bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 24
1 Chronicles 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 25 →
1
Batabani ba Aroni baagabanyizibwamu bwe bati: Batabani ba Aroni: Nadabu, Abiwu, Eleyazari ne Yitamari.
2
Nadabu ne Abiwu be baasooka kitaabwe okufa; tebaalina baana; Eleyazari ne Yitamari ne bakola nga bakabona.
3
Dawudi n'abagabanyaamu ng'ayambibwako Zadoki omu ku batabani ba Eleyazari ne Akimeleki omu ku batabani ba Yitamari mu bisanja byabwe eby'okuweereza.
4
Mu bazzukulu ba Eleyazari mwasangibwamu abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe bangi okusinga abaasangibwa mu bazzukulu ba Yitamari; Olwo aba Eleyazari ne bayawulwamu ennyumba za bajjajjaabwe kkumi na mukaaga, n'aba Yitamari ennyumba za bajjajjaabwe munaana.
5
Ebisanja byabwe byaweebwa ku kalulu awatali kyekubiira, kubanga wombi mu batabani ba Eleyazari ne mu ba Yitamari mwavaamu abaweereza b'omu Kifo Ekitukuvu, n'abaweereza mu maaso g'Omukama.
6
Semaaya omuwandiisi, mutabani wa Netaneli Omuleevi, yawandiika amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu ne Zadoki kabona ne Akimeleki mutabani wa Abiyatari, n'ag'abakulu b'ennyumba za bakabona n'ez'Abaleevi eza bajjajjaabwe, ng'ennyumba emu eya bajjajjaabwe bw'eba eya Eleyazari, eddako eba ya Yitamari.
7
Akalulu kaasooka kugwa ku Yowaribu, akookubiri ku Yedaaya,
8
akookusatu ku Karimu, akookuna ku Seworimu,
9
akookutaano ku Malukiya, akoomukaga ku Miiyamini,
10
akoomusanvu ku Akkozi, akoomunaana ku Abiya,
11
akoomwenda ku Yeswa, ak'ekkumi ku Sekaniya,
12
ak'ekkumi n'akamu ku Eliyasibu, ak'ekkumi n'obubiri ku Yakimu,
13
ak'ekkumi n'obusatu ku Kuppa, ak'ekkumi n'obuna ku Yesebewabu,
14
ak'ekkumi n'obutaano ku Biluga, ak'ekkumi n'omukaaga ku Yimmeri,
15
ak'ekkumi n'omusanvu ku Keziri, ak'ekkumi n'omunaana ku Appizzezi,
16
ak'ekkumi n'omwenda ku Petakiya, ak'amakumi abiri ku Yekezukeli,
17
ak'amakumi abiri mu akamu ku Yakini, ak'amakumi abiri mu obubiri ku Gamuli,
18
ak'amakumi abiri mu obusatu ku Delaaya, ak'amakumi abiri mu obuna ku Maaziya.
19
Bino bye bisanja byabwe eby'emirimu lwe baayingira mu Kiggwa ky'Omukama, nga bagoberera entereeza eyabaweebwa Aroni jjajjaabwe ng'Omukama Katonda wa Yisirayeli bwe yali amulagidde.
20
Bo bazzukulu ba Leevi abaali basigaddewo: Mu batabani ba Amuramu: Subayeli; mu batabani ba Subayeli: Yekudeeya;
21
mu batabani ba Rekabiya: omukulu Yissiya;
22
mu Bayizuwari: Selomiti; mu batabani ba Selomiti: Yakati;
23
mu batabani ba Keburoni: Yeriya y'asooka, Amariya wa kubiri, Yakaziyeli wa kusatu, Yekamewamu wa kuna;
24
mu batabani ba Wuzziyeli: Mika; mu batabani ba Mika: Samuri;
25
muganda wa Mika: Yissiya; mu batabani ba Yissiya: Zakariya;
26
mu batabani ba Merari: Makuli ne Musi; mu batabani ba Yaaziya: Beno.
27
Batabani ba Merari: mu Yaaziya: Beno, Sokamu, Zakkuri, Yiburi;
28
mu Makuli: mutabani Eleyazari ataalina baana;
29
mu Kisi: mutabani wa Kisi: Yerakumeeli.
30
Batabani ba Musi: Makuli, Ederi ne Yerimoti. Beebo bazzukulu ba Leevi mu nnyumba za bajjajjaabwe.
31
Nabo baakuba akalulu nga baganda baabwe bazzukulu ba Aroni bwe baakola mu maaso ga Dawudi kabaka ne Zadoki ne Akimeleki n'abakulu b'ennyumba za bakabona n'ez'Abaleevi eza bajjajjaabwe. Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ne bato baabwe bonna baakuba akalulu kyenkanyi.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29