bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 3
Proverbs 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza, naye okwatanga bye nkulagira okukola,
2
lw'oliwangaala emyaka emingi, n'oba mu bulamu obw'emirembe.
3
Tovanga ku mazima ne ku bwesigwa. Bisibenga mu bulago bwo, biwandiikenga ku mutima gwo.
4
Olwo olisiimibwa era n'oyagalibwa Katonda n'abantu.
5
Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna, teweesiganga kutegeera kwo.
6
Gonderanga Mukama mu byonna by'okola, anaakulaganga ky'osaanye okukola.
7
Teweefuulanga mugezi. Otyanga Mukama, n'ova mu bibi.
8
Ekyo kye kinaabanga eddagala eriwonya ebiwundu byo, era erikkakkanya obulumi bwo.
9
Ossangamu Mukama ekitiibwa ng'omutonera ku bibyo, owangayo ebisinga obulungi ku by'okungula byonna;
10
amawanika go lwe ganajjulanga by'obazizza, n'amasogolero go ne gajjula omwenge omusu.
11
Mwana wange, Mukama by'akubuulirira tobinyoomanga, era teweetamwanga ng'akunenyezza,
12
kubanga Mukama b'ayagala abakangavvula, ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala.
13
Wa mukisa oyo aba n'amagezi, wa mukisa afuna okutegeera,
14
kubanga bya muwendo okusinga ffeeza, bya magoba okusinga zaabu.
15
Amagezi ga muwendo okusinga amayinja ag'omuwendo. Tewali kye weegomba, ky'oyinza kugeraageranya ku go.
16
Amagezi gakuwangaaza, ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa.
17
Amagezi gakuwa obulamu obweyagaza, n'obubeeramu ng'oli mirembe.
18
Abafuna amagezi, bafuna obulamu; abaganywereramu beesiimye.
19
Mukama ensi eno yagitondesa magezi, n'eggulu yaliwangisa kutegeera.
20
Amagezi ge, ge gaakulukusa emigga, ne gatonnyesa n'enkuba ku nsi.
21
Mwana wange, weekwatenga ku magezi amatuufu n'okugoba ensonga; tobiganyanga kukuvaako.
22
Birikuwa obulamu, ne binyiriza embeera yo.
23
Olwo olitambula bulungi mu lugendo lwo, ng'ekigere kyo tewali we kyekoona.
24
Bw'onoogalamiranga okwebaka, tootyenga. Oneebakanga otulo ne tukuwoomera.
25
Teweeraliikirirenga kugwibwako bubenje, wadde okuzikirira okujjira ababi,
26
kubanga Mukama ye anaakukuumanga n'atakuleka kugwa mu kitimba.
27
Buli lw'oba osobola, tommanga buyambi bantu babusaanidde.
28
Togambanga muliraanwa wo nti: “Kati genda, okomewo enkya,” ng'osobola okumuyamba olwaleero.
29
Tokolanga ntegeka kukola munno kabi ng'ali naawe mirembe.
30
Toyombanga na muntu awatali nsonga, awatali kabi k'akukoze.
31
Tokwatirwanga buggya oyo anyigiriza abalala, era tosalangawo kukola nga ye by'akola,
32
kubanga Mukama akyawa abakola ebibi, naye abalongoofu b'amanyisa ekyama kye.
33
Mukama akolimira amaka g'ababi, naye ag'abalungi agawa omukisa.
34
Abeemanyi bokka abanyooma, naye abeetoowaze abakwatirwa ekisa.
35
Abagezi balifuna ekitiibwa, naye abasiru balyeyongera kuswazibwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31