bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 17
2 Chronicles 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
1
Yosafati mutabani we ye yamusikira ku bwakabaka; ono yenywereza obwakabaka bwa Yisirayeli.
2
Yassa amagye mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko ebigo, n'azimba enkambi mu Yuda ne mu bibuga bya Efurayimu kitaawe Asa bye yali awambye.
3
Omukama yali ne Yosafati, kubanga mu kusooka yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yagobereranga. Teyeebuuza ku Babaali
4
wabula ku Katonda wa kitaawe, n'ayongera okutambulira mu biragiro bye, n'atagoberera mpisa za Yisirayeli.
5
Omukama n'anyweza obwakabaka mu mikono gye. Yuda yenna n'awa Yosafati ebirabo; bw'atyo n'aba n'obugagga n'ekitiibwa bingi.
6
Omutima gwe gwemaliza okugoberera amakubo g'Omukama, n'amalawo mu Yuda ebifo ebigulumivu n'empagi za Asera.
7
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obwakabaka bwe yasindika abakungu be: Beni-Kayili, Obadiya, Zakariya, Netaneli ne Mikaaya, bayigirize mu bibuga bya Yuda.
8
Yasindikirako Abaleevi: Semaaya, Netaniya, Zebadiya, Asaweli, Semiramoti, Yonatani, Adoniya, Tobiya, Tovu-Adoniya Abaleevi, ne bakabona: Elisama ne Yoramu.
9
Ne basomesanga wonna mu Yuda nga balina ekitabo ky'Etteeka ly'Omukama. Ne beetooloolanga ebibuga bya Yuda byonna nga basomesa abantu.
10
Entiisa y'Omukama n'ekwata obwakabaka bw'amawanga gonna agaali geetoolodde Yuda, nga tebaguma kunaawuula lutalo ku Yosafati.
11
Ne mu Bafilisitiini waaliyo abaaleetera Yosafati ebirabo ne ffeeza ng'omusolo; Abawarabu baamuleetera endiga kasanvu mu lusanvu, n'embuzi kasanvu mu lusanvu.
12
Yosafati ne yeeyongeranga amaanyi, n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'amawanika.
13
Yalina n'ebintu bingi ebizibizi mu bibuga bya Yuda; ne mu Yeruzaalemu ng'akuumiramu abasajja abatabaazi abazira.
14
Baali bawandiikiddwa bwe bati nga bagoberera ennyumba za bajjajjaabwe: Okuva mu Yuda eyakuliranga abagabe b'enkumi nga ye Aduna; yaliko abasajja abatabaazi obusiriivu busatu;
15
amuddirira nga ye Yokanani, omuduumizi; yaliko obusiriivu bubiri mu emitwalo munaana;
16
addirira oyo nga ye Amasiya mutabani wa Zikuri, eyali yeewaddeyo kyeyagalire okuweereza Omukama; yaliko abasajja abatabaazi obusiirivu bubiri.
17
Okuva mu Benyamiini yalinayo: Eliyada omutabaazi omuzira ng'aliko abasajja abatabaazi obusiriivu bubiri abakwata obusaale n'engabo;
18
amuddirira nga ye Yozabadi ng'aliko abasajja akasiriivu kamu mu emitwalo munaana abeetegekedde okulwana.
19
Bano be baaweerezanga kabaka, nga tobaze bali abalala be yali atadde mu bibuga okuli ebigo wonna mu Yuda.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36