bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 26
1 Chronicles 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 27 →
1
Ebisanja by'abaggazi: Mu ssiga lya Kora: Meselemiya mutabani wa Kore omu ku batabani ba Asafu.
2
Batabani ba Meselemiya: Zakariya omuggulanda, Yediyayeli owookubiri, Zebadiya owookusatu, Yatuniyeli owookuna,
3
Elamu owookutaano, Yokanani owoomukaga, Eliyowenayi owoomusanvu.
4
Batabani ba Obedi-Edomu: Semaaya omuggulanda, Yozabadi owookubiri, Yowa owookusatu, Sakari owookuna, Netaneli owookutaano,
5
Ammiyeli owoomukaga, Yissakari owoomusanvu, Pewulletayi owoomunaana. Anti Katonda yali amuwadde omukisa.
6
Semaaya mutabani we yazaala abaana; be baali abakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, baali basajja batabaazi.
7
Batabani ba Semaaya: Otuni, Refayeli, Obedi ne Eluzabadi; baganda ba Eliwu ne Semakiya baali basajja abeesobola.
8
Abo baava mu bazzukulu ba Obedi-Edomu. Bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe baali basajja abeesobola, nga basobola okuweereza. Abasibuka mu Obedi-Edomu baali nkaaga mu babiri.
9
Meselemiya yalina batabani be baganda be, nabo nga balina obusobozi; awamu baali kkumi na munaana.
10
Batabani ba Kosa ow'omu ssiga lya Merari: Simuri omukulembeze – si ye yali omuggulanda, naye kitaawe yamussaayo ng'omukulembeze.
11
Kilukiya owookubiri, Tebaliya owookusatu, ne Zakariya owookuna. Batabani ba Kosa ko baganda be bonna awamu baali kkumi na basatu.
12
Ebisanja by'abaggazi ebyo abakulu abaabikulemberanga be baabigereranga emirimu gyabyo egy'okuweereza mu Kiggwa ky'Omukama nga baganda baabwe nabo bwe baali bakoze.
13
Baakuba akalulu ku lwa buli mulyango, bonna abato n'abakulu, nga bagoberera ennyumba za bajjajjaabwe.
14
Akalulu ku mulyango gw'ebuvanjuba kaagwa ku Selemiya. Akalulu kaakubwa ku mutabani we Zakariya omubuulirizi omwesigwa ennyo, ne kamuwa omulyango gw'emambuka.
15
Akalulu ku mulyango gw'emaserengeta kaagwa ku Obedi-Edomu; ate akalulu ku ggwanika ne kagwa ku batabani be.
16
Akalulu ku mulyango gw'ebugwanjuba ne ku mulyango Salleketi, oguli ku luguudo olwambuka, kaagwa ku Suppimu ne Kosa. Enkuuma y'abakuumi yategekebwa eti:
17
Oludda olw'ebuvanjuba: Abaleevi mukaaga buli lunaku; oludda olw'emambuka: bana buli lunaku; oludda olw'emaserengeta: bana buli lunaku; ku ggwanika: babiri babiri;
18
ku luggya olw'ebugwanjuba: bana ku kkubo, ate babiri ku luggya lwennyini.
19
Eyo ye ngabanyaamu y'abaggazi, bazzukulu ba Kora ne Merari.
20
Abaleevi bannaabwe abalala baali ku nkuluze z'Ekiggwa kya Katonda, n'enkuluze z'ebintu ebiwongeddwa.
21
Abazzukulu ba Laadani ab'omu ssiga lya Gerusoni, abaali abakulu b'ennyumba za bajjajja ba Laadani ow'omu ssiga lya Gerusoni baali: Yekiyeli,
22
batabani ba Yekiyeli, Zetamu ne Yoweli muganda we; be baali ku nkuluze z'Ekiggwa ky'Omukama.
23
Mu bazzukulu ba Amuramu, Yizuwari, Keburoni ne Wuzziyeli:
24
Subayeli ow'omu ssiga lya Gerusomu mutabani wa Musa ye yali omuwanika omukulu ow'enkuluze.
25
Baganda be mu Eliyezeri: Rekabiya mutabani we, Yesaaya mutabani we, Yoramu mutabani we, Zikuri mutabani we, ne Selomiti mutabani we.
26
Selomiti ne baganda be be baakuliranga enkuluze y'ebintu ebitoneddwa Dawudi kabaka bye yawongera Ekiggwa, era n'ebyawongebwa abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abagabe b'enkumi n'ab'ebikumi n'abagabe b'eggye abalala.
27
Ebimu ku munyago ogwavanga mu ntabaalo baali babiwonzeeyo olw'okunyiriza Ekiggwa ky'Omukama.
28
Ne byonna ebyaweebwayo Samweli omulabi, ne Sawulo mutabani wa Kisi, ne Abuneri mutabani wa Neri, ne Yowabu mutabani wa Zeruya, n'ebirala byonna ebyali biwongeddwayo, byalinga mu mikono gya Selomiti ne baganda be.
29
Mu ba Yizuwari: Kenaniya ne batabani be baaweebwa mirimu gy'ebweru w'Ekiggwa, nga baami na balamuzi mu Yisirayeli.
30
Mu bazzukulu ba Keburoni: Kasabiya ne baganda be, awamu abasajja lukumi mu lusanvu abeesobola, be baalabiriranga emirimu gy'Omukama gyonna n'egya kabaka ebugwanjuba wa Yorudani.
31
Mu nnyumba za bajjajjaabwe eza Keburoni Yeriya ye yali omukulu waabwe okusinziira ku bitabo by'endyo za bajjajjaabwe. Mu mwaka ogw'amakumi ana ogw'obwakabaka bwa Dawudi okubuuliriza kwakolebwa mu bitabo, abasajja abatabaazi ne basangibwa mu Yazeri mu Gileyaadi.
32
Yeriya yalina baganda be abasajja abeesobola enkumi bbiri mu lusanvu abaakuliranga ennyumba za bajjajjaabwe; kabaka Dawudi yabawa obuvunaanyizibwa ku Barubbeni, Abagaadi n'ekyokubiri kya Bamanasse, mu ebyo ebidda ku mirimu gya Katonda ne ku nsonga za kabaka.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29