bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 10
1 Chronicles 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 11 →
1
Abafilisitiini baalumba Yisirayeli, Abayisirayeli ne badduka Abafilisitiini, ne battibwa ku lusozi Gilubowa.
2
Abafilisitiini ne bagoba Sawulo ne batabani be emisinde, ne batta Yonatani, Abinadabu ne Maluki-Suwa batabani ba Sawulo.
3
Olutalo ne lunyiinyittira awaali Sawulo; abalasi b'obusaale ne bamuggukako ne bamussaako obuvune;
4
Sawulo kwe kugamba omwetissi w'ebyokulwanyisa bye nti: “Sowola ekitala kyo okimpiseemu, sikulwa nga bano abatali batayirire bajja ne banjolonga.” Naye omwetissi w'ebyokulwanyisa n'agaana, kubanga yali atidde nnyo. Sawulo kwe kubaka ekitala kye n'akyesuulako.
5
Omwetissi we ow'ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeesuula ku kitala kye n'afa.
6
Sawulo n'afa, ko ne batabani be abasatu, n'ennyumba ye yonna; ne bafa lumu.
7
Abasajja Abayisirayeli bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng'eggye lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka, Abafilisitiini ne bajja ne babisulamu.
8
Enkeera Abafilisitiini bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bagaŋŋalamye ku lusozi Gilubowa.
9
Ne bamwambula ne batwala omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilisitiini balangirire okwetooloola wonna amawulire eri ebifaananyi byabwe ebya balubaale n'abantu.
10
Ebyokulwanyisa bye ne babiteeka mu kiggwa kya balubaale baabwe, ate omutwe gwe ne baguwanika mu kiggwa kya Dagoni.
11
Abantu baabwe ab'omu Yabesi-Gileyaadi bwe baawulira byonna Abafilisitiini bye baali bakoze Sawulo,
12
basajja baabwe abazira ne bajja ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omuvule ogwali mu Yabesi. Ne basiibira ennaku musanvu.
13
Sawulo yafa bw'atyo kubanga teyali mwesigwa; teyeesiga Mukama, era n'Omukama bye yamugamba teyabituukirizanga; yassaako n'okwebuuzanga amagezi ku mizimu;
14
teyeebuuzanga ku Mukama. Omukama naye kyeyava amutta, obwakabaka bwe n'abuwa Dawudi mutabani wa Yesse.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29