bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 20
2 Chronicles 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
1
Nga wayise akaseera Abamowabu n'Abammoni wamu n'abamu ku Bamewuni ne balumba Yosafati bamulwanyise.
2
Abantu ne bajja batemya ku Yosafati nti: “Olumbiddwa eggye eddene okuva emitala w'ennyanja mu Edomu; kati bali Kazazoni-Tamari, oba Engedi.”
3
Yosafati n'atya, n'asalawo okwebuuza ku Mukama; n'alagira Yuda yenna basiibe.
4
Yuda yenna n'akuŋŋaana okunoonya Omukama abayambe; ne mu bibuga byonna ne bavaayo ne bajja okunoonya Omukama.
5
Yosafati yayimirira mu makkati g'ekibiina kya Yuda ne Yeruzaalemu ku nnyumba y'Omukama mu maaso g'oluggya olwali lwakamalirizibwa,
6
n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ali mu ggulu? Obwakabaka bwonna mu mawanga ggwe obufuga; amaanyi n'obuyinza biri mu mikono gyo, era tewali n'omu asobola kukuziyiza.
7
Ayi Katonda waffe, tewagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Yisirayeli, ensi n'ogiwa ezzadde lya Yiburayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
8
Baasenga muno ne bazimbiramu erinnya lyo ekiggwa nga bagamba nti:
9
‘Obubenje bwe butugwiranga, oba ekitala olw'omusango okutusinga, oba kawumpuli, oba enjala, tugenda kuyimiriranga mu maaso go, mu maaso g'ennyumba eno okuli erinnya lyo, tukoowoole gy'oli mu buyinike bwaffe; tugenda kukulaajanira, olituwulira n'otulokola.’
10
Kati baabano wano Abammoni, Abamowabu ne mu bantu b'oku lusozi Seyiri, ensi yaabwe gy'otaaleka Bayisirayeli kulumba nga bava mu Misiri, ne babalaamiriza bubalaamiriza ne batabazikiriza.
11
Laba bwe balaga okusiima nga bajja okutugoba mu butaka bwaffe bwe watuwa ng'obusika.
12
Ayi Katonda, toogubasalire? Anti ffe tulina maanyi genkana wa okusobola okwaŋŋanga eggye lino eddene eritulumbye? Tumaze obutaba na kya kukola, amaaso tugatadde ku ggwe.”
13
Yuda yenna wamu n'abaana baabwe ne bakazi baabwe ne bayimirira mu maaso g'Omukama.
14
Awo Yakaziyeli mutabani wa Zakariya mutabani wa Banaaya mutabani wa Yeyeli mutabani wa Mattaniya, Omuleevi muzzukulu wa Asafu, bwe yali ng'ayimiridde mu makkati g'ekibiina kyonna, Mwoyo w'Omukama n'amujjako,
15
n'agamba nti: “Mutegereze, ggwe kabaka Yosafati nammwe mwenna abantu mu Yuda ne Yeruzaalemu. Omukama kino ky'agamba: ‘Muleme kutya oba okutekemuka olw'eggye lino eddene, kubanga olutalo si lwammwe, wabula lwa Katonda.
16
Enkya mujja kuserengeta mubalumbe; bajja kubeera nga bambuka ku kasozi k'e Zizi. Mujja kubasisinkana awakoma ekiwonvu mu ddungu ly'e Yeruweli.
17
Si mmwe mujja okulwana; mutaze eggye lyammwe nga muli bagumu, mutunule mulabe Omukama bw'abanunula, ggwe Yuda, ggwe Yeruzaalemu! Temutya, temutekemuka; enkya mugende mubaŋŋange, Omukama ali nammwe.’ ”
18
Yosafati n'avunnama wansi ku maaso ge ku ttaka, ne Yuda yenna n'ab'e Yeruzaalemu ne bagwa wansi mu maaso g'Omukama ne bamusinza.
19
Abaleevi okuva mu ssiga lya Kewati ne mu lya Kora ne basituka ne batenda Omukama, Katonda wa Yisirayeli mu ddoboozi eddene.
20
Ku makya, bwe baazuukuka, ne boolekera eddungu ly'e Tekowa. Bwe baali basitula Yosafati n'ayimirira n'agamba nti: “Yuda n'ab'omu Yeruzaalemu, mumpulire. Mwesige Omukama Katonda wammwe, mujja kusigalawo; mwesige abalanzi be, byonna bijja kubalamira.”
21
Ng'amaze okwebuuza ku bantu, n'alonda ab'okuyimbira Omukama, bamutendereze olw'okwakaayakana kw'obutuukirivu bwe, nga bwe bakulembeddemu eggye mu byambalo ebitukuvu, nga bayimba nti: “Mugulumize Omukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
22
Bwe baatandika okuyimba, Omukama n'ateega n'akwasa Abammoni, Abamowabu n'abo abaali bavudde ku lusozi Seyiri okulumba Yuda; bonna ne bakubwa.
23
Abasajja b'omu Ammoni ne Mowabu ne basituka okulwanyisa abaali bavudde ku lusozi Seyiri, babatte babazikirize. Bwe baamala okusanjaga abantu abaali bavudde ku lusozi Seyiri, ne bayamba buli omu okuzikiriza munne.
24
Yuda bwe yatuuka w'olengerera eddungu, n'atunula alabe eggye eddene, naye baalaba mirambo myereere egigaŋŋalamye ku ttaka; tewaali yali asumattuse.
25
Yosafati ne basajja be ne bagenda banyage ebintu byabwe; ne basanga ebintu nkumu omwali eby'okulwanyisa, ebyambalo n'ebintu eby'omuwendo. Byali bingi n'okusinga bye baali basobola okutwala; omunyago baagusombera ennaku ssatu olw'obungi bw'ebintu.
26
Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka ne batendereza Omukama. Ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Ekiwonvu ky'Omukisa, bwe kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
27
Abantu bonna ab'omu Yuda ne mu Yeruzaalemu, nga Yosafati abakulembeddemu, ne bakomawo mu Yeruzaalemu mu ssanyu, kubanga Omukama yali abawadde eky'okujaguza ku balabe baabwe.
28
Ne bayingira Yeruzaalemu nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere, ne bayingira Ekiggwa ky'Omukama.
29
Entiisa ya Katonda n'ekwata obwakabaka bw'amawanga amalala bwe baawulira engeri Omukama gy'alwanye n'abalabe ba Yisirayeli n'abagoba.
30
Obwakabaka bwa Yosafati ne butebenkera, kubanga Katonda we yali amuwadde obuweerero ku njuyi zonna.
31
Bw'atyo Yosafati bwe yali kabaka wa Yuda. Yali wa myaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu etaano mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Azuba, muwala wa Siluki.
32
Yatambulira mu kkubo lyennyini erya kitaawe Asa, era teyalivaamu; yakola ekituufu mu maaso g'Omukama.
33
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, anti abantu baali tebannassa mutima ku Katonda wa bajjajjaabwe.
34
Ebirala mu bifaayo bya Yosafati, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya Yewu Mutabani wa Kanani, ebyassibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli.
35
Oluvannyumako Yosafati kabaka wa Yuda yakola ekinywi ne Akaziya kabaka wa Yisirayeli eyakolanga obubi.
36
Yeetaba naye okukola amaato ag'okugendanga e Tarusisi; gaazimbirwa Aziyoni-Geberi.
37
Eriyezeli mutabani wa Dodavawu ow'e Maresa n'alanga bubi ku Yosafati ng'agamba nti: “Kubanga okoze ekinywi ne Akaziya, Omukama alyonoona by'okoze.” Amaato ne gasesegguka, tegaasobola kugenda Tarusisi.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36