bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 27
1 Chronicles 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 28 →
1
Luno lwe lukalala lw'Abayisirayeli abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abagabe b'enkumi, abagabe b'ebikumi, n'abakungu abaaweerezanga kabaka ku bidda ku bibinja bya magye nga biri mu mpalo zaabyo eza buli mwezi omwaka gwonna. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
2
Eyali avunaanyizibwa ku kibinja ekisooka, mu mwezi ogusooka yali Yasobewamu, mutabani wa Zabudiyeli. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
3
Yali ava mu bazzukulu ba Perezi; ye yakuliranga bonna abagabe mu ggye abaalinga ku luwalo mu mwezi ogusooka.
4
Eyavunaanyizibwanga ekibinja ky'omwezi ogwokubiri yali Dodayi Omwakoki. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
5
Omugabe owookusatu mu mwezi ogwokusatu yali Benaaya mutabani wa Yoyada kabona. Ye yali omukulu w'ekibinja kye; kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
6
Benaaya oyo yali muzira ng'abalirwa mu makumi Asatu, era nga ye mukulu w'amakumi Asatu; ekibinja kye mutabani we Ammizabadi ye yali akikulira.
7
Owookuna, mu mwezi ogwokuna, ye Asaweli muganda wa Yowabu; Zabadiya mutabani we ye yamuddirira. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
8
Owookutaano, mu mwezi ogwokutaano, omugabe w'ekibinja nga ye Samukuti Omuyizuraki. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
9
Owoomukaga mu mwezi ogwomukaaga Yira mutabani wa Yikkesi ow'e Tekowa. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10
Owoomusanvu, mu mwezi ogwomusanvu, ye Kelezi ow'e Peleti ow'omu bazzukulu ba Efurayimu. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
11
Owoomunaana, mu mwezi ogwomunaana, ye Sibbekayi Omukusa mu Bayizuraki. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
12
Owoomwenda, mu mwezi ogwomwenda, Abiyezeri ow'e Anatoti, Omubenyamiini. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
13
Ow'ekkumi, mu mwezi ogw'ekkumi, ye Mawarayi ow'e Netofa Omuyizuraki. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
14
Ow'ekkumi n'omu mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu ye Benaaya ow'e Piratoni Omwefurayimu. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
15
Ow'ekkumi n'ababiri, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, nga ye Keludayi ow'e Netofa muzzukulu wa Otunyeli. Mu kibinja kye mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
16
Abakulu b'ebika bya Yisirayeli: Ku lwa Rubeni: Eliyezeri mutabani wa Zikuri. Ku lwa Basimewoni: Sefatiya mutabani wa Maaka.
17
Ku lwa Leevi: Kasabiya mutabani wa Kemweli. Ku Aroni: Zadoki.
18
Ku lwa Yuda: Eliwu, omu ku baganda ba Dawudi. Ku lwa Yissakari: Omuri mutabani wa Mikayeli.
19
Ku lwa Zebuluni: Yisumaaya mutabani wa Obadiya. Ku lwa Nafutali: Yeremoti mutabani wa Azuryeli.
20
Ku lwa bazzukulu ba Efurayimu: Ozeya mutabani wa Azaziya. Ku lw'ekitundu ekyokubiri ekya Manasse: Yoweli mutabani wa Pedaaya.
21
Ku lw'ekyokubiri ekya Manasse mu Gileyaadi: Yiddo mutabani wa Zakariya. Ku lwa Benyamiini: Yaasiyeli mutabani wa Abuneri.
22
Ku lwa Daani: Ezareli mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abakulu b'ebika bya Yisirayeli.
23
Dawudi teyabala ba myaka makumi abiri oba abatannagiweza, kubanga Omukama yali asuubizza okwaza Yisirayeli okwenkana emmunyeenye z'eggulu.
24
Yowabu mutabani wa Zeruya yali asoose okubala, naye teyamaliriza, kubanga Yisirayeli yasunguwalirwa olw'ekyo, omuwendo kyeguva gutaweebwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya kabaka Dawudi.
25
Eyakuliranga amawanika ga kabaka ye Azumaveti mutabani wa Adyeli. Go amawanika agaalinga eyo ebbali w'ekibuga, mu bibuga, mu byalo ne mu minaala, Yonatani mutabani wa Wuzziya ye yagakuliranga.
26
Abakozi ab'omu byalo abaalimanga mu nnimiro Ezuri mutabani wa Kelubi nga y'abakulira.
27
Nnampala w'abaalimanga mu mizabbibu yali Simeyi ow'e Raama. Zabudi ow'e Sefamu ye yali avunaanyizibwa ku bikungulwa mu nnimiro z'emizabbibu olw'amatogero g'evviini.
28
Baali-Kanaani ow'e Gederi ye yali avunaanyizibwa ku nnimiro z'oliva n'ez'emikunyu ezaalinga mu Sefela. Yowasi nga y'avunaanyizibwa ku materekero g'omuzigo.
29
Siturayi ow'e Saroni nga y'avunaanyizibwa ku magana agaalundirwanga mu Saroni. Safati mutabani wa Kadulayi nga y'avunaanyizibwa ku nte ezaali mu biwonvu.
30
Obili Omuyisimayeli nga y'avunaanyizibwa ku ŋŋamiya. Yekudeeya Omumeronoti nga y'avunaanyizibwa ku ndogoyi.
31
Yazizi Omwaguri nga y'avunaanyizibwa ku ndiga. Bonna abo be baali abaweereza abavunaanyizibwa ku bintu bya kabaka Dawudi.
32
Yonatani kitaawe omuto owa Dawudi yali mubuulirizi, omusajja omugezi era omuwandiisi. Oyo ne Yekiyeli mutabani wa Kakumoni be balabiriranga batabani ba kabaka;
33
Akitofeli yabanga mubuulirizi wa kabaka; Kusayi Omwaruki yali munywanyi wa kabaka;
34
Akitofeli yasikirwa Yoyada mutabani wa Benaaya, ne Abiyatari. Yowabu ye yali omuduumizi w'eggye lya kabaka.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29