bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 7
1 Chronicles 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 8 →
1
Batabani ba Yissakari: Tola. Puwa, Yasubu ne Simuroni; be bana.
2
Batabani ba Tola: Wuzzi, Refaaya, Yeriyeli, Yakumayi, Yibusamu, Semweli, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. Mu biseera bya Dawudi, bazzukulu ba Tola baalina mu nnyumba za bajjajjaabwe abasajja abatabaazi abaali bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3
Mutabani wa Wuzzi yali Yizurakiya. Batabani ba Yizurakiya: Mikayeli, Obadiya, Yoweli, Yissiya; bonna abataano baali baami.
4
Enkalala z'ennyumba za bajjajjaabwe ziraga nti mu bo mwalimu abasajja abatuuse okutabaala emitwalo esatu mu kakaaga, kubanga baalina abakazi bangi n'abaana bangi.
5
Abeŋŋanda zaabwe okuva mu masiga gonna aga Yissakari, abasajja abatabaazi abaali ku nkalala z'endyo zaabwe, baali bawera emitwalo munaana mu kasanvu.
6
Batabani ba Benyamiini: Bela, Bekeri, Yediyayeli; be basatu.
7
Batabani ba Bela: Ezuboni, Wuzzi, Wuzziyeli, Yerimoti ne Yiri; baali bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, bonna wamu bataano. Enkalala zaabwe ziraga abatabaazi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu asatu mu bana.
8
Batabani ba Bekeri: Zemira, Yowasi, Eliyezeri, Eliyowenayi, Omuri, Yeremoti, Abiya, Anatoti ne Alemeti; bano bonna baana ba Bekeri.
9
Enkalala z'endyo zaabwe zawandiika abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe n'abatabaazi emitwalo ebiri mu bibiri.
10
Mutabani wa Yediyayeli: Biluwani. Batabani ba Biluwani: Yewusi, Benyamiini, Ewudi, Kenaana, Zeetani, Tarusisi, Akisakari.
11
Abo bonna abazzukulu ba Yediyayeli baali bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja abatabaazi omutwalo gumu mu kasanvu mu bibiri.
12
Abasuppi n'Abakuppi baasibuka mu Yiri; Abakusi baava mu Akeri.
13
Batabani ba Nafutali: Yakuziyeli, Guni, Yezeri, Sallumu. Bano baali bazaaliddwa Biluwa.
14
Batabani ba Manasse: Asuryeli, mukazi we Omwaramu gwe yamuzaalira; yazaala ne Makiri kitaawe wa Gileyaadi.
15
Makiri yawasa omukazi okuva mu Bakuppi n'Abasuppi. Mwannyina yali ayitibwa Maaka. Mutabani we omu omulala yatuumibwa Zelofekadi. Zelofekadi yazaala abaana ab'obuwala babiri.
16
Maaka muka Makiri yazaala omwana omulenzi n'amutuuma Peresi. Muganda we yatuumibwa Seresi; batabani b'ono baali Wulamu ne Rakemu.
17
Mutabani wa Wulamu: Bedani. Abo be baali bazzukulu ba Gileyaadi mutabani wa Makiri, mutabani wa Manasse.
18
Mwannyina Kammoleketi yazaala Yisuwodi, Abiyezeri ne Makula.
19
Batabani ba Semida: Akiyani, Sekemu, Likuki ne Aniyamu.
20
Batabani ba Efurayimu: Sutelaki, Beredi mutabani we, Takati mutabani we, Eleyada mutabani we, Takati mutabani we,
21
Zabadi mutabani we, ne Sutelaki mutabani we. Ezeri ne Eleyadi battibwa abasajja b'e Gati bwe baali bagenzeeyo okunyaga ente zaabwe.
22
Kitaabwe Efurayimu yabakaabira ebbanga ggwanvu, abeŋŋanda ze ne bajja okumukubagiza.
23
Ne yeebaka ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi. Efurayimu n'amutuuma Beriya, kubanga mu maka mwali muguddemu eky'ennaku.
24
Muwala we yali Seera, eyazimba Beti-Koroni ow'emmanga ne Beti-Koroni ow'engulu, ne Wuzzeni-Seera.
25
Refa yali mutabani we, Resefu mutabani we, Telaki mutabani we, Takani mutabani we,
26
Laadani mutabani we, Ammiwudi mutabani we, Elisama mutabani we,
27
Nuunu mutabani we, ne Yoswa mutabani we.
28
Obutaka bwabwe n'obusenze bwabwe byali Beteli n'ebyalo byakyo; ate ebuvanjuba Naarani, ebugwanjuba Gezeri n'ebyalo byakyo, Sekemu n'ebyalo byakyo, okutuuka e Ayya n'ebyalo byakyo.
29
Ku nsalo y'ekika kya Manasse nga bw'egenda ye waali Beti-Seyani n'ebyalo byakyo, Taanaki n'ebyalo byakyo, Megiddo n'ebyalo byakyo, ne Dori n'ebyalo byakyo. Bazzukulu ba Yozefu mutabani wa Yisirayeli baasulanga mu bibuga bino.
30
Batabani ba Aseeri: Yimuna, Yisuva, Yisuvi, Beriya. Mwannyinaabwe yali Sera.
31
Batabani ba Beriya: Keberi ne Malukyeli, ono ye yali kitaawe wa Biruzayiti.
32
Keberi ye yali kitaawe wa Yafuleti, Someri, Kotamu ne Suwa mwannyinaabwe.
33
Batabani ba Yafuleti: Pasaki, Bimuwali, Asuvati; bano be batabani ba Yafuleti.
34
Batabani ba Someri: Aki, Rokuga, Kubba ne Aramu.
35
Batabani ba Elemu muganda we: Zofa, Yimuna, Selesi ne Amali.
36
Batabani ba Zofa: Suwa, Karuneferi, Suwali, Beeri, Yimura,
37
Bezeri, Kodi, Samma, Silusa, Yitura ne Beera.
38
Batabani ba Yeteri: Yefunne, Pisupa ne Ara.
39
Batabani ba Wulla: Ara, Kanniyeli ne Riziya.
40
Bano bonna baali bazzukulu ba Aseeri: abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja abalondobe, abatabaazi abazira n'abaami abatutumufu. Abasajja abatabaazi enkalala z'endyo zaabwe be zaalaga baali bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29