesittaaddeko.
20
Mwana wange, ssaayo omwoyo ku bigambo byange, wuliriza bulungi bye ŋŋamba.
21
Toyawukananga nabyo, era bikuumenga mu mutima gwo,
22
kubanga ababizuula, bibawa obulamu, era biwonya omubiri gwabwe gwonna endwadde.
23
Weegenderezenga endowooza yo, kubanga obulamu bwo, bufugibwa ebyo by'olowooza.
24
Toyogeranga bya bulimba, weewalenga ebiwubisa abalala.
25
Tunulanga n'obwesige mu maaso gy'olaga, tomagamaganga.
26
Bulijjo malanga kweteesa, nga tonnabaako ky'okola, by'okola byonna lwe binaalamanga.
27
Weewale ebibi, otambulire mu kkubo ettuufu. Towunjawunjanga kulivaamu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31