bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 19
1 Chronicles 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 20 →
1
Oluvannyuma, Nakasi kabaka w'Abammoni n'afa; mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
2
Dawudi n'agamba nti: “Nzija kugirira ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi kubanga kitaawe yangirira ekisa.” Awo Dawudi n'atumayo abaweereza be bamutuusize okukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Naye abaweereza ba Dawudi bwe bajja ewa Kanuni mu nsi y'Abammoni okumukubagiza,
3
abakungu b'Abammoni ne bagamba Kanuni nti: “Olowooza Dawudi akutumidde ab'okukukubagiza lwa kussaamu kitaawo kitiibwa, nandiki Dawudi abaweereza abasindise gy'oli bekkaanye era bazikirize n'ensi bagikette?”
4
Kanuni n'addira abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekirevu, n'engoye zaabwe n'azisalako ebitundu okukoma mu makkati ku butuuliro, n'abagoba bagende.
5
Abantu ne bagenda ewa Dawudi, ne bamubuulira ebigudde ku baweereza be; Dawudi n'asindika ababaka ab'okubasisinkana; baali batoowaziddwa nnyo. Dawudi n'abalagira nti: “Musigale mu Yeriko, okutuusa ebirevu byammwe nga bimeze, awo mulyoke mukomewo.”
6
Abammoni bwe baalaba nga beekyayisizza ewa Dawudi, Kanuni n'Abammoni ne baweereza talenta lukumi eza ffeeza okupangisa ebigaali n'abeebagazi okuva e Aramu Nakarayimu, Aramu-Maaka n'e Zoba.
7
Ne bapangisa ebigaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri, wamu ne kabaka w'e Maaka n'eggye lye lyonna. N'ajja n'asiisira kumpi ne Medeba. Abammoni bo ne bakunga abatabaazi okuva wonna mu bibuga byabwe, ne bajja mu lutalo.
8
Dawudi bwe yakiwulira, n'asindika Yowabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
9
Abammoni ne bavaayo, ne bataza eggye mu maaso ga wankaaki w'ekibuga kyabwe. Bo bakabaka abajja okulwana ne basigala ku ttale bokka.
10
Yowabu bwe yalaba nga beetegese okumulwanyisa nga bafuluma mu maaso n'emabega, n'alonda mu bonna abatabaazi abalondobe mu Yisirayeli, n'abategeka okulumba Abaaramu;
11
ekitundu ky'abantu ekyasigalawo n'akiwa Abisayi muganda we n'abategeka okulumba Abammoni.
12
Yowabu n'agamba nti: “Abaaramu bwe banansinza amaanyi, ononziruukirira; n'Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, nnaakudduukirira.
13
Beera muzira; tulwane na buzira okutaasa abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe; Omukama anaakola ekisaanye mu maaso ge.”
14
Awo Yowabu n'eggye lye yali nalyo ne balumba okulwanyisa Abaaramu, Abaaramu ne babadduka.
15
Abammoni bwe baalaba ng'Abaaramu badduse, nabo ne badduka Abisayi muganda we, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowabu n'akomawo e Yeruzaalemu.
16
Abaaramu bwe baalaba nga bakubiddwa Yisirayeli, ne baweereza ababaka ne bakuŋŋaanya Abaaramu okuva emitala w'Omugga, Sofaki omuduumizi w'eggye lya Adadeezeri ng'abakulembedde.
17
Bwe baakibuulira Dawudi, n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna, n'asomoka Yorudani, n'ajja gye bali, n'abatambaala. Dawudi n'ataza eggye okusisinkana Abaaramu, nabo ne bamulwanyisa.
18
Naye Abaaramu ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Baaramu abatabaazi b'oku bigaali lusanvu, n'abatabaazi baabwe ab'ebigere emitwalo ena. N'atta ne Sofaki omuduumizi w'eggye lyabwe.
19
Bakabaka bonna abaali abaweereza ba Adadeezeri bwe baalaba nga bakubiddwa Yisirayeli, ne bateeseganya n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Abaaramu tebeegomba kuddayo kuyamba Bammoni.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29