bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 21
1 Chronicles 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 22 →
1
Sitaani yasitukira mu Yisirayeli n'asindika Dawudi okubala abantu ba Yisirayeli.
2
Dawudi n'agamba Yowabu n'abagabe b'eggye bonna nti: “Mugende mubale Abayisirayeli okuva e Beeriseba okutuuka ku Daani, mukomeewo mmanye omuwendo gwabwe bwe gwenkana”
3
Yowabu n'agamba kabaka nti: “Omukama Katonda wo ku muwendo gw'abantu nga bwe guli kati agwongereko emirundi kikumi. Naye mukama wange kabaka, bano bonna si baweereza ba mukama wange? Mu kintu kino kiki ky'ogenderedde? Lwaki wandyagadde okuleetera Yisirayeli omusango?”
4
Naye kabaka kye yagamba kye kyasinza ekya Yowabu amaanyi; bw'atyo Yowabu n'agenda n'ayitaayita mu Yisirayeli yenna, n'akomawo mu Yeruzaalemu.
5
Yowabu n'awa Dawudi omuwendo gw'abantu: mu Yisirayeli yenna mwalimu abasajja akakadde kamu mu akasiriivu kamu abakwasi b'ekitala; ne mu Yuda yalina akasiriivu kamu mu emitwalo musanvu abasobola okukwata ekitala.
6
Naye Yowabu teyabala ba mu bika bya Leevi ne Benyamiini, kubanga Yowabu ekiragiro kya kabaka yakyenyinyala.
7
Era ekiragiro kino kyali kibi mu maaso ga Katonda, bw'atyo n'abonereza Yisirayeli.
8
Olwo Dawudi n'agamba Omukama nti: “Nnyonoonye nnyo olwa kino kye nkoze. Nkwegayiridde, ggyawo ekibi ky'omuweereza wo, kubanga kye nkoze kya busiru nnyo.”
9
Omukama n'agamba Gaadi omulabi wa Dawudi nti:
10
“Genda ogambe Dawudi nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Nkuwadde bisatu olondeko kimu ku ebyo kye mba nkukola’ ”
11
Gaadi n'ajja ewa Dawudi, n'agamba nti: “Londako ky'oyagala:
12
Enjala egwe okumala emyaka esatu? Oba emyezi esatu egy'okusaanyizibwawo mu maaso g'abalabe bo, n'ekitala ky'abalabe bo nga kikukinyeeko? Oba ennaku ssatu ez'ekitala ky'Omukama, ze nnaku eza kawumpuli mu nsi nga malayika agenda avunjaga buli kitundu kyonna ekya Yisirayeli? Kale weerowooze, olondeko kye nnaddiza oli antumye.”
13
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Ndiko ennaku nnyingi; naye ekisinga obulungi ka ngwe mu mikono gy'Omukama, kasita ekisa kye kingi nnyo, naye tondeka kugwa mu mikono gya bantu.”
14
Awo Omukama n'asindika kawumpuli ku Yisirayeli; mu Yisirayeli ne mufaamu abasajja emitwalo musanvu.
15
Katonda n'atuma malayika we azikirize Yeruzaalemu, naye malayika aba atandika okukizikiriza, Omukama n'alaba ne yeddamu ku kabi ako, n'agamba malayika eyali atta abantu nti: “Kimala! Kaakati ssa omukono gwo.” Malayika w'Omukama yali ayimiridde kumpi n'egguuliro lya Orunani Omuyebusi.
16
Dawudi bwe yayimusa amaaso, n'alaba malayika ng'ayimiridde wakati w'eggulu n'ensi, ng'alina mu ngalo ekitala ekisowole nga kigololeddwa ku Yeruzaalemu. Awo Dawudi n'abakadde ne bambala ebikutiya, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe.
17
Dawudi n'agamba Omukama nti: “Si nze nalagira okubala abantu? Nze nakola ekibi, nze nayonoona; bano endiga obuliga baakola ki? Nkwegayiridde, Mukama Katonda wange, omukono gwo gukyukire nze n'ennyumba ya kitange, naye toleka kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
18
Malayika w'Omukama n'agamba Gaadi alagire Dawudi azimbire Omukama omwaliiro mu gguuliro lya Orunani Omuyebusi.
19
Dawudi n'ayambuka ng'agondera ekigambo Gaadi kye yali amugambye mu linnya ly'Omukama.
20
Orunani yali awewa ŋŋano, bwe yakyuka, n'alaba malayika, batabani be abana abaali naye ne beekweka.
21
Dawudi n'ajja ewa Orunani; Orunani bwe yatunula n'alaba Dawudi, amangu ago n'aleka egguuliro n'avunnamira Dawudi ng'amaaso ge agatuusizza ku ttaka.
22
Dawudi n'amugamba nti: “Mpa ekifo ky'egguuliro lyo nzimbirewo Omukama omwaliiro kawumpuli agudde mu bantu akome. Nzija kukusasula omuwendo gwonna oguligyamu.”
23
Naye Orunani n'agamba Dawudi nti: “Litwale; mukama wange kabaka, okole nga bw'onooba osiimye. Laba nzija kukuwa ente y'ekitambiro ekyokye, ebiggo ebiwuula olw'enku, n'eŋŋano olw'ekitone eky'obuwunga; bino byonna nzija kubiwa.”
24
Kabaka Dawudi n'addamu Orunani nti: “Nedda, nzija kusasula omuwendo gwonna kubanga sijja kuweereza Mukama kikyo, oba okumwokera ekitambiro ekyokye nga sirina kye mpaddeyo.”
25
Bw'atyo Dawudi n'asasula Orunani olw'ekifo sekeli eza zaabu lukaaga.
26
Dawudi n'azimbirayo Omukama omwaliiro, n'aweereza ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu. N'akoowoola erinnya ly'Omukama; Omukama n'amwanukula n'omuliro ogwava mu ggulu ku mwaliiro gw'ekitambiro ekyokye.
27
Awo Omukama n'alagira malayika, n'azza ekitala kye mu kiraato.
28
Mu kadde ako Dawudi bwe yalaba ng'Omukama amuwulidde, mu gguuliro lya Orunani Omuyebusi n'atambirirayo ebitambiro.
29
Ekisulo ky'Omukama Musa kye yali akoledde mu ddungu n'omwaliiro gw'ebitambiro ebyokye mu budde obwo byali mu kifo ekigulumivu mu Gibewoni.
30
Dawudi teyaguma kugenda kwebuuza eyo ku Katonda, kubanga yali atidde ekitala kya malayika w'Omukama.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29