bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 29
1 Chronicles 29
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
1
Awo Dawudi n'ayogera eri ekibiina kyonna nti: “Mutabani wange Solomoni Katonda gwe yalonda akyali muto, tannakakata; omulimu gwe munene, anti olubiri luno terutegekerwa muntu naye Mukama Katonda.
2
Neeyamba byonna bye nnina ne ntegeka eby'okuzimbisa Ekiggwa kya Katonda wange: zaabu ow'okugendera ku bya zaabu, ffeeza ow'okugenda ku bya ffeeza, ekikomo eky'okukola eby'ekikomo, ekyuma eky'okukola eby'ekyuma, emiti ku lw'ebikolwa mu miti, amayinja oniki ag'okujjuzaamu, obuggyo obwa langi entobeke, amayinja gonna ag'omuwendo ne maabo.
3
Okwongereza ku bino, olw'okwagala ennyo Ekiggwa kya Katonda wange, mpaddeyo ku bimu ku makula gange aga zaabu ne ffeeza bizimbe ekiggwa kya Katonda, nga tobaze byonna bye ntegese olw'ennyumba y'Ekitukuvu:
4
talenta enkumi ssatu ku zaabu ow'e Ofiri, ne ffeeza omuyooyoote talenta kasanvu, ow'okumaala ku bisenge by'ebizimbe,
5
ku lwa byonna ebyetaagisa zaabu ne ku lwa byonna ebyetaagisa ffeeza, eby'omulimu gwonna baffundi gwe banaakola. Ani yeewaddeyo kyeyagalire okwewongera Omukama olwa leero?”
6
Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abakulu b'ebika bya Yisirayeli, abagabe b'enkumi, abagabe b'ebikumi, n'abakungu abassibwa ku mirimu gya kabaka ne bawaayo kyeyagalire.
7
Ku mulimu gw'Ekiggwa kya Katonda baawaayo zaabu wa talenta nkumi ttaano, n'omutwalo gwa dariki gumu ogwa zaabu, ffeeza wa talenta omutwalo gumu, ekikomo kya talenta omutwalo gumu mu kanaana, n'ekyuma kya talenta emitwalo kkumi.
8
Buli yenna eyalina amayinja ag'omuwendo yagawaayo mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama, ne gakwasibwa Yakiyeli Omugerusoni.
9
Abantu ne basanyuka olw'okulaba abakulembeze baabwe nga bwe bawaayo kyeyagalire, kubanga ebyo baali babiweerezza Omukama kyeyagalire, n'omutima ogwemalizza; ne kabaka Dawudi yennyini n'asanyuka bya kitalo.
10
Dawudi n'agulumiza Omukama mu maaso g'abantu bonna, n'agamba nti: “Ogulumizibwe, Ayi Katonda wa kitaffe Yisirayeli, emirembe n'emirembe.
11
Ayi Mukama, obukulu bubwo n'obuyinza, ekitiibwa, ettendo n'okutangalijja, anti byonna mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, ayi Mukama, byonna obisooloobyeko ng'omutwe.
12
Obugagga n'ekitiibwa bisibuka mu ggwe, ggwe ofuga byonna. Mu mikono gyo mwe muli amaanyi n'obuzira, gye giwa bonna obukulu n'amaanyi.
13
Kale nno, ayi Katonda waffe, tukwebaza, tutenda erinnya lyo ery'ekitiibwa.
14
“Nze ani, n'abantu bange be baani, okusobola okukuwa kyeyagalire bwe tuti? Byonna biva gy'oli, tukuwadde ebivudde mu mikono gyo.
15
Mu maaso go tuli bagwira, basenze nga bajjajjaffe bonna bwe baali; ennaku zaffe ku nsi ziringa kisiikirize, omutali ssuubi.
16
Ayi Mukama Katonda wange, ebintu bino byonna akafukunya bye tutegese okuzimbira erinnya lyo ettukuvu ekiggwa, byonna biva mu mikono gyo era byonna bibyo.
17
Ayi Katonda wange, mmanyi nti ggwe owenja emitima, era osanyukira obutuufu; nange nno nkuweerezza bino byonna kyeyagalire n'omutima omuluŋŋamu. Ntunuulidde n'essanyu abantu bo bonna abali wano nga bakuwa kyeyagalire.
18
Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli, okwagala kuno kukuume mu mitima gyabwe emirembe gyonna, n'emitima gyabwe giwe okusigala nga gikugondera.
19
Ne mutabani wange Solomoni muwe omutima ogwemalizza ku kukwatanga ebiragiro byo, empisa n'amateeka go; byonna abikole, azimbe olubiri lwe ntegekedde bino.”
20
Awo Dawudi n'agamba abaali bakuŋŋaanye nti: “Mugulumize Omukama Katonda wammwe.” Bonna ne bagulumiza Omukama Katonda wa bajjajjaabwe; ne bakutama wansi, ne bavunnamira Katonda ne kabaka.
21
Enkeera ne batambirira Omukama ebitambiro, ne bamuweereza ebitambiro ebyokye ku lwa Yisirayeli yenna: ente ennume lukumi, endiga lukumi, obuliga lukumi, wamu n'ebitone eby'okuyiwa, n'ebyonziira mu bungi.
22
Ku olwo ne balya ne banywa mu maaso g'Omukama mu ssanyu eringi. Solomoni mutabani wa Dawudi ne bamufuula kabaka ogwokubiri, ne bamusiiga omuzigo mu maaso g'Omukama abeere omukulembeze ne Zadoki abeere kabona omukulu.
23
Solomoni n'atuula ku nnamulondo y'Omukama abeere kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe. Ebintu byamulamira ne Yisirayeli yenna n'amuwulira.
24
Abagabe bonna, n'abasajja abatabaazi ne batabani ba Dawudi bonna ne bamusuubiza obuwulize.
25
Bw'atyo Omukama n'asukkulumya Solomoni mu maaso ga Yisirayeli yenna, n'amufuula kabaka ow'ekitiibwa ekingi, nga tewali kabaka wa Yisirayeli mu baamukulembera yali afunye kyenkana awo.
26
Dawudi mutabani wa Yesse yali kabaka ku Yisirayeli yenna.
27
Yafuga Yisirayeli okumala emyaka amakumi ana: mu Keburoni yafugiramu emyaka musanvu, ate mu Yeruzaalemu amakumi asatu mu esatu.
28
Yafiira ku bukadde obulungi, ng'agundidde mu myaka, n'obugagga n'ekitiibwa; Solomoni mutabani we n'amusikira ku bwa kabaka.
29
Eby'obulamu bwa Dawudi kabaka, bye yakola mu kusooka okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo ekya Samweli omulabi, ne mu kitabo ky'ebyafaayo ekya Natani omulanzi, ne mu kitabo ky'ebyafaayo ekya Gaadi omulabi,
30
mw'osanga eby'obwakabaka bwe byonna n'obuzira bwe, n'ebyamutuukirira, ne ku Yisirayeli ne ku bwakabaka bw'ensi zonna endala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29