bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 5
1 Chronicles 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 6 →
1
Batabani ba Rubeni omuggulanda wa Yisirayeli - oyo ye yali omuggulanda we. Naye bwe yagwagwawaza ekitanda kya kitaawe, obukulu obw'obuggulanda ne buweebwa bazzukulu ba Yozefu mutabani wa Yisirayeli; awo nno takyabalibwa ng'omuggulanda.
2
Newandibadde Yuda kwo okuba yali muzira okukira baganda be, era nga mu ssiga lye omukulu mw'asibuka, kyokka obukulu bw'obuggulanda bwali bwa Yozefu.
3
Batabani ba Rubeni omuggulanda wa Yisirayeli: Kanoki, Pallu, Kezuroni ne Karumi.
4
Batabani ba Yoweli: Semaaya mutabani we, Gogi mutabani we, Simeyi mutabani we,
5
Mika mutabani we, Reyaaya mutabani we, Baali mutabani we
6
ne Beera mutabani we Tigulati-Piluneseri kabaka wa Assuri gwe yasiba n'amutwala; ye yali owaakasolya mu kika kya Rubeni.
7
Baganda be mu masiga gaabwe, nga babaliddwa mu ndyo zaabwe: omukulu Yeyeli ne Zakariya,
8
ne Bela mutabani wa Azazi, mutabani wa Sema, mutabani wa Yoweli. Baali basenze mu Aroweri okutuuka ku Nebo ne Baali-Mewoni.
9
Ate ku ludda lw'ebuvanjuba baabeeranga mu kitundu okutuuka w'oyingirira mu ddungu, eno gye likwatira ku mugga Furaati; kubanga amagana gaabwe gaali gayaze mu nsi ya Gileyaadi.
10
Mu mirembe gya Sawulo baalwana n'Abawaguri ne babalinnyako n'amaanyi gaabwe, ne babeera mu weema zaabwe mu kitundu ekyo kyonna ekitunuulidde obuvanjuba bwa Gileyaadi.
11
Abantu ba Gaadi baali babaliraanye mu kitundu kyabwe gye baabeeranga, mu Basani n'okutuuka e Saleka.
12
Yoweli ye yali owaakasolya, Safani ye wookubiri, ne Yanayi ne Safati mu Basani.
13
Baganda baabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe: Mikayeli, Mesullamu, Seba, Yorayi, Yakani, Ziya ne Eberi; gwe musanvu.
14
Abo be batabani ba Abikayili mutabani wa Kuri, mutabani wa Yarowa mutabani wa Gileyaadi, mutabani wa Mikayeli, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi.
15
Aki, mutabani wa Abudyeli mutabani wa Guni omukulu w'ennyumba za bajjajjaabwe.
16
Baabeeranga mu Gileyaadi, mu Basani ne mu byalo byayo, ne mu malundiro wonna mu Saroni okutuuka ku nsalo zaabwe.
17
Bano bonna bassibwa ku nkalala z'endyo, mu mirembe gya Yotamu kabaka wa Yuda ne mu mirembe gya Yerobowamu kabaka wa Yisirayeli.
18
Abantu ba Rubeni, abantu ba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga abeesobola, omwali abakwata engabo, ab'ebitala, abalasa obusaale n'abatendeke mu by'entalo.
19
Baatabaala Abaaguri ne Yeturi, Nafisi ne Nodabu.
20
Baayambibwa mu kulwanyisa Abaaguri, Katonda n'awaayo Abawaguri mu mikono gyabwe na bonna abaali babalwanirako, kubanga baalaajanira Katonda nga balwana. Yawulira okwegayirira kwabwe kubanga baamwesiga.
21
Baatwala amagana gaabwe: eŋŋamiya emitwalo etaano, endiga obusiriivu bubiri mu emitwalo etaano, n'endogoyi enkumi bbiri. Bakwata n'abasibe kasiriivu kamu.
22
Bangi battibwa, kubanga olutalo lwali lwa Mukama. Badda mu bitundu bali mwe babadde okutuuka ku kuwaŋŋangusibwa.
23
Ab'omu kitundu eky'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baali bangi; baalya ensi okuva ku Basani okutuuka ku Baali-Kerumoni, kwe kugamba Seniri oba Kerumoni.
24
Bano be baakuliranga ennyumba za bajjajjaabwe: Eferi, Yisi, Eliyeli, Azuryeli, Yeremiya, Odaviya, ne Yakudyeli; abasajja abatabaazi, abazira, ab'amannya, abakulembeze mu ndyo zaabwe.
25
Naye tebaali beesigwa eri Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakola obwamalaaya ne balubaale b'abantu b'ensi eyo, Katonda be yali azikirizza mu maaso gaabwe.
26
Katonda wa Yisirayeli n'asiikuula omwoyo gwa Pulu kabaka wa Assuri, kwe kugamba omwoyo gwa Tigulati-Piluneseri kabaka wa Assuri, n'awaŋŋangusa Rubeni ne Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, n'abatwala e Kala, Kabori, Ara ne ku mugga Gozani, gye bakyali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
27
Batabani ba Leevi: Gerusoni, Kewati ne Merari.
28
Batabani ba Kewati: Amuramu, Yizuwari, Keburoni ne Wuzziyeli.
29
Abaana ba Amuramu: Aroni, Musa ne Miriyamu. Batabani ba Aroni: Nadabu, Abiwu, Eleyazari ne Yitamari.
30
Eleyazari yazaala Finekasi, Finekasi yazaala Abisuwa;
31
Abisuwa yazaala Bukki; Bukki yazaala Wuzzi;
32
Wuzzi yazaala Zerakiya; Zerakiya yazaala Meraayoti;
33
Meraayoti yazaala Amariya; Amariya yazaala Akitubu;
34
Akitubu yazaala Zadoki; Zadoki yazaala Akimaazi;
35
Akimaazi yazaala Azariya; Azariya yazaala Yokanani;
36
Yokanani yazaala Azariya. Oyo ye yaweerezanga nga kabona mu Kiggwa Solomoni kye yazimba mu Yeruzaalemu.
37
Azariya yazaala Amariya; Amariya yazaala Akitubu;
38
Akitubu yazaala Zadoki; Zadoki yazaala Sallumu.
39
Sallumu yazaala Kilukiya; Kilukiya yazaala Azariya;
40
Azariya yazaala Seraaya; Seraaya yazaala Yozadaki;
41
Yozadaki yatwalibwa mu busibe Omukama lwe yawaŋŋangusa Yuda ne Yeruzaalemu nga yeeyamba Nebukadunezzari.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29