bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 16
1 Chronicles 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 17 →
1
Baaleeta Ssanduuku ya Katonda ne bagissa munda mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne baweereza mu maaso ga Katonda ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu.
2
Dawudi bwe yamala okuweereza ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu, n'awa abantu omukisa mu linnya ly'Omukama.
3
Awo buli omu mu Yisirayeli, omusajja n'omukazi, n'amuwa omugaati ogw'oluwewere n'ekitole ky'empirivuma, n'ekitole ky'emizabbibu emiwotose. Emirimu gy'Abaleevi mu maaso g'Essanduuku
4
Yalonda abamu ku Baleevi baweerezenga mu maaso g'Omukama, era bagulumizenga n'okutendereza Omukama Katonda wa Yisirayeli.
5
Asafu ye yali abakulira, owookubiri Zakariya, ssaako Yeyeli, Semiramoti, Yekiyeli, Mattitiya, Eliyabu, Benaaya, Obedi-Edomu ne Yeyeli. Be baali ab'okusuna entongooli n'ennanga, Asafu nga wa kukuba nsaazo.
6
Benaaya ne Yakaziyeli bakabona nga ba kufuuwanga amakondeere obudde bwonna mu maaso ga Ssanduuku y'Endagaano ya Katonda.
7
Ku olwo Dawudi n'awa omulundi ogusooka Asafu ne baganda be oluyimba luno olugulumiza Omukama:
8
“Mwebaze Omukama, mukoowoole erinnya lye; bye yakola mubimanyise mu mawanga.
9
Mumuyimbire, mumuyimbire ettendo, munyumye ku byewuunyisa bye byonna.
10
Mutendereze erinnya lye ettukuvu, emitima gy'abanoonya Omukama gisanyuke.
11
Munoonye Omukama, munoonye amaanyi ge; munoonye bulijjo amaaso ge.
12
Mujjukire ebyewuunyisa bye yakola, ebikuuno bye n'ennamula y'akamwa ke.
13
Ayi ezzadde lya Yisirayeli omuweereza we, mmwe bazzukulu ba Yakobo abalondemu be!
14
“Yennyini ye Mukama Katonda waffe; ennamula ye eri wonna mu nsi.
15
Mujjukire endagaano ye emirembe gyonna, ekigambo kye yalagira okutuusa ku mazadde olukumi;
16
endagaano gye yakola ne Yiburayimu, ekirayiro kye yalayirira Yizaake.
17
Ku Yakobo n'akimuteerawo ng'etteeka, ku Yisirayeli ng'endagaano ey'olubeerera,
18
nti: ‘Ggwe ndikuwa ensi Kanaani ng'omugabo gw'obusika bwo.’
19
“Bwe baali bakyali batono ddala, mpa we bazira, ate abasenze obusenze;
20
baabunganga nga bava mu ggwanga lino bagenda mu liri, bava mu bwakabaka buno bagenda mu buli.
21
Naye teyaganya n'omu kubanyigiriza; olw'okubeera bo yakoma ku bakabaka nti:
22
‘Temukwata ku basiige bange, abalanzi bange temubakola kabi.’
23
“Ensi yonna, muyimbire Omukama, mulangirire obulokozi bwe buli olukedde.
24
Mubuulire mu mawanga ekitiibwa kye, mu bantu bonna ebyewuunyisa by'akola.
25
Kubanga Omukama mukulu, atenderezebwa nnyo; wa ntiisa okusinga balubaale bonna.
26
Anti balubaale b'amawanga bifaananyi, Omukama ye yakola eggulu.
27
Ekitiibwa n'obukulu bimukulemberamu; obuyinza n'essanyu biri mu kifo kye.
28
“Muwe Omukama, mmwe ebika by'abantu, muwe Omukama ekitiibwa n'obuyinza.
29
Muwe Omukama ekitiibwa ky'erinnya lye, muleete ekitambiro, mujje mu maaso ge. Musinze Omukama mu kwakayakana kw'obutukuvu bwe.
30
Ayi ensi yonna, mukankane mu maaso ge. Ensi yabangibwawo nga nnywevu, terinyeenyezebwa.
31
“Eggulu lijaganye n'ensi esanyuke. Bagambe mu mawanga nti: ‘Katonda wo afuga!’
32
Ennyanja ewulugume ne byonna ebijjuddemu; ettale lisagambize na byonna ebiririmu.
33
Olwo emiti gy'omu kibira gyonna giriyoogaana n'essanyu mu maaso g'Omukama kubanga ajja, kubanga ajja okulamula ensi.
34
“Mwebaze Omukama kubanga mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.
35
Mukoowoole nti: ‘Tulokole, ayi Katonda, Mulokozi waffe, tukuŋŋaanye, tuggyeeyo mu mawanga, tulyoke tugulumize erinnya lyo ettukuvu, twetendere mu ttendo lyo.’
36
Omukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe emirembe n'emirembe.” Abantu bonna ne bagamba nti: “Amiina, Omukama atenderezebwe.”
37
Dawudi yaleka Asafu ne baganda be mu maaso g'Essanduuku y'Endagaano y'Omukama baweerezenga ebbanga lyonna mu maaso g'Essanduuku okusinziira ku mikolo egyabangawo buli lunaku.
38
Yaleka ne Obedi-Edomu ne baganda be enkaaga mu omunaana baweerezenga nabo. Yedutuni mutabani wa Obedi-Edomu ne Kosa baali ba kukola gwa buggazi.
39
Yaleka Zadoki kabona ne baganda be bakabona mu maaso g'Ekisulo ky'Omukama ekyali mu kifo ekigulumivu mu Gibewoni,
40
baweerezenga obutasalako Omukama ebitambiro ebyokye ku mwaliiro gw'ebitambiro ebyokye, ku makya n'akawungeezi, nga bagoberera ebyawandiikibwa mu tteeka ly'Omukama lye yawa Yisirayeli.
41
Ku abo yagattako Emani ne Yedutuni, n'abalala abalondemu linnya ku linnya, bagulumize Omukama “kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
42
Emani ne Yedutuni omulimu gwabwe kwali kufuuwanga makondeere n'okukuba ensaazo n'ebivuga ebigendera ku nnyimba entukuvu. Batabani ba Yedutuni bo baali ba kukola gwa buggazi.
43
Abantu bonna ne baddayo buli omu mu nnyumba ye, ne Dawudi n'addayo awe amaka ge omukisa. Omukama alagaanya Dawudi
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29