bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 2
Proverbs 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
1
Mwana wange, singa ossa omwoyo ku bye nkuyigiriza, n'oteerabiranga bye nkulagira okukola;
2
n'owuliranga ebigambo eby'amagezi, era n'ofubanga okubitegeera;
3
n'osabanga ofune amagezi, ne weegayiriranga oweebwe okutegeera;
4
amagezi n'oganoonyanga ng'anoonya ffeeza, era ng'awenja ebyobugagga ebyakwekebwa,
5
olwo olitegeera okutya Mukama, n'ovumbula okumanya Katonda,
6
kubanga Mukama ye agaba amagezi, ye atuwa okumanya n'okutegeera.
7
Amagezi amatuufu agaterekera abalongoofu, n'akuuma abeewala okwonoona,
8
alyoke akuume obwenkanya, alabirire abo abakola by'ayagala.
9
Bw'ossa omwoyo ku bye nkutegeeza, olimanya ebituufu n'eby'amazima, n'eby'obwenkanya. Olimanya by'osaanidde okukola.
10
Olifuuka mugezi, okumanya ne kukusanyusa.
11
Okuteesa obulungi kunaakulabiriranga, n'okutegeera kukukuumenga,
12
kukuwonyenga okukola ebitasaana, era kukuwonyenga abo aboogera ebitabula abantu.
13
Kubakuwonyenga abo abavudde ku kukolanga ebituufu, ne badda mu kukolanga ebibi,
14
abasanyuka okwonoona, era abaaniriza ebikolwa by'abantu aboonoonefu.
15
Bo bantu abakyukakyuka, era abatayinza kwesigika.
16
Olisobola okuwona omukazi ow'empisa embi, agezaako okukusendasenda n'akalimi akawoomerevu.
17
Omukazi ow'engeri eyo, aleka bba gwe yafumbirwa mu buvubuka, ne yeerabira Katonda bye yalagira.
18
Kale okugenda ku nnyumba ye, kuba kugenda magombe. Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala mu bafu.
19
Abamukyalira tebadda, tebakomawo mu kkubo ery'obulamu.
20
Kale goberera ekyokulabirako eky'abantu abalungi, okwatenga empisa z'abakola ebituufu,
21
kubanga ab'omwoyo omulongoofu be banakkaliranga mu nsi; abataliiko kamogo, be baligisigalamu.
22
Naye Katonda alimalawo ababi mu nsi, n'aboonoonyi balisimbulibwamu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31