bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Proverbs 16
Proverbs 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
1
Omuntu ateekateeka by'anaakola; naye Mukama ye asalawo eky'enkomerero.
2
Wandirowooza nti buli ky'okola kituufu; naye Mukama ye alamula ekikuli mu mmeeme.
3
Buli ky'okola kikwase Mukama, ebyo by'oba otegese lwe binaatuukiriranga.
4
Buli kintu Mukama yakikola, ng'alina ekigendererwa; era wamma n'ababi, ye abateerawo olunaku kwe balifunira ebizibu.
5
Abeekuza bonna we bafa benkana, Mukama abakyawa. Teri na gye baliddukira kibonerezo ky'alibawa.
6
Okuba n'ekisa n'amazima, bye bitukuza omwonoonyi; era n'okutya Mukama, kwe kuggya omuntu mu bibi.
7
Bw'okola ebisanyusa Mukama, n'abalabe b'oba nabo, abafuula mikwano gyo.
8
Akatono ak'obwenkanya, kakira by'ofuna ebingi nga tokozesa mazima.
9
Weewaawo omuntu ye ateesa by'anaakola, naye Mukama ye abiruŋŋamya okulama.
10
Katonda ye aluŋŋamya Kabaka mu by'ayogera; ye amuyamba mu by'asalawo, n'atawubwa mu nnamula.
11
Mukama ayagala minzaani n'ebipimo ebirala byonna bibe bituufu; era buli buguzi bwonna ayagala bube bwa bwenkanya.
12
Kabaka okukola ebintu ebibi kyennyamiza, kubanga obuyinza bwe obw'okufuga, bumuweebwa kukola birungi.
13
Bakabaka basanyukira abo, abababuulira amazima; era baagala abantu aboogera ebituufu.
14
Kabaka bw'asunguwala, yandituuka n'okutta; naye omugezi ky'ayiiya, kumuwooyawooya mangu.
15
Kabaka bw'asanyuka, olwo n'ababe balama. Oyo leero gw'aganza, atonnyerwa nkuba egimusa.
16
Alina amagezi n'okutegeera, akira wala eyafuna ffeeza wamu ne zaabu.
17
Abantu abalongoofu, beewala okukola ebibi; era oyo anaawonya obulamu bwe yeegendereza empisa ze.
18
Okwekuza kuleeta okuzikirira; n'okwegulumiza kuvaamu okugwa.
19
Okwetoowaza n'oba wamu n'abaavu, okira agabana omunyago awamu n'abeekulumbaza.
20
Omwegendereza mu buli kimu, anaabeeranga bulungi; era eyeesiga Mukama, aba wa mukisa.
21
Omuntu ow'amagezi, gwe bayita omutegeevu; ow'ebigambo ebiseeneekerevu, mwangu okumatiza abantu.
22
Amagezi g'omutegeevu, gamuviiramu obulamu; naye okusomesa omusiru, oteganira bwereere.
23
Ow'amagezi ayogera bya makulu, ne by'ayogera, ne bimatiza abantu.
24
Ebigambo eby'ekisa, nga biba biwoomerevu! Bizzaamu amaanyi, ne bireeta n'obulamu.
25
Oluusi ekkubo omuntu ly'ayita ettuufu, lye limutwala mu kufa.
26
Obwetaavu buleetera omuntu okukola, afune k'alya.
27
Omuntu omubi entagasa, aba n'ettima, ne by'ayogera lubabu kattira.
28
Abantu ababi bagenda bakoleeza ennyombo; n'abageyi baawukanya ab'omukwano ogutinta ennyo.
29
Omukozi w'eby'obukambwe asendasenda munne, n'amukozesa ebya mbyone.
30
Weerinde oyo atta ku liiso, by'ateesa biba bya kyejo; era bw'aluma emimwa omwekeka, abaako akabi k'ategeka.
31
Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa; era efunibwa oyo, akola Katonda by'ayagala.
32
Omugumiikiriza aba muzira okusinga omulwanyi nnamige; era eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga.
33
Abantu bakuba akalulu, balabe ekinaavaamu; naye Mukama ye asalawo gwe kaba kalonzeewo.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31