bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 15
1 Chronicles 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 16 →
1
Dawudi bwe yamala okwezimbira amayumba mu Kibuga kya Dawudi, Ssanduuku ya Katonda n'agitegekera ekifo, n'agisimbira weema.
2
Awo Dawudi n'agamba nti: “Ssanduuku y'Omukama si ya kwetikkibwanga buli asanga, wabula Baleevi bokka Omukama be yalonda okugitwala n'okumuweereza emirembe gyonna.”
3
Dawudi n'akuŋŋaanya Yisirayeli yenna mu Yeruzaalemu, okuleeta Ssanduuku y'Omukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.
4
Yayitirako bazzukulu ba Aroni n'Abaleevi bano:
5
mu bazzukulu ba Kewati: Wuriyeli, omukulu waabwe, ne baganda be kikumi mu abiri;
6
mu bazzukulu ba Merari: Asaaya, omukulu waabwe, ne baganda be kikumi mu asatu;
7
mu bazzukulu ba Gerusoni: Yoweli, omukulu waabwe, ne baganda be kikumi mu asatu;
8
mu bazzukulu ba Elizafani: Semaaya, omukulu waabwe, ne baganda be ebikumi bibiri;
9
mu bazzukulu ba Keburoni: Eliyeli, omukulu waabwe, ne baganda be kinaana;
10
ne mu bazzukulu ba Wuzziyeli: Amminadabu, omukulu waabwe, ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.
11
Awo Dawudi n'ayita Zadoki ne Abiyatari bakabona, n'Abaleevi: Wuriyeli, Asaaya, Yoweli, Semaaya, Eliyeli ne Amminadabu,
12
n'abagamba nti: “Mmwe mukulira ennyumba z'Abaleevi eza bajjajjaabwe; mwetukuze wamu ne baganda bammwe, Ssanduuku y'Omukama Katonda wa Yisirayeli mugireete mu kifo kye ngitegekedde.
13
Kubanga mmwe Abaleevi temwagiggyayo mu kusooka, Omukama Katonda wa Yisirayeli kyeyava atusitukiramu, kubanga tetwamwebuuzaako ku ngeri gye twali tuteekwa okukikolamu.”
14
Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza baleete Ssanduuku y'Omukama Katonda wa Yisirayeli.
15
Bazzukulu ba Leevi ne baleeta Ssanduuku ya Katonda ng'emisituliro bagitadde ku bibegabega nga Musa bwe yali alagidde ng'aggya ku kigambo ky'Omukama.
16
Dawudi yasaba abakulu b'Abaleevi mu baganda baabwe balondemu abayimbi bayimbire ku bivuga: entongooli, ennanga n'ensaazo, nga bakooloobya n'essanyu.
17
Abaleevi ne balonda: Emani mutabani wa Yoweli; ne mu baganda be: Asafu mutabani wa Berekiya; okuva mu baganda baabwe ab'omu bazzukulu b'Abamerari: Etani mutabani wa Kusaaya.
18
Baabalonderako ne baganda baabwe ababaddirira: Zakariya mutabani wa Yaaziyeli, Semiramoti, Yekiyeli, Wunni, Eliyabu, Benaaya, Maaseeya, Mattitiya, Elifeleku, Mikuneeya, era ne Obedi-Edomu ne Yeyeli abaggazi.
19
Abayimbi Emani, Asafu ne Etani be baali ab'okukuba ensaazo ez'ekikomo;
20
Zakariya, Aziyeli, Semiramoti, Yekiyeli, Wunni, Eliyabu, Maaseeya, Benaaya ba ntongooli endeegere ku Alamoti.
21
Mattitiya, Elifeleku, Mikuneeya, Obedi-Edomu, Yeyeli, Azaziya ba nnanga endeegere ku seminiti.
22
Kenaniya omukulu w'Abaleevi abayimbi ye yalabiriranga eby'okuyimba kubanga yali muyimbi mukugu.
23
Berekiya ne Elukana baali baggazi ba Ssanduuku.
24
Bakabona Sebaniya, Yosafati, Netaneli, Amasayi, Zakariya Benaaya ne Eliyezeri baali bakufuuwa makondeere mu maaso g'Essanduuku ya Katonda; Obedi-Edomu ne Yekiya bo baali baggazi ba Ssanduuku.
25
Awo Dawudi, abakadde mu Yisirayeli n'abagabe b'ebibinja ne bagenda okuggyayo Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, okugiggya mu nnyumba ya Obedi-Edomu mu ssanyu.
26
Kubanga Katonda yayamba Abaleevi abaali batwala Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, ne batambira ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu.
27
Dawudi yali ayambadde ekkanzu ey'obufumbo, n'Abaleevi bonna abaali batwala Ssanduuku, n'abayimbi ne Kenaniya eyali akulira eby'okuyimba, bonna nga bambadde nga ye. Dawudi yali ayambadde efodi ey'olugoye.
28
Yisirayeli yenna n'aleeta Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama n'obuluulu n'amaloboozi ag'eŋŋombe, amakondeere, ensaazo, n'okuvuga kw'entongooli n'ennanga.
29
Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama bwe yali eyingira mu Kibuga kya Dawudi, Mikali, muwala wa Sawulo, n'atunula wansi ng'ayima mu ddirisa n'alaba kabaka Dawudi nga yeebuukiza, azina, n'amunyooma mu mutima gwe.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29