bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 6
1 Chronicles 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 7 →
1
Batabani ba Leevi: Gerusomu, Kewati ne Merari;
2
Gano ge mannya ga batabani ba Gerusomu: Libuni ne Simeyi.
3
Batabani ba Kewati: Amuramu, Yizuwari, Keburoni ne Wuzziyeli.
4
Batabani ba Merari: Makuli ne Musi. Gano ge masiga g'Abaleevi okusinziira ku bajjajjaabwe:
5
Aba Gerusomu: Libuni mutabani we, Yakati mutabani we, Zimma mutabani we,
6
Yowa mutabani we, Yiddo mutabani we, Zeraki mutabani we ne Yewaterayi mutabani we.
7
Batabani ba Kewati: Amminadabu mutabani we, Kora mutabani we, Assiri mutabani we,
8
Elukana mutabani we, Abiyasafu mutabani we, Assiri mutabani we,
9
Takati mutabani we, Wuriyeli mutabani we, Wuzziya mutabani we, Sawulo mutabani we,
10
Batabani ba Elukana: Amasayi, Akimoti,
11
ne Elukana, Zofayi mutabani we, Nakati mutabani we,
12
Eliyabu mutabani we, Yerokamu mutabani we, Elukana mutabani we ne Samweli mutabani we.
13
Batabani ba Samweli: Yoweli omuggulanda ne Abiya owookubiri.
14
Batabani ba Merari: Makuli mutabani we, Libuni mutabani we, Simeyi mutabani we, Wuzza mutabani we,
15
Simewa mutabani we, Kaggiya mutabani we, ne Asaaya mutabani we.
16
Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulembera okuyimba mu Kiggwa ky'Omukama nga Ssanduuku emaze okuwummuzibwa mu Kiggwa.
17
Be baakolanga ku by'okuyimba mu maaso g'Ekisulo, Weema ey'Ensisinkano, okutuusa nga Solomoni azimbye Ekiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu. Baaweerezanga ng'emirimu gyabwe n'etteeka bwe ligamba ku gyo.
18
Bano be basajja abaweerezanga wamu be batabani baabwe: Okuva mu ssiga kya Kewati: Emani omuyimbi mutabani wa Yoweli, mutabani wa Semweli;
19
mutabani wa Elukana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eliyeli, mutabani wa Towa,
20
mutabani we Zuufu, mutabani wa Elukana, mutabani wa Makati, mutabani wa Amasayi,
21
mutabani wa Elukana, mutabani wa Yoweli, mutabani wa Azariya, mutabani wa Zefaniya,
22
mutabani wa Takati, mutabani wa Assiri, mutabani wa Ebiyasafu, mutabani wa Kora,
23
mutabani wa Yizuwari, mutabani wa Kewati, mutabani wa Leevi, mutabani wa Yisirayeli;
24
ne muganda we Asafu eyamuyimiriranga ku ddyo, Asafu mutabani wa Berekiya, mutabani we Simewa,
25
mutabani wa Mikayeli, mutabani wa Baaseeya, mutabani wa Malukiya,
26
mutabani wa Atuni, mutabani wa Zeraki, mutabani wa Adaaya,
27
mutabani wa Etani, mutabani wa Zimma, mutabani wa Simeyi,
28
mutabani wa Yakati, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Leevi.
29
Ne batabani ba Merari, be baganda be ab'omu ssiga lya Merari abaamuyimiriranga ku kkono: Etani mutabani wa Kisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Malluki,
30
mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Amaziya, mutabani wa Kilukiya,
31
mutabani wa Amuzi, mutabani wa Bbani, mutabani wa Semeri,
32
mutabani wa Makuli, mutabani wa Musi, mutabani wa Merari, mutabani wa Leevi.
33
Baganda baabwe Abaleevi baatumibwanga emirimu gyonna egy'omu Kisulo ky'Omukama.
34
Ye Aroni ne batabani be baaweerezanga ebitambiro ku mwaliiro gw'ebitambiro ebyokye n'okunyookeza obubaani ku mwaliro gw'obubaani mu mirimu gyonna egy'Awatukuvu Ennyo, nga baddaabiriza olwa Yisirayeli, nga bagoberera byonna Musa omuweereza wa Katonda nga bwe yali alagidde.
35
Bano be batabani ba Aroni: Eleyazari mutabani we, Finekasi mutabani we, Abisuwa mutabani we,
36
Bukki mutabani we, Wuzzi mutabani we, Zerakiya mutabani we,
37
Meraayoti mutabani we, Amariya mutabani we, Akitubu mutabani we,
38
Zadoki mutabani we, Akimaazi mutabani we.
39
Bino bye bifo gye baasenga eby'ensiisira zaabwe ebyabaweebwa ku kalulu ng'ebitundu byabwe. Byasooka kuweebwa bazzukulu ba Aroni mu ssiga ly'Abakewati kubanga bo akalulu be kaayokya.
40
Baabawa Keburoni mu nsi ya Yuda n'amalundiro agetooloddewo.
41
Byo ebibanja by'ekibuga n'ebyalo ebikyetoolodde byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefunne.
42
Bo bazzukulu ba Aroni baabawa Keburoni, ekibuga eky'obuddukiro, ne Libuna n'amalundiro gaakyo, ne Yattiri, ne Esutemowa n'amalundiro gaakyo,
43
Kileni n'amalundiro gaakyo, Debiri n'amalundiro gaakyo;
44
Asani n'amalundiro gaakyo, ne Beti-Semesi n'amalundiro gaakyo.
45
Mu kika kya Benyamiini baaweebwayo Geba n'amalundiro gaakyo, Alemeti n'amalundiro gaakyo, ne Anatoti n'amalundiro gaakyo; ebibuga byonna wamu kkumi na bisatu amasiga gaabwe bye gaafuna.
46
Bazzukulu ba Kewati abalala mu nnyiriri zaabwe baaweebwa ebibuga kkumi okuva mu kyokubiri ky'ekika kya Manasse.
47
Batabani ba Gerusomu mu nnyiriri zaabwe baafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika ekya Yissakari, ekya Aseeri, ekya Nafutali n'ekya Manasse mu Basani.
48
Bazzukulu ba Merari mu nnyiriri zaabwe baafuna ebibuga kkumi na bibiri okuva mu bika ekya Rubeni, ekya Gaadi n'ekya Zebuluni.
49
Bwe batyo Abayisirayeli baawa Abaleevi ebibuga ebyo n'amalundiro gaabyo.
50
Baabawa ku kalulu ebibuga ebyo bye baatuuma amannya gaabyo okuva mu kika ky'abazzukulu ba Yuda ne mu kika ky'abazzukulu ba Simewoni ne mu kika ky'abazzukulu ba Benyamiini.
51
Abamu mu nnyiriri z'abazzukulu ba Kewati baafuna ng'ebitundu byabwe ebibuga okuva mu kika kya Efurayimu.
52
Baabawa ebibuga eby'obuddukiro: Sekemu n'amalundiro gaakyo mu nsozi za Efurayimu, Gezeri n'amalundiro gaakyo,
53
Yokumewamu n'amalundiro gaakyo, Beti-Koroni n'amalundiro gaakyo,
54
Ayiyaloni n'amalundiro gaakyo, ne Gati-Rimmoni n'amalundiro gaakyo.
55
Mu kitundu ekyokubiri ekya Manasse Aneri n'amalundiro gaakyo ne Bilewamu n'amalundiro gaakyo byaweebwa abo abaali bafisse mu nnyiriri z'abazzukulu ba Kewati.
56
Bazzukulu ba Gerusomu mu nnyiriri zaabwe baaweebwa okuva mu kyokubiri eky'ekika kya Manasse: Golani mu Basani n'amalundiro gaakyo ne Asutaroti n'amalundiro gaakyo.
57
Okuva mu kika kya Yissakari baaweebwa: Kedesi n'amalundiro gaakyo, Daberati n'amalundiro gaakyo,
58
Ramoti n'amalundiro gaakyo ne Anemu n'amalundiro gaakyo.
59
Mu kika kya Aseeri: Masali n'amalundiro gaakyo ne Abudoni n'amalundiro gaakyo,
60
Kukoki n'amalundiro gaakyo, ne Rekobu n'amalundiro gaakyo.
61
Okuva mu kika kya Nafutali: Kedesi mu Galilaaya n'amalundiro gaakyo, Kammoni n'amalundiro gaakyo ne Kiriyatayimu n'amalundiro gaakyo.
62
Bazzukulu ba Merari abaafikka baabawa okuva mu kika kya Zebuluni: Rimmoni n'amalundiro gaakyo, Tabori n'amalundiro gaakyo.
63
N'emitala wa Yorudani okuva mu kika kya Rubeni, ebuvanjuba wa Yeriko, baaweebwa: Bezeri mu ddungu n'amalundiro gaakyo, Yawazi n'amalundiro gaakyo,
64
Kedemoti n'amalundiro gaakyo, ne Mefaati n'amalundiro gaakyo.
65
Okuva mu kika kya Gaadi baaweebwa: Ramoti mu Gileyaadi n'amalundiro gaakyo, Makanayimu n'amalundiro gaakyo,
66
Kesuboni n'amalundiro gaakyo, ne Yazeri n'amalundiro gaakyo.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29