bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 31
Proverbs 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
1
Bino bye bigambo bya Lamweli Kabaka wa Massa, nnyina bye yamuyigiriza:
2
ayi mwana wange gwe nneezaalira, omwana wange ow'obulenzi, omwana gwe nawongera Mukama!
3
Amaanyi go, togamaliranga ku bakazi; bazikirizza ne bakabaka!
4
Lamweli, wulira: tekigwanira bakabaka okunywanga omwenge, n'okululunkanira buli ekitamiiza.
5
Sikulwa nga bwe bagunywa, beerabira amateeka; era abanyigirizibwa, ne batabasalira mazima.
6
Omwenge nno guwenga ayagala okuzikirira, n'omuntu oyo alina ennyo obuyinike.
7
Oyo anywe, yeerabire obwavu bwe, era alemenga okujjukira ennaku ye.
8
Yogereranga abatalina bwogerero, olwanirirenga abataliiko mwasirizi.
9
Yogeranga, olwanirire obwenkanya, otaasenga eby'abaavu n'eby'abali mu bwetaavu.
10
Ani ayinza okuzuula omukazi ow'empisa ennungi? Omukazi oyo asinga wala amayinja ag'omuwendo ennyo.
11
Bba amwesiga, era amufunamu omugaso.
12
Omukazi oyo, mu bulamu bwe bwonna, ayisa bulungi bba, era tamutuusaako kabi.
13
Anoonya ebyoya by'endiga era ne ppamba, n'aluka engoye ng'asanyuka.
14
Ali ng'amaato g'abasuubuzi; emmere agiggya n'ebunaayira.
15
Azuukuka ku makya nga tebunnalaba, n'ategekera ab'omu maka ge ebyokulya, era n'alaga abakozi be abawala eby'okukola.
16
Alaba ekibanja n'akigula, n'akozesa ensimbi ze n'akisimbamu emizabbibu.
17
Anyiikira okukola n'amaanyi, ng'akozesa emikono gye.
18
Alaba omugaso gw'ebyo by'akola, n'alyoka akola n'ekiro ku ttaala.
19
Yeerangira ewuzi ze, yennyini n'aluka engoye ze.
20
Wa kisa mu kugabira abaavu, era ayamba abali mu bwetaavu.
21
Obudde ne bwe bunnyogoga, tabutya, kubanga ab'omu maka ge, abambaza ne babuguma.
22
Yeekolera engoye ennungi, ayambala ziri ennyirivu eza ppamba, awamu n'eza siliki.
23
Bba, amanyiddwa bulungi, bw'atuula ne banne abataka awaba embuga ku miryango.
24
Omukazi oyo atunga ebyambalo n'atunda. Akola n'enkoba, n'aziguza omusuubuzi azeetaaga.
25
Wa maanyi era waakitiibwa, atatya ebigenda okujja.
26
Ayogera bya magezi, era abuulirira na kisa.
27
Alabirira ab'omu maka ge, era tali ku bya bugayaavu.
28
Abaana be bagamba nti nnyaabwe wa mukisa. Ne bba amutendereza nti:
29
“Abakyala bangi abeegendereza, naye ggwe obasinga bonna!”
30
Okuba n'amaaso agasikiriza, kulimbalimba, n'obubalagavu tebugasa; naye omukazi assaamu Mukama ekitiibwa, ye agwanira okutenderezebwa.
31
Oyo mumuwe ku by'akoleredde, era kituufu atenderezebwe, bonna we bakuŋŋaanidde.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31