bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Chronicles 11
1 Chronicles 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 12 →
1
Yisirayeli yenna n'akuŋŋaanira awali Dawudi mu Keburoni, n'agamba nti: “Tuutuno tuli ba magumba go na nnyama yo.
2
Mu kusooka Sawulo bwe yali akyali kabaka, ggwe wali omukulembeze wa Yisirayeli mu ntabaalo zaabwe, kubanga Omukama Katonda wo yakugamba nti: ‘Ggwe onoolunda abantu bange Yisirayeli, ggwe onooba omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.’ ”
3
Abakadde bonna aba Yisirayeli bwe bajja ewa kabaka Dawudi mu Keburoni, Dawudi n'akola nabo endagaano mu maaso g'Omukama, ne bamusiiga omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu Samweli.
4
Dawudi yagenda ne Yisirayeli yenna okulumba Yeruzaalemu, ye Yebusi. Abayebusi be baabeeranga mu nsi eyo.
5
Abaali mu Yebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira wano.” Naye Dawudi n'awamba ekigo kya Siyoni, kye Kibuga kya Dawudi,
6
Dawudi yali agambye nti: “Anaasooka okukuba Omuyebusi, y'anaafuuka omuduumizi era omwami.” Yowabu mutabani wa Zeruya ye yasooka okulumba, bw'atyo n'afuuka omuduumizi w'eggye.
7
Dawudi ekisulo kye n'akissa mu kigo, bwe kityo ne kiyitibwa 'Kibuga kya Dawudi'.
8
Yazimba n'ekibuga okukyetooloola okuva ku Millo okutuuka ku bbugwe waakyo. Ye Yowabu n'addaabiriza ebitundu ebisigaddewo eby'ekibuga.
9
Dawudi n'agenda nga yeeyongera okunywera, n'Omukama w'Amagye ng'ali naye.
10
Bano be baali abakulu b'abasajja ba Dawudi abazira, bano ne Yisirayeli yenna abaawagira Dawudi okufuuka kabaka n'okunyweza obwakabaka bwe ng'Omukama bwe yali ayogedde ku Yisirayeli.
11
Luno lwe lukalala lw'abasajja ba Dawudi abazira: Yasobewamu ow'omu ssiga lya Kakumoni omukulu w'amakumi Asatu. Ono yagalulira effumu lye abasajja ebikumi bisatu, n'abatta mu lulumba lumu.
12
Amuddako Eleyazari mutabani wa Dodo Omwakoki eyabalirwanga mu bazira Abasatu.
13
Oyo yali ne Dawudi mu Pasi-Dammini Abafilisitiini lwe baakuŋŋaanira mu kifo ekyo okulwana. Ennimiro y'omu kitundu ekyo yali ejjudde sayiri. Amagye ne gadduka Abafilisitiini.
14
Naye bano ne bagumira mu nnimiro wakati ne bagitaasa, ne bakuba Abafilisitiini. Omukama n'abanunula n'obuwanguzi obw'amaanyi.
15
Basatu ku bagabe Asatu baaserengeta awali Dawudi ku lwazi gye yali mu mpuku ya Adullamu, olusiisira lw'Abafilisitiini nga luli mu kiwonvu ky'e Refayimu.
16
Olwo Dawudi yali mu bwekwekero, yo enkambi y'Abafilisitiini yali Beteleemu.
17
Dawudi n'ayagala okunywa amazzi, n'agamba nti: “Singa waliwo andeetera ku mazzi ag'omu kidiba ekiri okumpi n'omulyango gw'e Beteleemu!”
18
N'evaayo abasajja Abasatu, ne bawaguza olusiisira lw'Abafilisitiini, ne bagenda basena amazzi mu kidiba ky'e Beteleemu ekyali okumpi n'omulyango, ne bagaleetera Dawudi. Naye n'agaana okuganywa, wabula n'agayiwa awo mu maaso g'Omukama,
19
n'agamba nti: “Kikafuuwe, Katonda wange, nze okukola kino; nze okunywa omusaayi gw'abantu bano, kubanga baatunze omwoyo okundeetera amazzi gano.” Bw'atyo n'atayagala kuganywa. Abazira Abasatu ebyo bye baakola.
20
Abisayi muganda wa Yowabu ye yali omukulu w'amakumi Asatu. Yagalulira effumu lye abasajja ebikumi bisatu n'abatta; ne yeekolera erinnya mu Asatu,
21
Mu makumi Asatu ng'alinamu ekitiibwa kya mirundi ebiri, era nga y'abakulira, naye teyatuuka bali Abasatu.
22
Benaaya mutabani wa Yoyada yali musajja muzira eyakola ebingi; yali ava Kabuzeeli. Oyo yatta abasajja abazira babiri ab'e Mowabu. Era ku lunaku olw'omuzira yakkirira mu bunnya bw'oluzzi n'atta empologoma.
23
Era yatta omusajja Omumisiri, eyali awerako emikono etaano obuwanvu. Omusajja yalina effumu mu mukono gwe eryenkana omuggo okulangirwa engoye; Benaaya naye yaserengeta gy'ali n'omuggo. Effumu n'alisika ku Mumisiri ate lyennyini n'alimussisa.
24
Benaaya, mutabani wa Yoyada, ebyo bye yakola; naye abalirwa mu Basatu abazira.
25
Yassibwamu ekitiibwa okusinga Asatu; naye era teyatuuka bali Abasatu. Dawudi yamufuula mutwe gwa bakuumi be.
26
Abazira baali: Esaweli muganda wa Yowabu, Elukanani mutabani wa Dodo ow'e Beteleemu,
27
Sammoti ow'e Karori, Kelezi Omupeloni,
28
Yira mutabani wa Yikkesi ow'e Tekowa, Abiyezeri ow'e Anatoti,
29
Sibbekayi Omukusa, Yilayi Omwakoki,
30
Mawarayi ow'e Netofa, Keledi mutabani wa Baana ow'e Netofa,
31
Yitayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibewa ekya Benyamiini, Benaaya ow'e Piratoni,
32
Kurayi ava mu Nakale-Gaasi, Abiyeli ow'e Beti-Aruba,
33
Azumaveti ow'e Bakarumi, Eliyakuba ow'e Saaluboni,
34
batabani ba Asemu ow'e Gizoni, Yonatani mutabani wa Sage Omwarari,
35
Akiyamu mutabani wa Sakari Omwarari, Elifali mutabani wa Wuru,
36
Keferi Omumekera, Akiya Omupeloni,
37
Kezuro ow'e Karumeli, Naarayi mutabani wa Ezubayi,
38
Yoweli muganda wa Natani, Mibukari mutabani wa Aguri,
39
Zeleki Omwammoni, Nakarayi Omubeeroti, omwetissi w'ebyokulwanyisa bya Yowabu mutabani wa Zeruya,
40
Yira Omuyituri, Garebu Omuyituri,
41
Wuriya Omukitti, Zabadi mutabani wa Akulayi
42
Adina mutabani wa Siza owa Rubeni era eyali owaakasolya k'ekika kya Rubeni era Amakumi Asatu nga gali naye,
43
Kanani mutabani wa Maaka, Yosafati Omumituni,
44
Wuzziya ow'e Asuteroti, Sama ne Yeyeli batabani ba Kotamu ow'e Aroweri,
45
Yediyayeli mutabani wa Simuri, Yoka muganda we Omutizi,
46
Eliyeli Omumakavi, Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Elunaamu, Yituma Omumowabu,
47
Eliyeli, Obedi ne Yaasiyeli ow'e Mezoba.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29