bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 17
1 Chronicles 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 18 →
1
Kabaka bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolookyo, sso nga yo Ssanduuku y'Omukama ebeera mu weema buweema.”
2
Natani n'agamba kabaka nti: “Buli kyonna ekikuli ku mutima, genda okikole, kubanga Omukama ali naawe.”
3
Naye ekiro ekyo kyennyini, ekigambo kya Katonda ne kijjira Natani nti:
4
“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama: Si ggwe onoozimbira nze ennyumba ey'okusulamu.
5
Sisulanga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero; mbadde nva mu weema eno ne nzira mu eri, ne mu kisulo kino ne nzira mu kiri.
6
Mu bifo byonna mwe nayita n'Abayisirayeli bonna, nali njogedde n'omu ku balamuzi ba Yisirayeli be nalagira balunde abantu bange Yisirayeli, ne ŋŋamba nti: “Lwaki temwanzimbira nnyumba ya ntolookyo?” ’
7
Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama w'Amagye: Nakuggya mu malundiro, mu kulunda ndiga, olyoke obeere omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.
8
Yonna gy'oyise mbadde naawe, ne nkusalako abalabe bo bonna mu maaso go. Kati erinnya lyo nzija kulifuula tutumufu okwenkana ery'abo abatutumufu mu nsi.
9
Nzija kukolera abantu bange Yisirayeli ekifo, mbasse omwo, babeerenga omwo, nga tebakyaddayo kutawaanyizibwa. Ababi tebaliddayo kubabonyaabonya nga bwe baakola mu masooka,
10
era nga bwe babadde bakola okuva mu nnaku lwe nassaawo abalamuzi ku bantu bange Yisirayeli. Nzija kufufuggaza abalabe bo bonna. Nkutegeeza nti: Omukama ajja kukuzimbira ennyumba.
11
Ennaku zo bwe ziriba zituuse, n'ogenda obeere ne bajjajjaabo, ndisitusaawo ezzadde lyo eririkusikira, omu ku batabani bo; ndinyweza obwakabaka bwe.
12
Oyo y'alinzimbira ennyumba, era ndinyweza nnamulondo y'obwakabaka bwe emirembe gyonna.
13
Ndiba kitaawe, naye alibeera mwana wange; sigenda kumuggyako kisa kyange nga bwe nakiggya ku oyo eyakukulembera.
14
Nzija kumussa ku nnyumba yange n'obwakabaka bwange ennaku zonna, ne nnamulondo yo eribeera nnywevu emirembe gyonna.’ ”
15
Natani ebigambo n'abibuulira Dawudi nga bino byonna bwe byali bimugambiddwa, nga bino byonna bwe byali bimubikkuliddwa.
16
Dawudi n'ayingira, n'atuula mu maaso g'Omukama, n'agamba nti: “Nze ani, ayi Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, okulaba ng'ontuusizza wano?
17
Ayi Katonda, olabye nga kino ekikyali ekitono, n'oyogera ne ku nnyumba y'omuweereza wo gye bujja. Ontutte nga nze mu lubu asingayo ekitiibwa mu bantu bonna, ayi Mukama Katonda!
18
Dawudi akyalinayo ki ekirala ky'anaakugamba olw'okugulumiza omuweereza wo? Anti omuweereza wo omumanyi.
19
Ayi Mukama, ku lw'omuweereza wo, ng'ogoberera omutima gwo, okoze ekintu kino kyonna ekikulu ate n'omanyisa na byonna ebikulu.
20
Teri akufaanana, ayi Mukama. Teri na Katonda mulala, okuggyako ggwe, mu byonna bye twawulira n'amatu gaffe.
21
Ggwanga liruwa eriri ng'abantu bo Yisirayeli: eggwanga lyokka mu nsi Katonda waalyo lye yagenda anunule babe abantu be, wessizeewo erinnya, okole ebinene, eby'entiisa, ng'ogobawo amawanga mu maaso g'abantu bo be weenunulira mu Misiri?
22
Weeteerawo bw'otyo abantu bo Yisirayeli, babe bantu bo emirembe gyonna; ate naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
23
Awo nno, ayi Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muweereza wo ne ku nnyumba ye kinyweze emirembe gyonna; kola nga bw'osuubizza,
24
Kiryoke kinywere, olwo n'erinnya lyo lirigulumizibwa emirembe gyonna, n'abantu baligamba nti: ‘Omukama w'Amagye ye Katonda wa Yisirayeli, Katonda ku lwa Yisirayeli’ n'ennyumba y'omuweereza wo Dawudi erinywera mu maaso go.
25
Anti, Katonda wange, kino okibikkulidde omuweereza wo nti olimuzimbira ennyumba, omuweereza wo kyavudde azuula amaanyi okwegayirira mu maaso go.
26
Kale nno, ayi Mukama, ggwe oli Katonda. Osuubizza n'omuweereza wo ebirungi bino.
27
Kale nno okkirizza okuwa omukisa ennyumba y'omuweereza wo, bulijjo ebeere mu maaso go, kubanga ggwe, ayi Mukama, ogiwadde omukisa, bw'etyo eriweebwa omukisa emirembe gyonna.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29