bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 23
1 Chronicles 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 24 →
1
Dawudi bwe yakaddiwa, ng'agundidde mu myaka, n'afuula mutabani we Solomoni kabaka wa Yisirayeli.
2
Yakuŋŋaanya abakungu bonna mu Yisirayeli ne bakabona n'Abaleevi.
3
Abaleevi abaali bawezezza emyaka amakumi asatu n'okusingawo ne babalibwa kinnoomu; baawera abasajja emitwalo esatu mu kanaana.
4
Dawudi n'agamba nti: “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya ba kuluŋŋamyanga omulimu ogw'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama, ate kakaaga ba kubeera baami na balamuzi;
5
enkumi nnya ba kubeera baggazi, n'abalala enkumi nnya ba kuyimbiranga Mukama ku bivuga bye nakola okuyimbirako.”
6
Dawudi n'abagabanya mu bitundu by'abatabani ba Leevi, kwe kugamba nti: Gerusoni, Kewati ne Merari.
7
Batabani ba Gerusoni: Laadani ne Semeyi.
8
Batabani ba Laadani: Yekiyeli omukulu waabwe, Zetamu ne Yoweli; be basatu.
9
Batabani ba Simeyi: Selomiti, Kaziyeli ne Arani; be basatu; abo be bakulu b'ennyumba za Laadani eza bajjaajjaabe.
10
Batabani ba Simeyi: Yakati, Zina, Yewusi ne Beriya; abo be batabani ba Simeyi, bali bana.
11
Yakati ye yasooka, Ziza wa kubiri; bo Yewusi ne Beriya tebaalina batabani bangi, kye baava batwalibwa ng'ennyumba emu.
12
Batabani ba Kewati: Amuramu, Yizuwari, Keburoni ne Wuzziyeli; be bana.
13
Batabani ba Amuramu: Aroni ne Musa. Aroni, ye n'ezzadde lye, baayawulibwako emirembe gyonna baweerezenga ebitukuvu ennyo, batambirenga ebitambiro mu maaso g'Omukama, bamuweerezenga, era bawenga n'omukisa mu linnya lye ennaku zonna.
14
Bo batabani ba Musa omusajja wa Katonda baabalirwa mu kika kya Leevi.
15
Batabani ba Musa: Gerusomu ne Eliyezeri.
16
Batabani ba Gerusomu: Subayeli, y'asooka.
17
Batabani ba Eliyezeri: Rekabiya, y'asooka; Eliyezeri teyalina baana ba bulenzi balala, naye bo batabani ba Rekabiya baali bangi ekiyitiridde.
18
Batabani ba Yizuwari: Selomiti, y'asooka.
19
Batabani ba Keburoni: Yeriya y'asooka, Amariya wa kubiri, Yakaziyeli wa kusatu, Yekamewamu wa kuna.
20
Batabani ba Wuzziyeli: Mika y'asooka, Yissiya wa kubiri.
21
Batabani ba Merari: Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli: Eleyazari ne Kisi;
22
kyokka Eleyazari yafa nga talina baana ba bulenzi wabula ba buwala; Batabani ba Kisi, bannyinaabwe, ne babawasa.
23
Batabani ba Musi: Makuli, Ederi ne Yeremoti; be basatu.
24
Abo be bazzukulu ba Leevi mu nnyumba za bajjajjaabwe, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abaawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, buli omu okuva ku w'emyaka amakumi abiri n'okwambuka abaalina emirimu gy'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama.
25
Dawudi yali agambye nti: “Omukama awadde abantu be Yisirayeli ekiwummulo, naye yennyini azze asule mu Yeruzaalemu emirembe gyonna.
26
Awo nno Abaleevi tebakyetaaga kusitula Kisulo oba ebintu ebirala byonna ebidda ku mulimu gwakyo.
27
Okusinziira ku biragiro bya Dawudi ebyasembera ddala, bazzukulu ba Leevi bonna okuva ku w'emyaka abiri n'okusingawo, baabalibwa.
28
Omulimu gw'Abaleevi gwa kuyamba ku batabani ba Aroni mu kuweereza mu Kiggwa ky'Omukama: okulabirira empya, ebigango, okuyonja buli kintu ekitukuvu, n'okukola emirimu emirala gyonna mu Kiggwa kya Katonda.
29
Ba kukolanga ku Migaati gy'Okwolesebwa, ku buwunga obw'ekitone eky'obuwunga, ku bugaati obw'oluwewere obutazimbulukuse, ku kufumba n'okugoya, ne ku bipimo byonna eby'obungi n'obunene.
30
Ku makya ba kwebazanga era bagulumize Omukama, n'akawungeezi bakole kye kimu.
31
Ate buli ku kuweereza Omukama ebitambiro ebyokye ku Sabbaato, ku mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, ne ku mbaga enkulu eziragiddwa, ba kuweerezanga awatali kuyosaamu nga bagoberera omuwendo gwabwe ng'etteeka bwe ligamba.
32
Bwe babanga baweereza mu Kiggwa ky'Omukama, balabiriranga Weema ey'Ensisinkano, Ekifo Ekitukuvu ne baganda baabwe batabani ba Aroni.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29