bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 1
2 Chronicles 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
1
Solomoni, mutabani wa Dawudi n'anywera ku bwakabaka bwe kubanga Omukama Katonda yali naye, era n'amusukkulumya nnyo.
2
Solomoni n'ayogera eri Yisirayeli yonna: eri abagabe b'enkumi, abagabe b'ebikumi, abalamuzi, abakungu ba Yisirayeli yonna n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe.
3
Solomoni n'ekibiina kyonna ne bagenda ku ekifo ekigulumivu mu Gibewoni, awaali Weema ya Katonda ey'Ensisinkano Musa omuweereza wa Katonda gye yakolera mu ddungu.
4
Yo Ssanduuku y'Omukama, Dawudi yali agiggye e Kiriyati-Yewarimu ng'agitadde mu kifo kye yali amaze okugitegekera, ng'agisimbidde weema mu Yeruzaalemu.
5
Gwo omwaliiro ogw'ekikomo, Bezaleli mutabani wa Wuri mutabani wa Kuru gwe yali akoze, gwali Gibewoni mu maaso g'Ekisulo ky'Omukama; eyo Solomoni n'ekibiina kyonna gye beebuuliza ku Mukama.
6
Solomoni n'ayambuka awaali omwaliiro gw'ekikomo mu maaso g'Omukama mu Weema ey'Ensisinkano, n'aweererezaako ebitambiro lukumi ebyokye.
7
Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Solomoni n'amugamba nti: “Saba kyonna ky'oyagala nkuwe.”
8
Solomoni n'agamba Katonda nti: “Ggwe wakwatirwa nnyo kitange Dawudi ekisa, nange n'onfuula kabaka mu kifo kye.
9
Kale nno, ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi kituukirire, anti ggwe onfudde kabaka nfuge abantu bo abatabalika bungi ng'enfuufu y'oku nsi.
10
Mpa nno amagezi n'okutegeera, nsobole okubakulembera, anti ggwe ani asobola okulamula obulungi eggwanga lyo lino ekkulu liti?”
11
Katonda n'agamba Solomoni nti: “Kubanga kino omutima gwo kye gwegombye, n'otosaba bugagga na bintu na kitiibwa yadde okufa kw'abalabe bo, oba okuwangaala ebbanga eggwanvu, wabula n'osaba magezi na kutegeera osobole okulamula abantu bange be nkutaddeko obeere kabaka waalyo,
12
amagezi n'okutegeera bijja kukuweebwa. Nzija kukuweerako obugagga, ebintu n'ekitiibwa, nga tewali n'omu mu bakabaka abaakukulembera yali nabyo, yadde mu balikuddirira aliba nabyo.”
13
Solomoni n'ava mu kifo ekigulumivu mu Gibewoni n'agenda e Yeruzaalemu mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano, n'afuga Yisirayeli.
14
Solomoni yakuŋŋaanya ebigaali n'embalaasi; yalina ebigaali lukumi mu ebikumi bina, n'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri bye yakuumiranga mu bibuga by'ebigaali, n'ebimu ng'ali nabyo mu Yeruzaalemu.
15
Kabaka yafuula ffeeza mu Yeruzaalemu okuba ekintu ekya bulijjo ng'amayinja; n'emiti gy'entolookyo nga gya mwero nga bw'olaba emikunyu gy'omu Sefela.
16
Embalaasi za Solomoni zaalagirizibwanga mu Misiri ne mu Kuwe; abasuubuzi ba kabaka baazisuubulanga mu Kuwe.
17
Mu Misiri ekigaali baakigulangayo ku sekeli za ffeeza lukaaga, ate embalaasi ku sekeli kikumi mu ataano. Era baaziragiririzangayo bakabaka bonna ab'Abakitti n'Abaaramu.
18
Solomoni yalangirira okuzimbira erinnya ly'Omukama ekiggwa naye yennyini okwezimbira olubiri.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36