bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 13
1 Chronicles 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 14 →
1
Dawudi yakuba olukiiko wamu n'abagabe be abaduumira enkumi n'ebikumi n'abakulu bonna.
2
N'agamba ekibiina kyonna ekya Yisirayeli nti: “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, era nga kwe kwagala kwa Mukama Katonda waffe, tutume eri baganda baffe abalala mu bitundu wonna ebya Yisirayeli n'eri bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga ne mu malundiro gaabwe, tusabe batwegatteko,
3
tukomyewo Ssanduuku ya Katonda waffe mu ffe, anti mu budde bwa Sawulo twagigayaalirira.”
4
Ekibiina kyonna ne kikkiriza, anti ekirowoozo kyali kituufu eri abantu bonna.
5
Bw'atyo Dawudi n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna okuva ku Mugga Sikori ogwa Misiri okutuuka ku Lebo-Kamati, baggye Ssanduuku ya Katonda e Kiriyati-Yewarimu.
6
Dawudi n'ayambuka e Baali ng'ali ne Yisirayeli yenna, e Kiriyati-Yewarimu ekiri mu Yuda, baggyeyo Ssanduuku ya Katonda eyitibwa erinnya 'Omukama awaŋŋamye wakati mu bakerubi'.
7
Baggya Ssanduuku ya Katonda mu nnyumba ya Abinadabu ne bagissa ku kigaali ekipya. Wuzza ne Akiyo be baali bagoba ekigaali.
8
Dawudi ne Yisirayeli yenna baali bazinira mu maaso ga Katonda n'amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ku nnanga, endongo, entongooli, obugoma, ensaazo, n'amakondeere.
9
Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, Wuzza n'agolola omukono gwe okuwanirira Ssanduuku, kubanga ente zasirittukamu.
10
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Wuzza n'amukuba, kubanga yagololera omukono gwe eri Essanduuku. N'afiira awo mu maaso g'Omukama.
11
Dawudi n'anyiiga kubanga Omukama yamalira obusungu bwe ku Wuzza; ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezi-Wuzza n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
12
Dawudi n'atya Katonda ku olwo, n'agamba nti: “Nsobola ntya okuyingiza ewange Ssanduuku ya Katonda?”
13
Olw'ensonga eyo Ssanduuku teyagikyamya wuwe, mu Kibuga kya Dawudi, wabula n'agitwala ku nnyumba ya Obedi-Edomu Omugitti.
14
Ssanduuku ya Katonda n'emala mu nnyumba ya Obedi-Edomu, mu nnyumba ye, emyezi esatu; Omukama n'awa omukisa ennyumba ye na byonna bye yalina.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29