bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Chronicles 9
2 Chronicles 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 10 →
1
Nnaabakyala ow'e Saba bwe yawulira ettutumu lya Solomoni, n'ajja e Yeruzaalemu okumugeza n'ebibuuzo ebizibu. Yajja n'entwala nnene nnyo: eŋŋamiya ezeetisse ebirungo, ne zaabu butitimbe, n'amayinja ag'omuwendo, n'ajja ewa Solomoni, n'amugamba byonna ebyamuli ku mutima.
2
Solomoni n'amuddamu ebibuuzo bye byonna; tewaaliwo kyakaluubirira kabaka kumunnyonnyola.
3
Nnaabakyala w'e Saba bwe yalaba amagezi ga Solomoni gonna, olubiri lwe yali azimbye,
4
emmere ey'oku mmeeza ye, entuula y'abakungu be, entereera y'abasumaami be n'ebyambalo byabwe, abasenero n'ebyambalo byabwe, n'ebitambiro ebyokye bye yaweerezanga mu Kiggwa ky'Omukama, n'awuniikirira,
5
n'agamba kabaka nti: “Bye nawulira mu nsi yange ku by'okola ne ku magezi go byali bya mazima.
6
Saasooka kukkiriza okutuusa nze kennyini lwe nzize ne neerabirako n'amaaso gange. Mazima ebyambuulirwa tebituuka na kyakubiri kya bwatiikirivu bw'amagezi go. Osuukkiridde ne kye nali mpulidde.
7
Abantu bo nga beesiimye! Abaweereza bo abakuli awo mu maaso bulijjo nga bawulira amagezi go nga beesiimye!
8
Omukama Katonda wo agulumizibwe oyo eyakusiima n'akuteeka ku nnamulondo obeere kabaka ofuge mu linnya ly'Omukama Katonda wo. Kubanga Katonda yayagala Yisirayeli emirembe gyonna, kyeyava akussaawo obeere kabaka, okole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu.”
9
N'awa kabaka zaabu aweza talenta kikumi mu abiri, n'ebirungo bingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo; tewabangawo birungo kwenkana ebyo nnaabakyala w'e Saba bye yawa kabaka Solomoni.
10
Abasajja ba Kuramu n'abasajja ba Solomoni baaleetanga zaabu okuva e Ofiri; baaleetanga n'emiti egy'entoogo, n'amayinja ag'omuwendo.
11
Yakozesa emiti egy'entoogo okukola amadaala g'Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka, era n'abajjamu ennanga n'entongooli eby'abayimbi. Emiti gy'entoogo egiri ng'egyo gyali tegirabwangako mu Yuda.
12
Kabaka Solomoni n'awa nnaabakyala w'e Saba byonna bye yayagala ne bye yamusaba; yamuwa n'ebisinga ebyo nnaabakyala bye yamutonera. N'afunyamu n'adda mu nsi ye wamu n'abaweereza be.
13
Zaabu eyaleeterwanga Solomoni buli mwaka ng'aweza obuzito bwa talenta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
14
ng'oggyeeko eyavanga mu basuubuzi n'eyo abasuubuzi gwe baaleetanga. Bakabaka b'omu Arabiya n'abaamasaza mu nsi nabo baaleeteranga Solomoni zaabu.
15
Era kabaka Solomoni yakola engabo ebikumi bibiri mu zaabu omukubeekube; beka lukaaga eza zaabu ze zaagenda ku ngabo emu.
16
Yakola engabo entonotono ebikumi bisatu eza zaabu omukubeekube; beka ebikumi bisatu ze zaagenda ku ngabo emu. Kabaka yabissa mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni.
17
Era kabaka yakola nnamulondo ennene mu masanga, n'agibikka zaabu omwereere.
18
Nnamulondo yalina amadaala mukaaga; yali eyungiddwako akatebe k'ebigere aka zaabu; erudda n'erudda wa buli mukono gwayo ng'eriyo ebifaananyi by'empologoma; bbiri zaali ziyimiridde mu mbiriizi z'emikono.
19
N'empologoma kkumi na bbiri zaali ziyimiridde ku madaala, mukaaga ku buli ludda. Teri bwakabaka bulala bwali bukoleddwa kintu kifaanana kiti.
20
Na byonna kabaka Solomoni mwe yanyweranga byalinga bya zaabu; ebikozesebwa byonna mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni byali bya zaabu omusengejje. Tewaali kikole mu ffeeza, kubanga mu budde bwa Solomoni teyabalibwanga ng'eky'omuwendo.
21
Anti Kabaka yalina empingu eyagendanga e Tarusisi ng'egobwa abaweereza ba Kuramu, buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu, ffeeza, amasanga, enkobe n'amazike.
22
Solomoni yali mututumufu okusinga bakabaka bonna ab'ensi mu bugagga ne mu magezi.
23
Bakabaka bonna ab'ensi baanoonyanga okulaba ku Solomoni, bawulire amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
24
Buli mwaka, buli eyajjanga yamuleeteranga ebirabo: ebibya ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo, ebyokulwanyisa, ebirungo, embalaasi n'ennyumbu.
25
Solomoni yalina ebisibo enkumi nnya olw'embalaasi n'ebigaali; yalina embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri ze yakuumiranga mu bibuga by'ebigaali, n'ezimu ng'ali nazo mu Yeruzaalemu.
26
Yafuganga bakabaka bonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi y'Abafilisitiini ne ku nsalo ya Misiri.
27
Kabaka yafuula ffeeza mu Yeruzaalemu okuba ekintu ekya bulijjo ng'amayinja; n'emiti gy'entolookyo nga gya mwero nga bw'olaba emikunyu gy'omu Sefela.
28
Embalaasi za Solomoni zaalagirizibwanga mu Misiri ne mu nsi endala zonna.
29
Ebyafaayo ebirala ku Solomoni, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo ekya Natani omulanzi, eky'obulanzi bwa Akiya omulanzi w'e Silo, n'eky'okulabikirwa kwa Yiddo omulabi ku bifa ku Yerobowamu mutabani wa Nebati.
30
Solomoni yafuga Yisirayeli yenna mu Yeruzaalemu okumala emyaka amakumi ana.
31
Olwo Solomoni n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya kitaawe Dawudi; Rekobowamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36