bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 9
1 Chronicles 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 10 →
1
Yisirayeli yenna yali muwandiike ku nkalala z'endyo mu kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli. Kati nno abantu ba Yuda baawaŋŋangusirizibwa mu Babiloni olw'obutaba beesigwa.
2
Abaasooka okudda mu butaka bwabwe mu bibuga byabwe baali Bayisirayeli aba bulijjo, bakabona, Abaleevi n'abaweereza b'omu Kiggwa.
3
Abaaberanga mu Yeruzaalemu okuva mu bantu ba Yuda, aba Benyamiini, aba Efurayimu n'aba Manasse baali:
4
Wutayi mutabani wa Ammiwudi, mutabani wa Omuri, mutabani wa Yimuri, mutabani wa Bbaani, asibuka mu Perezi mutabani wa Yuda.
5
Mu b'essiga lya Sela: Asaaya omuggulanda ne batabani be.
6
Mu batabani ba Zeraki: Yeweli, n'ab'oluganda lwabwe abawera lukaaga mu kyenda.
7
Mu Babenyamiini: Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Odaviya, mutabani wa Kassenuwa,
8
Yibuneeya mutabani wa Yerokamu, Ela mutabani wa Wuzzi, mutabani wa Mikuri, Mesullamu mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Reweli, mutabani wa Yibuniya.
9
Ab'oluganda lwabwe nga bwe bawandiikiddwa ku nkalala z'endyo zaabwe baali lwenda mu ataano mu mukaaga. Bano bonna baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe.
10
Mu bakabona: Yedaaya, Yowaribu ne Yakini.
11
Azariya mutabani wa Kilukiya, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Zadoki, mutabani wa Meraayoti, mutabani wa Akitubu, omukulu eyali avuunaanyizibwa ku Kiggwa kya Katonda;
12
Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pasukuru, mutabani wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeli, mutabani wa Yakuzera, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Mesillemiti, mutabani wa Yimmeri.
13
Ab'oluganda lwabwe abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baalina obukugu mu kuweereza mu Kiggwa kya Katonda.
14
Mu Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubi, mutabani wa Azurikamu, mutabani wa Kasabiya, ava mu ssiga lya Merari.
15
Bakubakkari, Keresi, Galali, Mattaniya mutabani wa Mika, mutabani wa Zikuri, mutabani wa Asafu,
16
Obadiya mutabani wa Semaaya, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedutuni, Berekiya mutabani wa Asa, mutabani wa Elukana. Baabeeranga mu byalo by'essiga lya Netofa.
17
Abaggazi: Sallumu, Akkubu, Talumoni, Akimani, ne baganda baabwe; Sallumu ye yali omukulu waabwe;
18
yassibwa ku Wankaaki wa Kabaka ebuvanjuba, gy'ali n'okutuusa kati. Bano be baali abaggazi b'ensiisira z'abazzukulu ba Leevi:
19
Sallumu mutabani wa Kore, mutabani wa Abiyasafu, mutabani wa Kora, ne banne abakuumi b'oku mulyango bwe bava mu ssiga lyabwe erya Kora, be baakuumanga emiryango gya Weema nga bajjajjaabwe bwe baakuumanga omulyango gw'Olusiisira lw'Omukama.
20
Mu kusooka Finekasi mutabani wa Eleyazari ye yali omukulu w'abaggazi, n'Omukama yali naye.
21
Zakariya mutabani wa Meselemiya ye yali omuggazi ku muzigo gw'omulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
22
Bano bonna abaalonderwa ogw'okuggala emiryango baali ebikumi bibiri mu kkumi na babiri. Baali ku nkalala z'endyo zaabwe mu byalo byabwe. Dawudi ne Samweli omulabi be baabassa buli omu ku kisanja kye.
23
Bo n'abaana baabwe baali ku gwa kukuuma miryango gy'Ekiggwa ky'Omukama, ennyumba eya Weema.
24
Abaggazi baali ku njuyi zonna ennya, kwe kugamba nti ebuvanjuba, ebugwanjuba, emambuka n'emaserengeta.
25
Baganda baabwe baavanga mu byalo byabwe ne bajja ne bamala ennaku musanvu nga bakola nabo.
26
Naye bo abaggazi abakulu abana Abaleevi be baalinanga obuvunaanyizibwa ku bisenge ne ku nkuluze eby'Ekiggwa ky'Omukama.
27
Baasulanga beetoolodde Ekiggwa ky'Omukama kubanga ogw'okukikuuma gwalinga gwabwe. Baalinanga ogw'okukuuma ekisumuluzo n'okuggulawo Ekiggwa buli makya.
28
Mu abo mwe mwavanga abakola ku bintu ebikozesebwa mu kuweereza; baabalanga omuwendo gwabyo nga bireeteddwa oba nga biggyibwawo.
29
Era mu bo mwe mwali abaakwasibwa eky'okulabirira eby'okutimba byonna ebitukuvu, n'ebirala byonna eby'Ekifo Ekitukuvu, n'obuwunga, evviini, omuzigo, obubaani n'ebyakaloosa.
30
Bakabona abamu baakolanga ku by'okutabula omuzigo n'ebyakaloosa.
31
Omuleevi omu ayitibwa Mattitiya, omuggulanda wa Sallumu ow'omu ssiga ly'Abakora, yakwasibwa omulimu omutongole ogw'okufumbanga emigaati egy'empewere.
32
Baganda baabwe abalala mu ssiga lya Kewati baali ku gwa kutegeka buli sabbaato Emigaati egy'Okwolesebwa.
33
Abayimbi abakulu mu nnyumba z'Abaleevi eza bajjajjaabwe, abaabeeranga mu kigango ky'omu Kiggwa tebaaliko mirimu mirala kubanga baalina okuweerezanga emisana n'ekiro.
34
Abo be baali abakulu b'ennyumba z'Abaleevi eza bajjajjaabwe, abakulembeze nga bwe baali mu nkalala z'endyo zaabwe; baabeeranga Yeruzaalemu.
35
Yeyeli kitaawe wa Gibewoni yabeeranga Gibewoni. Mukazi we ye yali Maaka.
36
Batabani be: Abudoni omuggulanda we, Zuru, Kisi, Baali, Neri, Nadabu,
37
Gedori, Akiyo, Zakariya ne Mikuloti.
38
Mikuloti yazaala Semeyamu. Nabo babeeranga ne baganda baabwe mu Yeruzaalemu.
39
Neri yazaala Kisi, Kisi yazaala Sawulo, Sawulo yazaala Yonatani, Maluki-Suwa, Abinadabu ne Esubaali.
40
Mutabani wa Yonatani: Meribaali. Meribaali yazaala Mika.
41
Batabani ba Mika: Pitoni, Meleki, Takureya ne Akazi.
42
Akazi yazaala Yaara, Yaara n'azaala Alemeti, Azumaveti ne Zimuri. Zimuri yazaala Moza;
43
Moza yazaala Bineya, Refaaya mutabani we, Eleyasa mutabani we, ne Azeli mutabani we.
44
Azeli yalina abaana mukaaga; gano ge mannya gaabwe: Azurikamu, Bokeru, Yisimayeli, Sewariya, Obadiya ne Kanani. Bano be batabani ba Azeli.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29