bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 22
1 Chronicles 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 23 →
1
Dawudi n'agamba nti: “Kino Kiggwa kya Mukama Katonda, guno mwaliiro gwa kitambiro ekyokye olwa Yisirayeli.”
2
Dawudi yalagira bonna abataali bannansi ba mu Yisirayeli bakungibwe, n'alonda mu abo ab'okwasa amayinja bagabajje, Ekiggwa kya Katonda kizimbibwe.
3
Dawudi era n'ategeka ekyuma kingi okukola emisumaali gy'enzigi z'emiryango n'ebyokuyungisa; ekikomo kyali tekiteeberezeka buzito.
4
N'endoddo z'entolookyo zaali teziteeberekeka bungi, kubanga Abasidoni n'ab'e Tiiro baali baleetedde Dawudi endoddo nnyingi.
5
Kubanga Dawudi yali agambye nti: “Solomoni mutabani wange mwana muto, tannakakata; sso ng'ennyumba egenda okuzimbirwa Omukama esaanye okuba nga ya ttendo, ya linnya n'ekitiibwa mu mawanga gonna. Awo nno nzija kutegeka eby'okugikola.” Bwe kityo, nga tannafa, Dawudi n'ategeka byonna ebyetaagiibwa.
6
Awo n'ayita mutabani we Solomoni, n'amulagira azimbire Omukama Katonda wa Yisirayeli ennyumba.
7
Dawudi n'agamba Solomoni nti: “Mwana wange, nayagala dda okuzimbira erinnya ly'Omukama Katonda wange ennyumba,
8
naye ekigambo ky'Omukama kino ne kintuukako nti: ‘Wayiwa omusaayi mungi n'entalo walwana nnyingi; tojja kusobola kunzimbira nnyumba nga wayiwa omusaayi ku nsi mu maaso gange.
9
Naye omwana alikuzaalirwa, aliba musajja wa mirembe; ndimuwa obuweerero ku balabe be ku njuyi zonna; aliyitibwa Solomoni. Mu Yisirayeli ndimuwaamu emirembe n'obutebenkevu ebbanga lye lyonna.
10
Oyo y'alizimbira erinnya lyange ennyumba; aliba mwana wange, nange ndiba kitaawe. Ndinyweza nnamulondo y'obwakabaka bwe ku Yisirayeli emirembe gyonna.’
11
Kale nno, mwana wange, Omukama abeere naawe; akuwe ebintu bikulamire osobole okuzimbira Omukama Katonda wo ennyumba, nga ye yennyini bwe yakwogerako.
12
Kyokka Omukama akuwe obwegendereza n'okutegeera bw'aliba akutadde ku kufuga Yisirayeli, osobole okukuuma etteeka ly'Omukama Katonda wo.
13
Bw'otyo ebintu birikulamira, kasita olikuuma amateeka n'ebiragiro Omukama bye yawa Musa ku Yisirayeli. Guma, nywera, totya, totekemuka.
14
Mpise mu bugubi okutegeka ebyetaagibwa ku Kiggwa ky'Omukama: talenta za zaabu akasiriivu kamu, n'eza ffeeza akakadde kalamba; kyo ekikomo n'ekyuma tekuli kipimo olw'obungi; ko n'emiti n'amayinja. Naawe okwo kw'onooyongereza.
15
Olina abafundi nkumu abatabalika bungi: abaasa n'abakomozi b'amayinja, ababazzi n'abakugu mu buli kika kya mulimu
16
ogw'okukola ne zaabu, ffeeza, ekikomo, n'ekyuma. Situka, otandike omulimu; Omukama abeere naawe.”
17
Dawudi n'alagira n'abaami bonna mu Yisirayeli bayambe Solomoni mutabani we.
18
N'abagamba nti: “Omukama Katonda wammwe tali nammwe? Tabawadde obuweerero ku njuyi zonna bannansi b'ensi ng'abawaayo mu mikono gyange, ensi n'egondera Omukama n'abantu be?
19
Emitima n'emyoyo gyammwe nno mugisse ku kunoonya Omukama Katonda wammwe. Musitukireemu muzimbe ekiggwa ky'Omukama Katonda wammwe, musobole okuyingiza Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama na byonna ebikozesebwa ebyawongerwa Katonda mu kiggwa ekinaazimbirwa erinnya ly'Omukama.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29