bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 11
Proverbs 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
1
Mukama akyawa abakozesa ebipimo ebikyamu; naye abakozesa ebipimo ebituufu, b'asiima.
2
Kasita weepanka, tolema kuswala; naye omwetoowaze, ye w'amagezi.
3
Okuba omwesimbu, kuluŋŋamya omuntu; naye obukumpanya, buzikiriza ab'enkwe.
4
Mukama Katonda bw'asunguwala, obugagga tebukuyamba; naye okuba omwesimbu, kutaasa obulamu bwo.
5
Obwesimbu bw'omuntu omulungi, buluŋŋamya obulamu bwe; naye omuntu omubi, yeezikiriza yekka.
6
Abataliiko kamogo, obwesimbu bwabwe bulibawonya; naye ab'enkwe, balikwatirwa mu bye beegomba.
7
Omuntu omubi bw'afa, bye yali asuubira bizikirira. Ateesiga Mukama, taliiko ky'aganyulwa.
8
Omuntu omulungi, awonyezebwa ennaku ye, n'eddira omubi.
9
Atatya Katonda ayogera ebizikiriza abalala; naye abantu abalungi, okumanya kubawonya.
10
Abantu abeesigwa bwe bafuna ebirungi, ekibuga kisanyuka. Era omubi bw'afa, wabaawo okuleekaana olw'essanyu.
11
Abantu abalungi, baleetera ekibuga omukisa; naye ebigambo by'ababi, bikireetera okuzikirira.
12
Kya busiru okunyooma abalala; naye omuntu omugezi, asirika.
13
Omubungeesa w'eŋŋambo, abotola ebyama; naye omwesigwa, asirikira ekigambo.
14
Abantu bazikirira awatali wa magezi abaluŋŋamya; naye awali abawi b'amagezi abangi, we waba emirembe.
15
Eyeeyimirira gw'atamanyi, talirema kwejjusa, akyawa okweyingiza mu by'abalala, ye aliba emirembe.
16
Omukazi ow'ekisa, assibwamu ekitiibwa; n'abasajja abakakaalukanyi, bafuna obugagga.
17
Mu kubeera n'ekisa, oganyulwa; naye omukambwe, yeerumya yekka.
18
Akola ebibi yeerimba nti alibiggyamu omugaso. Akola ebirungi, ye aweebwa empeera yennyini emugasa.
19
Anywerera mu mpisa ennungi, aliba mulamu; naye ow'empisa embi, yetta yekka.
20
Mukama akyawa ab'emitima egitali mirongoofu; naye asanyukira abo, abakola ebituufu.
21
Awatali kubuusabuusa, ababi balibonerezebwa; naye abantu abalungi, tebalituukibwako kabi.
22
Obulungi bw'omukazi atalina mpisa, buli ng'empeta ya zaabu, eri mu nnyindo y'embizzi.
23
Abantu abalungi beegomba birungi byereere; naye ababi kye basuubirayo, kusunguwalirwa Mukama.
24
Waliwo abasaasaanya ensimbi, ne beeyongera kugaggawala; era waliwo abazikodowalira okusinga bwe kisaanidde, naye ne beeyongera kwavuwala.
25
Omugabi aligaggawala; n'oyo awa abalala obuyambi, talibulako bamuyamba.
26
Amma banne emmere ye akolimirwa abantu; naye oyo aguzaako abalala, bamusabira omukisa.
27
Bw'oba nga ky'ogoba kirungi, olisiimibwa abalala; naye ky'ogoba bwe kiba nga kibi, era kibi ky'olifuna.
28
Eyeesiga obugagga, alikunkumuka ng'amakoola g'omuti oguwaatula; naye omuntu omulungi, alinyirira ng'omuti ogutojjedde.
29
Atawaanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga; era omusiru, anaafugibwanga oyo ow'amagezi.
30
Omuntu omulungi, aleetera banne obulamu; n'oyo alina amagezi, asika emitima gy'abantu.
31
Oba nga abantu abalungi mu nsi baweebwa empeera ebasaanira, kale omubi n'omwonoonyi balirema batya okufuna ekibasaanira!
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31